

Bannamawulire babasomesa ‘ethics’? – IGG Beti Kamya
Kaliisoliiso wa Gavumenti Beti Kamya Turwomwe avuddeyo; “Wiiki ewedde ku Bbalaza nagenda ku Media Center okujjukiza abakozi ba Gavumenti akawaayiro ka Ssemateeka nti balina okwanjula ebyobugagga byabwe omwezi ogujja. Munnamawulire omu nambuuza kiki kyenkozeewo ku Sipiika. Ebyobugagga Anita Among byebagamba byalina e London, namuzeemu nti ekisooka Munnayuganda yenna waddembe okubeera n’ebyobugagga e London oba mu […]

Poliisi eyodde 20 e Kakiri oluvannyuma lwokuba essimu ya DPC
Abavubuka abasoba mu 20 bebayoleddwa Uganda Police Force mu kikwekweto kyekoze mu kiro ekikeesezza olwaleero nga kigambibwa nti bano babadde batigomya abantu mu bitundu eby’e Kakiri mu Disitulikiti y’e Wakiso. Ekikwekweto kino kyakoleddwa oluvannyuma lwomubbi okumenya emotoka ya Kakiri Police Division Commander, Hassan Mugerwa nabba essimu ye. Ngabakozesa akatambi akagiddwa ku kkamera enkettabikolwa ezobwannanyini Poliisi […]

Abasomesa abakubye omuyizi basindikiddwa ku alimanda
Omulamuzi w’eddaala erisooka owa Kkooti y’e Ntungamo, Nassuuna Sharon asindise abasomesa 2 abalabikidde mu katambi nga bawewenyula omuyizi emiggo okukira abazikiriza omuliro ku alimanda okutuusa nga 4 March. Aneb Mwesigye 31, ne Twesigye Naboth 30 nga basomesa ku Standard College Rweshamaire bakwatiddwa ku katambi nga bakuba omuyizi owa S.2 Brain Akampa 16, nga bamulanga okutoloka […]

Atingi-Ego alondeddwa ku bwa Gavana bwa BOU
Micheal Atingi-Ego alondeddwa okubeera Gavana wa Bbanka Enkulu eya Uganda, ye Augustus Nuwagaba alondeddwa okubeera omumyuuka we. Atingi-Ego yabadde akola nga omumyuuka wa Gavuna. Michael Atingi-Ego has been appointed as the new Governor of the Bank of Uganda, while Augustus Nuwagaba has been named the new Deputy Governor. Atingi-Ego has previously been serving as the […]

Waliwo abanwanyisa nga Babazungu bebawa ssente – Prof. Nawangwe
Prof. Barnabas Nawangwe avuddeyo nayanukula abo ababadde bamubuuza ebiwandiiko bye ebyobuyigirize nga bagamba nti ono talina wayolekera nti yasoma ddiguli esooka nagimalako; “Oluvannyuma lwe wiiki eziwerako ngababuulizi bokunguudo wamu nabo abateekebwamu ssente bakyeruppe banumba ku byobuyigirize byange, nsazeewo mbibawe mwenna mubimanye. Ndowooza kino kijja kumalawo byonna ebikolebwa okuntiisatiisa nga ngezaako okumalawo ebikolwa ebyefujjo ku ssetendekero […]

Sigula nga ku kkaadi ya NUP ebyo bigambo byabantu – Nalukoola
Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola avuddeyo natangaaza ku bibadde bitambuzibwa nti yagulirira okufuuna kkaadi y’ekibiina kya National Unity Platform – NUP nti yawa Chairman Nyanzi obukadde 330. Nalukoola ategeezezza nti tayogerangako na Chairman Nyanzi nti era nebitambuzibwa ku mikutu gya Social media matu gambuzi agawedde emirimu agagendereddwamu okuggya abantu ku mulamwa. Counsel Erias Luyimbaazi Nalukoola has […]

Abalamuzi si bebafuga Eggwanga – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Ekirungi, Eggwanga lino terifugibwa Balamuzi. Likulemberwa bantu – ffenna Bannayuganda, bakulu ekimala okulonda. Ku nsonga ya Ssemateeka n’ensonga endala, twefuga bulungi n’akalulu kekikungo oba okukola enoongosereza mu ssemateeka oba amateeka nga kikolebwa mu Palamenti.” #ffemmwemmweffe

Tetunafuna kiragiro kuva wa Attorney General kuyimbula Besigye – Byabashaija
Bannamateeka ba Rtd Col. Dr. Kizza Besigye ne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya bakedde mu offiisi ya Commissioner General ow’Ekitongole kyamakomera Dr. Johnson Omuhunde Rwashote Byabashaija abannyonyole lwaki nokutuusa kati tanayimbula muntu waabwe. Bano bategeezezza nti abagambye kituufu abalina mu bumenyi bw’amateeka wabula nti tanafuna kiragiro kiva wa Attorney General kimulagira kuyimbula bano. Bya Amayiko Martin […]

Nalukoola naye yesowoddeyo okusaba kkaadi ya NUP
Munnamateeka Luyimbaazi Erias Nalukoola naye olunaku olwaleero atutteyo empapula ze ku kitebe kya National Unity Platform okusaba okuweebwa kkaadi okukwatira ekibiina bendera mu kalulu kokujjuza ekifo ky’Omubaka wa Kawempe North. Ono ye muntu owokutaano eyesowoddeyo okukwatira ekibiina bendera. #ffemmwemmweffe