Ssaabaminisita alagidde bazimbe olutindo oluggya ku mugga Nyamuhugura

Eyabba ssente z’ekibiina asindikiddwa ku alimanda

Rogers Ssemanda 27 ngatundira bintu ku lubalaza lwa Kasiwuukira Plaza asindikiddwa ku alimanda mu kkomera ku bigambibwa nti yabba ssente z’ekibiina obukadde 6 mu emitwalo 40 ezaali zikuŋŋaanyiziddwa. Kigambibwa nti ono yakwatibwa lubona nga amenya akabokisi omwali muterekebwa ssente z’ekibiina okubba ssente za bammemba zebaali baterese okuba mu March 2023. Kigambibwa nti ssente zino zaali […]

Munnayuganda amenye likodi y’okufumbira ebbanga eddene

Munnayuganda omufumbi w’emmere, Dorcus Bashema Kirabo akak Mama_d256, akoze ekyafaayo ky’Ensi yonna eky’omuntu akyasinze okufumbira ebbanga eddene nga tawummuzzaamu. Ono afumbye ebika by’emmere eby’enjawulo okumala essawa 120 nga yatandik okufumba nga 23 oDecember. Ono alindirira kulangirirwa mu kitabo kyabakoze ebyafaayo ekya Guinness World Records.

Obukuumi bwemutadde wano mubutwale mulwanyise aba ADF – NUP

Abakulembeze ba National Unity Platform bavvudeyo nebatabukira ab’ebyokwerinda; “Mubatwala mu bugwanjuba bwa Uganda abagambibwa okubeera abayeekera ba ADF gyebalumba abantu. Mu mukwonoona ssente zamuwi wamusolo nga muyiwa abasirikale mukusaba kwa NUP.” Bino babyogeredde mu kusaba kwokujjukira eyali omukuumi wa Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, Frank Ssenteza eyatomerwa emotoka yamaggye nafiirawo mu kunoonya akalulu ka […]

NUP esabidde Ssenteza e Masaka

Abakungu okuva mu kibiina kya National Unity Platform nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina, Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, akulira oludda oluvuganya Gavumenti omuggya Joel Ssenyonyi n’omubaka w’ekitundu kya Nyendo – Mukungwe, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba bakungaanidde ku kyalo Kirowooza mu Masaka mu kusaba kw’okujjukira eyali omukuumi wa Kyagulanyi, Frank Ssenteza ng’ono yatomerwa emmotoka n’afiirawo mu […]

Museveni nga bwewategedde nti waliyo abasibibwa olwebyobufuzi kati bayimbule – Rubongoya

Ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Unity Platform – NUP, David Lewis Rubongoya ayagala omukulembeze w’Eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayimbule Olivia Lutaaya n’abasibe abalala abaakwatibwa olw’ebyobufuzi bwekiba nga ddala yakitegedde jjuuzi lyeyabuuzibwa ekibuuzo ekikwata ku Lutaaya bweyali ayogerako eri Eggwanga. Rubongoya agamba nti tekisoboka omuntu akulira amaggye owokuntikko obutamanya ku bantu bavunaanibwa naddala nga Lutaaya, omukyala yekka […]

Munnayuganda Dorcus Bashema Kirabo asemberedde okumenya likodi y’Ensi yonna

Dorcus Bashema Kirabo aka Mama_d256 ayisizza likodi eyateekebwawo Hilda Baci’s eyessaawa 93 n’eddakiika 11, okumenya likodi eriwo mu Guinness World Records alina okufumibira essaawa endala 19 okumenya likodo eyessaawa 119 n’eddakiika 57 eriwo kati. Abantu ab’enjawulo bavuddeyo okulaga obuwagizi bwabwe omuli ne CEO wa Uganda Tourism Board-UTB, Lilly Ajarova. Wetwogerera yakafumba ebijjulo 105 eya yakafumbira […]

Kitalo! Omuwandiisi w’ebitabo by’Olulimi Oluganda Kisirikko afudde

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Kitalo nnyo nnyini ekya Omw. Lukabwe Fred Kisirikko Mukama gweyajjuludde. Obuganda ne Uganda tugenda kumusaalirwa nnyo olw’obukugu bwe mu lulimi Oluganda, ate ng’abadde muwandiisi wa bitabo. Abadde kyakulabirako nnyo eri abantu okumanya nti obulemu ssi buteesobola.”

Abantu 3 abattibwa abagambibwa okubeera abayeekera ba ADF e Kamwenga baziikiddwa

Adrine Ngwabize Kamahanga, 72 aziikiddwa ne bazzukulu be 2 nga bano battibwa abagambibwa okubeera abayekeera ba ADF abalumba ekyalo Nyabitusi I mu Disitulikiti y’e Kamwenge ku ssekukkulu.

Omukazi asudde omwana e Busega

Maama atalina wasula nga ye Atuhaire Brendah okusinziira ku bbaluwa gyalese asudde omwana Omumbejja Namakula Zainab we nasaba abazira kisa bamuyambe bakuze omwana. Ono agamba nti Taata w’omwana tamuyamba nga yagezaako ekisoboka nagenda ne ku Poliisi naye teyayambibwa. Omwana eyasuuliddwa akuumirwa ku Poliisi e Busega.