Eyafiira mu nnyumba eyatomerwa ennyonyi ya UPDF aziikiddwa

Mukama weebale kussuusa Maama – Bannaddiini okuva mu South Ankole

Bannaddiini okuva mu nzikiriza ezenjawulo okuva mu bitundu bya South Ankole nga bakulembeddwamu Bishop Nathan Ahimbisibwe enkya yaleero bakungaanidde ku offiisi Ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement – NRM e Kyambogo okwetaba mu misa eyenjawulo etegekeddwa okwebaza Katonda olwokuwonya mukyala w’Omukulembeze w’Eggwanga Janet Kataaha Museveni ekirwadde kya ssenyiga omukambwe owa Covid-19.

State House yetaaga obuwumbi 57 okukola ku byetaago

State House yetaaga ensimbi obuwumbi 57.14 nga zino zakugula byuuma byabukuumi ebiri ku mutindo, ebikozesebwa mu maka g’omukulembeze w’eggwanga wamu ne motoka za Pulezidenti. Wabula obuwumbi 21.722 zezateekeddwa mu mbalirira y’Eggwanga eyomwaka gw’ebyensimbi 2024/25. Ku buwumbi 57, State House bweyetaaga kuliko obuwumbi 14.401 nga buno bwakugenda mu maaso n’okudaabiriza State House Entebe, obulala obuwumbi 13.468 […]

Poliisi eraze emotoka ya Bugingo

Emmotoka y’ Omusumba Aloysius Bugingo nga bwefaanana oluvannyuma lw’okulumbibwa abazigu b’emmundu abaatirimbula omukuumi we Richard. Eno mu kaseera kano ekuumirwa ku kitebe ekikola ku kunoonyereza ku buzzi bw’ emisango ekya CID e Kibuli mu Kampala. Eno egiddwa ku kitebe kya Poliisi e Naguru gyabadde ekuumirwa.

Eyakyuusiddwa ensigo asiibuddwa okuva e Mulago

Eddwaliro ekkulu erya Mulago National Referral Hospital olunaku olwaleero lisiibudde omuntu eyasoose okukyuusibwa ebsingo mu Uganda. Kigambibwa nti ono abadde ku dialysis okumala emyaka 2 era nga yakyuusiddwa ensingo nga 20-December-2023.

Minisita Nabakooba awadde ab’e Agago ebyapa

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba nga ali wamu ne Ssaabalamuzi Owiny Dollo, Omubaka Beatrice Akello, Ssentebe wa LC5 ne RDC wa Agago olunaku lweggulo bakwasizza amaka n’ebika ebissukka mu 1000 ebyapa byettaka kwebawangalira.

Omukuumi wa Bugingo aziikiddwa e Ssembabule

Richard Muhumuza eyafiira mu bulumbaganyi bw’emmundu obwabakolebwako ne Paasita Aloysius Bugingo mu kiro ekyakeesa olwokusatu aziikiddwa ku biggya bya bajjaja be e Ssembabule. Mu bulumbaganyi buno Paasita Bugingo yasobola okusimattuka n’ebisago ebitonotono era nasiibulwa okuva mu ddwaliro e Mulago.

Mita za yaka zakukoma okukola omwaka guno

Minisitule evunaanyizibwa ku byobugagga obw’ensibo wamu namasanyalaze evuddeyo netegeeza nti mita zonna eza yaka zakukoma okukola nga 24-November-2024 oluvannyuma lwa tekinologiya gwezikozesa okuggwako nga Gavumenti egenda kutongoza tekinologiya omuggya.

Ennyonyi namunkanga eya UPDF egudde

Ennyoyni ekika kya namukanga ey’eggye lya UPDF ettuntu lyaleero egudde ku kyalo karugutu-Nyamisigiri, mu Gombolala y’e Kicwamba. Okusinziira kuberabiddeko bagamba nti eno ebadde eyolekera DR Congo ngegudde yakasimbula ku Ssaka Airfield mu Gombolala y’e Kicwamba. Kigambibwa nti nga tenaggwa esoose kutomera kasolya ka nnyumba nga tenakwata muliro neggwawo. Omwogezi wa UPDF Air Force Maj Naboth […]

Pastor Bugingo alumbiddwa abatamanyangamba

Abatamanyangamba abatanategeerekeka mu kiro ekikeesezza olwaleero basindiridde emotoka y’Omusumba w’abalokole Aloysious Bugingo amasasi bwabadde adda awaka okukakana nga ddereeva we gamutiddewo. Bugingo addusiddwa mu Ddwaliro e Mulago gyali mukufuna obujanjabi.