Bannaddiini bagaanye okusabira Sobi

Poliisi etandise okunoonyereza ku ttemu eryabadde e Bungereza

Bambega ba Uganda Police Force bazzeeyo mu Kinyarwanda ekisangibwa mu Ackright Bwebajja, Kajjansi Town Council, omusirikale wa SFC, Odongo Johnson, weyakubidde abantu 3 amasasi, omu nafiirawo. Okusinziira ku Poliisi akanyoolagano kavudde ku mukazi eyabadde mu bbaala.

Poliisi ekutte abasawo 2 okuva mu Ddwaliro e Kassanda

Uganda Police Force ng’ekolera ku biragiro by’omumyuuka wa Kaliisoliiso wa Gavumenti Anne Twino Atuhairwe ekutte abasawo 2 okuva mu Ddwaliro ly’e Kassanda lwa bulyake. Abakwatiddwa kuliko Edward Lugasa ne Joelia Nakabute abakola mu kkeberero ly’omusaayi mu Ddwaliro eryo. Bano baggaliddwa ku Poliisi e Kassanda.

Abatuuze e Kamwenge badduse ku kyalo

Abatuuze abawerako bagaddewo amadduuka gaabwe nebaabulira akattawuni ka Kyitehurizi mu Disitulikiti y’e Kamwenge oluvannyuma lwabagambibwa okubeera abayeekera ba ADF okulumba ekitundu kino mu ttumbi nga bukya ku lwokubiri nebatta abantu 10.

Omusirikale wa Poliisi ekubye banne amasasi omu namutta e Kajjansi

Omuserikale wa Uganda Police Force avudde mu mbeera n’akuba banne amasasi okukkakkana ng’omu afiiriddewo ate ababiri nebagendera ku bisago. Ensasagge eno ebadde Wakiso mu ttawuni kkanso y’e Kajjansi mu Kinyarwanda mu Akright Estate, mu kiro ekikeesezza olwaleero. Kigambibwa nti abasirikale bano baafunyemu obutakkaanya bwebaabadde banywa omwenge mu bbaala emu ekyaviiriddeko omu okunona emmundu mu maka […]

Njakuva mu offiisi singa bakama bange tebanyongera kisanja – Hon. Mpuuga

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nti mwetegefu okuva mu kifo kino singa bakama be basalawo okulonda omulala amuddire mu bigere. Owek. Mpuuga bino abyogeredde mu lukiiko lwa Bannamawulire lwakubye olwaleero bwabadde ayogera ku bibadde mu mwaka n’engeri gyebatambuddemu.

Sobi tabadde mukozi wa Gavumenti – Minisita Kabbyanga

Minisita omubeezi avunaanyizibwa kukulungamya Eggwanga Kabbyanga Godfrey Baluku avuddeyo nategeeza Bannamawulire nti Paddy Sserunjogi aka Sobi eyatiddwa nti tabadde mukozi wa Gavumenti. Ono ategeezezza nti buli mukozi wa Gavumenti ya Uganda alina ID era nekinyonyola omulimu gwakola mu Gavumenti.

KCCA munoonye ssente za Johnbosco Muwonge mu bwangu – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among alagidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA okuteekayo okusaba okusasula omugagga Muwonge Johnbosco nnannyini ttaka okutudde akatale k’abatembeeyi aka Smart City akasangibwa ku Ggwanda ng’omugagga ono abadde aweze okugobawo abatembeeyi bano lwa Gavumenti butamusasula. Omugagga Muwonge agamba kati omwaka mulamba nga bamusuubiza malusu […]

Thomas Kwoyelo avunaanibwa emisango 78

Olwaleero Kkooti y’ensi yonna ewozesa bakalintalo mu kibuga Gulu lw’egenda okusomera eyali omuduumizi mu kabinja k’abayeekera ba LRA akakulirwa Joseph Kony, Thomas Kwoyelo emisango 78 egivunaanibwa. Kino kiddiridde Kkooti eno olunaku lw’eggulo okukakasa nti Kwoyelo alina okwewozaako oluvannyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti okuleeta obujulizi obulaga nti asaanidde okuvunaanibwa emisango egyo wabula egimu baagimuggyeko kubanga yabadde wakuvunaanibwa […]

Sobbi atiddwa mu kavuvungano akabadde e Gomba

Kitalo! Paddy Sserunjogi aka Sobbi omu ku basajja abatigomya nga Bannakampala yakubiddwa nattibwa abatuuze ababadde bataamye obugo bwebabadde bagenze n’ekibinja kyabavubuka okugoba abatuuze ku ttaka e Maddu Gomba eriweza Square mile emu nga likayanirwa abantu 2.