Gen. Muhoozi alagidde abebyokwerinda okunoonyereza ku byabawagizi be abakubwa amasasi

Pulezidenti Museveni bamukoledde ekibumbe e Rushere

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bamusiimye n’ekibumbe ekyateereddwa mu Rushere Town Council, mu Disitulikiti y’e Kiruhura nga kyakoleddwa UPDF Engineers Brigadde. Ekibumbe kino kabonero akalaga amaanyi geyateeka mukosomesa abantu mu Ankole okulunda ente ezamata, okukomya obulaalo bwokutambula wamu nenkulaakulana eyomuggundu mu balunzi b’ente.

Bannakisinde kya MK Movement bakyaddeko ewa Pasita Bugingo

Bannakisinde ki MK Movement ekya, Gen. Muhoozi Kainerugaba okuli Hon. Micheal Mawanda, Hon Henry Basaliza, omuyimbi Bebe Cool ne Barugahara Balaam Ateenyi bakyaddeko mu maka g’omusumba Aloysious Bugingo e Namayumba mu Wakiso okumusaasira ebizibu ebyamutuuseeko ekiro ekiyise abakwata mmundu bwebaasasidde emmotoka ye amasasi okukkakana ng’omuyambi we, Richard Muhumuza afiiriddewo. Bano bebatuusizza obubaka bwa mukama waabwe […]

Mwe abalumba Bobi Wine temumanyi basula ku nguudo kyebayitamu – RCC Burora

RCC wa Lubaga Burora Herbert Anderson avuddeyo; “Ndabye banange abamu nga banyooma ekikolwa kya Kyagulany aka Bobi Wine okyokugabira abantu bokunguudo abatalina gyebabeera emmere. Ekyenaku bangi ku bano tebamanyi kyekitegeeza nabutabeera nawosula. Bino byonna biva ku bali mu wofiisi ku Kampala Capital City Authority – KCCA ngomulimu gwabwe omukulu kukeera mu offiisi, kufuna musaala munene […]

Mwebale kusabira mukyala wange – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo nayozayoza Bannayuganda olwokumalako omwaka 2023 nabagaliza omwaka 2024 omulungi, era ono yategeezezza Eggwanga nga bwalina amawulire amalungi nti Mukyala we Janet Kataaha Museveni eyali akwatiddwa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe owa Covid19 bweyassuuse eyamukwata ku Ssekukkulu era neyebaza Bannayuganda okumusabira.

Bobi Wine agabudde abasula ku nguudo ekyeggulo

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Ekiro ekiyise, twakyaddeko ku nguudo zo mu Kamapala okugabana ekyokulya n’abantu baffe abatalina webabeera. Oyo yekka eyali asuzeeko enjala oba nga talina kyakulya oba eyali asuzeeko ku luguudo yayinza okutegeera obulumi abantu bano bwebayitamu. Twalowoozezza nti kirungi okugabana n’abantu bano ekyeggulo ekisooka mu mwaka […]

Pulezidenti Museveni agamba nti teri amuggya ku nte ze Ankole

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bwongamba okulindira ente za Ankole ku yiika emu eyettaka, nkugamba nti genda e Butabika mu bimitwe. Oli mulabe wange? Onjagaliza kufa bwavu! Maama Janet Kataaha Museveni nange tulunda ente za Ankole mu bungi era tukoze ssente eziwerako, hihihihi . Yiika emu eyettaka esobola kuliisa nte 12 zokka eza Ankole mu mwaka gumu ngate ozilundidde […]

Kitalo! Omuddusi w’emisinde Kiplagat attiddwa

Kitalo! Omuddusi w’emisinde addukira Uganda Benjamin Kiplagat asangiddwa nga yafumitiddwa ebiso nattibwa ng’omulambo gwe gusangiddwa mu motoka ye ku luguudo oludda ewuwe e Kimumu mu Eldoret mu kiro ekikeesezza olwaleero. Poliisi egamba nti bamufumisi ekiso mu kifuba nebamusala n’obulago era nga omulambo gwe gusangiddwa mu kifo kya ddereeva. Eyongerako nti webamutidde basanzeewo piki piki gye […]

Okukeberebwa covid19 eri abo abanetaba mu lukugaana lwa NAM si kwabuwaze – H.E Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alangiridde nti okwekebeza ekirwadde kya Lumiima Mawuggwe (Covid 19) eri abo abagenda okwetaba mu lukungaana lwa NAM olugenda okubeerayo omwezi ogujja sikwabuwaze nga bwekyali kirangiriddwa mukusooka oluvannyuma lw’abakungu okuva mu mawanga ag’enjawulo okuvaayo ne bagamba nti tebasobola kumala gasaasanya Ndagaluse zaabwe kiyite “DNA”.

Munnayuganda ayagala kumenyawo likodo yokuwa omuti akafuba

Munnayuganda omulwanirizi w’obutondebwensi, Ariokot Faith Patricia (@Faith000001) yesowoddeyo okumenya likodi y’ensi yonna ey’omuntu akyasinze okumala ebbanga eddene nga awadde omuti akafuba. Ono asinzidde mu bitundu by’e Soroti era agamba nti kino akikoze kuweereza bantu bubaka nti basaana okwagala n’okukuuma obutondebwensi.