UPDF evuddeyo e DRC
Abasirikale b’Eggye lya UPDF basanze ensalo ye Bunagana okudda e Uganda nga buva mu buvanjuba bwa Democratic Republic of the Congo gyebaali bagenze okufufugaza abayekeera abatigomya amawanga gombi.
Ekitongole ky’amakomera kyakukebera ku basibe baayo abali e Kasese
Ekitongole ky’amakomera ekya Uganda Prisons Service kyakakasizza nga bwekitandise ku okwekennenya era n’okwetegereza ebiwandiiko ebikwata ku basibe mu makomera mu bitundu bye Kasese okuzuula oba nga ne Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Martin Lukwago gyakuumirwa. Kino kiddiridde omusibe omu eyayimbuddwa mu kkomera ly’e Kasese okutuukirira ab’emikwano gya Martin Lukwago, naabategeeza nti omuntu waabwe […]
Eyatta abantu 5 asibiddwa emyaka 100
Kkooti enkulu mu Kampala ekalize Musa Musaasizi ow’emyaka 25 emyaka 105 mu nkomyo ku misango gy’okutta abantu 5. Musa eyali omwana wo kunguudo yakirizza okutta banganzi be 4 n’omwana we omuwala ow’emyezi 3. Kigambibwa nti emisango gino Musaasizi yagizza mu bbanga lya mwezi gumu e Nakulabye mu Zooni ya Mujomba mu Rubaga wakati wa 22/ […]
Tuvumirira ekikolwa kyokutulugunya abantu – Brig. Felix Kulayigye
Omwogezi wa UPDF Brig. Felix Kulayigye avuddeyo nategeeza nti balabye akatambi akatambula ku mikutu gya ‘Social media’ nga kalaga omusajja akubwa abantu ababulijjo n’abasirikale. Kulayigye agamba nti bakizudde nti abantu babulijjo ku Kyalo Lagot, Mucwini Sub-County, mu Disitulikiti y’e Kitgum bakutte omubbi nebagaana okumutwala ku Poliisi nebatwalira amateeka mu ngalo. Abatuuze bakubidde RDC wa Kitgum […]
Bannayuganda babalinze mulye obukadde 100 – Bobi Wine
Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Buli Mubaka wa Palamenti bamuwa enguzi ya bukadde 100 okuyisa embalirira eyenyongereza. Njagala okulabula Ababaka baffe aba NUP nti tukimanyiiko era amawulire gano tugabuliidde Bannayuganda. Sijja kuttira muntu yenna kuliiso yadde okumuwulereza olwokwenyigira mu kubba ssente y’omuwi w’omusolo.”
Gavumenti egenda kuwa Ababaka obukadde 100 okubagulirira – Hon. Muwanga Kivumbi
Omubaka wa Butambala, Munnakibiina kya National Unity Platform Muhammad Muwanga Kivumbi asabye Bannayuganda okuteeka Ababaka baabwe ku nninga babannyonnyole ku ssente obukadde 100 Gavumenti zegenda okuwa buli Mubaka nga tewali kituufu kimanyiddwa kigenda kuzibaweesa. Kivumbi alumiriza nti ssente ezo Ababaka bagenda kuzibawa ng’akasiimo k’okuyisa ensimbi ezenyongereza mu mbalirira y’Eggwanga wabula abasabye oluzigaana kubanga bwebazirya bagenda […]
Bwenagamba nti bwenakula nakyuuka temwantegeera – Bobi Wine
Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bwabadde atangaaza ku bigambo byeyayogera n’omukutu ngwa BBC gyebuvuddeko bwebaali bamubuuza ku bisiyaga, ategeezezza nti weyayimbira akayimba akagamba nti abakola omukwano ogw’empaka basaana kukumwako muliro yali akyali mwana muto wabula kati yakula n’akyuka. Okusinziira ku Kyagulanyi, ye ng’omukulembeze talina kusosola mu bantu kubanga alina […]
Mutuwe abantu baffe – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Tukyabanja abantu baffe abaabuzibwawo era tetujja kulekeraawo, nebaza Owek. Mathias Mpuuga Nsamba olw’okulemera ku nsonga eno. Tubanja abantu baffe oba balamu oba bafu. Nebwebaba baabaggyamu amaaso nga Omubaka Ssegona bweyatugambye nti alina obukakafu nti waliwo bebaagagyamu mubatuwe tubaagala.”
Abatunda enseenene mulina okufuna certificate – UNBS
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu Ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) kisabye abo bonna abatunda enseenene n’ebiwuka ebirala ebiriibwa okufuna satifikeeti okuva mu UNBS okukakasa nti ebyo byebatundu tebirina bulabe eri abo ababirya. Mu mwaka gwa 2022, UNBS yatongoza emitendera egiyitibwa Edible Insects Standard, US 2146:2020 Edible Insects –Specification, ngekolerera wamu ne […]