LOP omuggya Ssenyonyi akwasiddwa offiisi mu butongole

Maama Nnaabagereka aguddewo ekizimbe ekimubuddwamu ku Hormisdallen

Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda agguddewo ekizimbe galikwoleka ku ssomero lya Hormisdallen School e Gayaza ekibuddwamu erinnya lye. Ekizimbe kino kya myaliiro esatu nga kyakusomeramu. Essomero lya Hormisdallen lyelyafunye omukisa okutegeka Ekisaakaate ky’omulundi guno. Nnaabagereka gyasiibye ng’alambula Abasaakaate okulaba byebayize.

Ntuuse kikeerezi lwabutaba na motoka yabwa Minisita – Hon. Mwebesa

Minisita avunaanyizibwa ku byobusuubuzi, Francis Mwebesa yetondedde akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobusuubuzi olwokutuuka ekikeerezi nategeeza nti obuzibu buvudde kukuba nti emotoka ye eya Gavumenti yamuggibwako netwalibwa oukuvaga abagenyi abajja mu lukungaana lwa NAM nafundikira nga akwatiddwa akalippagano k’ebidduka.

Mukama wange Mpuuga weebale kunywerera ku nsonga ebbanga lyonna – LOP Ssenyonyi

Ebigambo byakulira oludda oluwabula Gavumenti omuggya Hon. Joel Ssenyonyi ebisoose nga LOP oluvannyuma lwokwanjulwa eri Palamenti. Ono asuubizza okukola omulimu gwalina okukola n’okukolera wamu ne Babaka banne bonna ssi ab’ekibiina kya National Unity Platform bokka. Ono era asiimye nnyo gwadidde mu bigere nti yadde waliwo okusoomoozebwa okwamaanyi mu mirimu ggye naddala wakulemberedde oludda oluwabula Gavumenti […]

Ssentebe w’akakiiko ka EC ne banne bavudde mu offiisi oluvannyuma lw’ekisanja kyabwe okuggwako

Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda Omulamuzi Simon Byabakama wamu n’akakiiko ke bavudde mu offiisi oluvannyuma lw’ekisanja kyabwe okuggwako nga kati balindiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okulaba oba ng’abongera ekisanja. Omwogezi wa EC Paul Bukenya akakasizza kino wabula nategeeza nti Bannayuganda tebasaanye kweralikirira nti emirimu kya EC gyakuzingama kuba balina Technical Team […]

Eddagala erigema COVID19 lyabuwumbi 28 nomusobyo lyelyayonoonekera mu sitoowa za NMS

Alipoota ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya Gavumenti John Muwanga eraga nti eddagala erigema ekirwadde kya COVID-19 eriwerera ddala 5,619,120 nga libarirwamu obuwumbi 28.159, lyaggwako nga likyali mu sitoowa za National Medical Stores, Uganda, so nga lyagulibwa ku ssente ezewolebwa okuva mu Bbanka y’Ensi yonna. Alipoota eraga nti eddagala eddala eryaggwako likyali mu malwaliro okwetoloola eggwanga lyonna […]

Abakozi abempewo 10192 bebazuulibwa ku lukalala lw’abakozi ba Gavumenit

Ssaabalirizi w’ebitabo bya Gavumenti John Muwanga avuddeyo nawa Gavumenti amagezi okufuba okulaba nti ennunula ssente obuwumbi 53 okuva mu bakozi 10,192 abateekebwa ku lukalala lwa Gavumenti kwesasulira emisaala wabula bano nga tebaliiyo kuba bwebaddamu okuwandiisa abakozi bonna mu February 2023, bazuulibwa ngabamu baafa, abalala bawummula nabalala nga badduka ku mirimu.

Sipiika alangiridde Ssenyonyi nga LOP eri Palamenti

Oluvannyuma lw’Omubaka Joel Ssenyonyi okulangirirwa nga akulira Oludda oluwabula Gavumenti omuggya, Ababaka ba National Resistance Movement – NRM bakulembeddemu ababaka abalala okwebaza Hon. Mathias Mpuuga Nsamba emirimu gyakoze emirungi mu kiseera kyamaze nga LOP n’okubeera ekyokulabirako eri abalala. Sipiika Anitah Among asabye Ssenyonyi okutandikira Mpuuga wakomye era namujjukiza bulijjo okumwebuzaangako ngakola emirimu gye nga bwekirambikibwa. […]

Sipiika awakanyizza ekifo ekyaweebwa Zaake, bakuwa byoya byanswa

Sipiika wa Palamenti Anitah Among awakanyizza ekyokulondebwa kw’Omubaka MP Zaake Francis Butebi ku kifo ky’omumyuuka wa Nampala wa Babaka b’Oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti. Sipiika ategeezezza nti ono bamuwa byoya byanswa kuba ekifo kino tekiriiyo mu mateeka ga Palamenti.

Abadde LOP Hon. Mpuuga akwasizza LOP omuggwa Hon. Ssenyonyi offiisi

Abadde akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba Munnakibiina kya National Unity Platform olunaku olwaleero awaddeyo offiisi mu butongole nasibirira entanda amudidde mu bigeye Hon. Joel Ssenyonyi; “Olwaleero mpaddeyo offiisi ya LOP mu Palamenti mu butongole. Nebaza abantu bomu Nyendo-Mukungwe Division abanesiga okubakiikirira ekyasobozesa ekibiina kyange ekya NUP okulaba obusoobozi bwange nensobola okuweereza nga […]