Bannamateeka Abasiraamu batutte Mufti Mubajje ne Kyabajwa mu Kkooti

Sipiika asisinkanye LOP ne Wangadya

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among asisinkanye akulira akakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC, Mariam Wangadya mu maaso g’akulira oludda oluwabula Gavumenti, Hon Mathias Mpuuga Nsamba, Commissioner Hon. Solomon Silwany ne Hon. Abed Bwanika okulaba engeri gyebasobola okusisinkanamu abakulu mu Minisitule n’ebitongole ebikwatibwako ensonga z’ebyokwerinda ku nsonga z’abantu abagambibwa okubuzibwawo […]

Sirina kyenetaaga mu Amerika – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Abagwiira abamu bagezaako okututeekako puleesa nga bagamba nti bwetutakola kino, tebajja kutukiriza kugenga mu Amerika. Nze saagala kugenda mu Amerika. Okugenda mu Amerika, mbeera nnyamba Bamerika, kuba buli kimu nkirina wano sirina kyenjula.”

Ababaka ba opposition 5 bakuvunaanibwa gwa bukenuzi

Omubeezi wa Minisita Harriet Ntabaazi agamba nti ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Criminal Investigation Directorate (CID) kyakamaliriza fayiro 5 era nga kizuuliddwa nti ku babulankanya ensimbi omulundi guno si Baminisita bokka, wabula n’Ababaka ba Palamenti abasoba mu 30 nga ku bano kuliko n’aboludda oluvuganya Gavumenti ekintu kyagambye nti kirungi […]

Ababaka abasoba mu 30 banoonyerezebwa kyokuwuwutanya obuwumbi 164

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byobusuubuzi, amakolero n’ebibiina byobwegassi Harriet Ntabaazi avuddeyo nategeeza nti waliwo Ababaka 30 abanoonyerezebwako ku bigambibwa nti benyigira mu kuwuwuttanya obuwumbi 164 ezaali ezokuliyirira ebibiina by’obweggassi. Ono agamba nti ku bano 30 kuliko Ababaka ku ludda oluvuganya Gavumenti abalekaana ennyo saako nokwogera ennyo.

Gavumenti yeyamye okuyimbula abasibe – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nti enkya yaleero afunye ebbaluwa okuba ewa Attorney General ngeyogera ku nsonga Palamenti gyeyayogeddeko eyabantu babulijjo okuvunaanirwa mu Kkooti y’amaggye ssaako nabo abamaze ebbanga mu makomera nga tebasimbiddwa mu kkooti. Ategeezezza nti Attorney Genera asuubizza okukwatira awamu n’ebitongole ebirala ebyamateeka okulaba nti ekiragiro kya Palamenti […]

Poliisi eyagala ssente obukadde 968 kugula mbwa

Palamenti yategeezeddwa nga Uganda Police Force bweyagula embwa 10 okuva ebweru w’eggwanga mu mwaka 2022/23, nga zazaala era embwa 30 kuzazaalibwa zitendekebwa okukonga olusu. Mu January wa 2023 Poliisi yasaba obuwumbi 4 mu obukadde 968 okugula embwa 750 okugaziya ku kitongole kyaayo ekyembwa okusobola okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.

Abatuuze balwanidde ebigimusa ebibadde birina okubagabirwa

Abasirikale ba Uganda Police Force bakwatiddwa ku katambi nga bagezaako okukkakanya Abavubuka ababadde bakungaanye ku kisaawe ky’e Kizinda mu Disitulikiti y’e Bushenyi ababadde balwanira obusawo bwebigimusa obuwandiikiddwako Office of The National Chairman NRM ku mukolo gw’abavubuka. Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga ye ssentebe wa National Resistance Movement – NRM yagambibwa okubatonera ebigimusa bino.

RDC ne Diso e Kayunga baleese alumiriza aba NUP okumusuubizi ssente bagambe nti yabuzibwawo

Olunaku lw’eggulo RDC wa Disitulikiti y’e Kayunga Moses Ddumba ne DISO Barasa Kildon bayise olukiiko lwa Bannamawulire bukubirire nebaleeta omusajja Martin Lukwago 45, gwebagamba nti yazze gyebali nga agamba nti yalabikidde ku lukalala Abakulu mu Kibiina kya National Unity Platform lwebafulumizza mu nnamba 13. RDC Ddumba bweyabadde ayanjula Lukwago eri Bannamawulire yategeezezza nti azze kumalawo […]

Bebawambira abantu bammwe mujje gyendi – Norber Mao

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka n’essiga eddamuzi Norbert Mao awadde abenganda z’abantu abawambibwa okutuukirira bbo nga Gavumenti butereevu bafune okuyambibwa kuba bebali nabo (aba National Unity Platform) tebalina kyebayinza kubayamba!