Uganda Prisons eyagala ssente kuzimba makomera malala
Elly Muhumuza, Commissioner Planning & Development, owa Uganda Prisons Service ategeezezza akakiiko ka Palamenti nti Eggwanga lyetaaga okuzimbayo amakomera amatonotono (mini-max) agalinga Kitalya 16 okusobola okukendeeza ku mujjuzo oguli mu makomera. Muhumuza agamba nti amakomera mangi galina abasibe abakubisaamu emirundi 5 abo abalina okusibirwamu. Ono agamba nti okumalawo kino balina okutwala enkola ya Kitalya mu […]
Sipiika alabudde Ababaka obutaswaza Uganda
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among alabudde ababaka ba Palamenti abagenda okukiikirira Uganda mu mizannyo gy’Ababaka ba Palamenti ab’obuvanjuba bwa Africa egigenda okubeera mu Ggwanga lya Rwanda okwewala okuswaza eggwanga lyabwe nga basula mu wooteeri eza layisi. Sipiika ategeezezza nti ensako gyebagenda okufuna eya ddoola 720 buli lunaku ensimbi zino zigenda kuba zibamala bulungi nnyo […]
Okudaabiriza omuzigiti gwa Old Kampala kwakumalawo obuwumbi 8.5
Akakiiko ka Palamenti ak’embalirira y’Eggwanga kakizudde nti okuddaabiriza omuzigiti gwa Old Kampala kugenda kumalawo ensimbi obuwumbi 8.5 nga ku zino, obuwumbi 2.7 bwasaasaanyizibwa dda. Kinajjukirwa nti minisitule y’ekikula ky’abantu y’asabye ensimbi obuwumbi 4.7 omwaka guno n’endala 1.5 zibaweebwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja.
Ababaka ba Palamenti boolekedde Rwanda mu mizannyo
Enkya ya leero Sipiika wa Palamenti, Anitah Among asimbudde Ababaka ba Palamenti abagenze e Rwanda okwetaba mu mizannyo gy’Ababaka ba Palamenti ab’Amawanga agali mu Buvanjuba bwa Africa. Bw’abadde abasimbula, abeebazizza okwewaayo ne beetaba mu mizannyo gino era n’abasaba okukuuma ekifaananyi kya Uganda ate banyweze n’omwoyo gw’obumu oguli mu Mawanga g’Obuvanjuba bwa Africa.
Emotoka ya Poliisi Gavumenti gyenoonya eri Kajjansi – LOP Mpuuga
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Mu Palamenti wiiki ewedde, abakulu mu Gavumenti bategeeza nga bwebatamanyi ku motoka ya Uganda Police Force 999/17 eyayogerwako mu katambi akakolebwa aba BBC ku kutta abantu okwaliwo mu November 2020 mu Kampala. Wabeewo agamba Gen. David Muhoozi Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga nti emotoka […]
Bobi Wine ayambalidde Wangadya owa UHRC
Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ayanukudde Ssentebe w’akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC, Mariam Wangadya ku bigambo byeyayogedde olunaku lw’eggulo mu lukungaana lwa Bannamawulire. Wangadya yalabudde ekibiina kya NUP okukomya okubabanja abantu baabwe kubanga bbo ng’ekitongole tebalina muntu n’omu gwebaali […]
UNRA etandise okudaabiriza oluguudo olwabotose e Busega
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA kigenda mu maaso n’okuddaabiriza ekitundu ky’oluguudo ekyayonoonese ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka okumpi n’ettaawo lye Busega. Omu ku bali ku mulimu guno, Eng. Kenneth Muniina ategeezezza nti bagenda kuzuula ekituufu ekyaviiriddeko oluguudo luno okwonooneka kibasobozese okulukola obulungi n’okukitangira okuddamu […]
Gavumenti egenda kutunula mu nsonga zabavunaanibwa mu Kkooti zamaggye – LOP Mpuuga
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nti enkya yaleero afunye ebbaluwa okuba ewa Attorney General ngeyogera ku nsonga Palamenti gyeyayogeddeko eyabantu babulijjo okuvunaanirwa mu Kkooti y’amaggye ssaako nabo abamaze ebbanga mu makomera nga tebasimbiddwa mu kkooti. Ategeezezza nti Attorney Genera asuubizza okukwatira awamu n’ebitongole ebirala ebyamateeka okulaba nti ekiragiro kya Palamenti […]
Byenabawa byebyenkomeredde temusuubirayo birala – Gen. Muhoozi
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi bw’abadde ayanukula okuddamu okukoleddwa akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Hon. Mathias Mpuuga Nsamba ku alipoota ekwata ku kiwamba bantu gyeyayanjulira Palamenti gyebuvuddeko, asabye oyo yenna awulira nga si mumativu ne alipoota gyeyayanjula yeyambise amakubo amalala kuba alipoota gyeyawa yeyenkomeredde.