Abaliko ba Sipiika bakwasiddwa emotoka empya ttuku
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among olunaku olwaleero akwasizza abaliko ba Sipiika emotoka empya ttuka ezaguliddwa Palamenti. Ono bwabadde azibakwasa abategeezezza nti Gavumenti egenda kubawa amafuta n’okuziddaabiriza nga bwekyetaagisa era esasule ne ba ddereeva baazo naye nga buli omu agenda kwefunira ddereeva bamuwandiise. Sipiika era abategeezezza nti buli luvannyuma lwa myaka etaano bajja ku bakyusizanga […]
Gavumenti egaanyi ekyokuzza obuggya layisinsi zaba Money Lender
Gavumenti ng’eyita mu Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bibiina ebiwozi by’ensimbi, Hon. Haruna Kyeyune Kasolo eragidde ekitongole ekirungamya abawola ensimbi ekya Uganda Microfinance Regulatory Authority (UMRA), obutazza buggya ndagaano za bawozi ba nsimbi (money lender) bonna mu Ggwanga, olw’emivuyo egyetobese mu mulimu gwabwe. Mininista agamba omwaka guno bafunye nnyo okwemulugunya okuva mu bantu nga kulaga nti […]
Abaliko ba Sipiika baweereddwa emotoka empya
Sipiika wa Palamenti, Nnaalongo Anitah Among olunaku olwaleero agenda kukwasa abaaliko ba Sipiika ba Palamenti ya Uganda emmotoka kapyata Gavumenti zebagulidde okubayambako mu ntambula. Mu bagenda okufuna emmotoka zino kuliko; Al Hajji Moses Kigongo, Edward Ssekandi, Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga, Francis Butagira ne Prof. Edward Rugumayo. Abaliko ba Sipiika ba Palamenti bakufunanga emotoka empya […]
Sheikh Ssemambo alayiziddwa ku bwa Mufti
Omumyuka asooka owa Mufti wa Uganda, Sheikh Abdallah Ssemambo yalayiziddwa olunaku lweggulo nga Mufti wa Uganda ow’ekiseera oluvannyuma lw’abamu ku bakiise ku lukiiko olukulu olwa Uganda Muslim Supreme Council olwa National General Assembly okugoba Shiek Shaban Ramadhan Mubajje ku bwa Mufti wa Uganda. Sheikh Abdallah Ssemambo agenda kukulembera Abayisiramu okumala ebbanga lya myezi mukaga. Wabula […]
Olutindo olwakoleddwa ku mugga Katonga luguddwawo mu butongole
Minisita avunaanyizibwa ku by’enguudo nentambula Gen. Katumba Wamala, olunaku olwaleero aguddewo olutindo oluggya olwazimbiddwa ku mugga Katonga ku luguudo lwa Kampala-Masaka. Gen. Wamala, ategeezezza nti emotoka zonna eziva e Masaka bagenda kukozesa olutindo olukadde ate ezo eziva e Kampala zakukozesa olutindo oluppya olwa steel.
Katikkiro akubirizza abantu okwongera amaanyi mu kulwanyisa omusujja gw’ensiri
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okwongera amaanyi mu kulwanyisa omusujja gw’ensiri nga bayita mu makubo eg’enjawulo kubanga gukyalina amaanyi nga buli mwaka gutta abantu emitwalo 10. Mu gamu ku makubo gakubirizza abantu okukozesa mulimu okusula wansi w’obutimba bw’ensiri, okusaawa ensiko ebaliraanye, okuggyawo amazzi agalegamye, n’okukozesa obudagala obugoba ensiri. Bino ebyagoredde ku Mbuga y’Obwakabaka enkulu […]
Pulezidenti Museveni asuubizza okuzimbira Omusinga olubiri
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agenda kuzimbira Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere olubiri olupya oluvannyuma lw’olubiri lwe okwonoonebwa mu bulumbaganyi obwakolebwa ku Lubiri lw’Omusinga mu mwaka gwa 2016. Omwandiisi ow’ekyama ow’Omusinga, David Bradford Nguru ategeezezza nti Pulezidenti yasuubiza n’okugulira omusinga wooteeri gaggadde, tulakita 3, emmotoka za buyonjo n’ebintu ebirala bino biyambeko ku Businga okufunamu ensimbi. […]
Abasirikale ba UPDF abalabikidde mu katambi nga bakuba omuntu basindikiddwa mu kkomera
Abasirikale b’Eggye lya UPDF 5 abakwatibwa ku bigambibwa nti bebalabikira mu katambi nga bakuba omuntu wabulijjo emiggo eyali agambibwa okubeera omubbi wa piki piki olunaku olwaleero basimbiddwa mu Kkooti ekwasisa empisa eya 505 Brigade Unit Disciplinary Court ebadde ekubirizibwa Lt. Col. ML Kigundu mu Lagot Parish, Mucwini Sub-county, mu Disitulikiti y’e Kitgum. Abasirikale okuli; Corporal […]
Bannamateeka ba Molly Katanga bawakanya ekya Poliisi okuyingira mu kasenge gyebamujanjabira
Bannamateeka ba Molly Katanga aba Kampala Associated Advocates baddukidde ewa Principal Judge Flavian Zeija ayingira mu nsonga zaabwe ne Uganda Police Force gyebalumiriza okulinyirira eddembe lyomuntu waabwe nga batuuse n’okuyingira mu theater mwebabadde bamututte okumulongoosa nebalagira abasawo okubawa ebiwandiiko byonna kwebajanjabira omulwadde ono, nga Bannamateeka bagamba nti kuno kuba kulinyirira ddembe lye eryobuntu. Bannamateeka bagamba […]