Rev. Fr. Mudduse aziikiddwa olwaleero

Aboluganda bagaana okwogerako gyetuli mukunoonyereza – Minisita Muhoozi

Minisita omubeezi ow’ensonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi; “Okunoonyereza kwakaluba olwokuba wabulawo enkolagana wakati wa b’oluganda nabanoonyereza wamu ne fayiro z’emisango okubula. Ab’oluganda basalawo kukolagana nabitongole byabwannakyewa. Ebiwandiiko bya NIRA byakakasiddwa abantu 9 ku 18 ababuzibwawo. Okubuzibwawo kwa; Kibalama, Kajumba ne Kisembo tewali muntu alumiriza kukulaba.”

Alipoota eno mugiwe Bannayuganda bamanye obulimba bwa NUP – Minisita Muhoozi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi ategeezezza Palamenti nti okunoonyereza ku misango 30 egyawabibwa aba National Unity Platform – NUP mu Uganda Human Rights Commission – UHRC era okunoonyereza kulaga nti waliwo ebibuuzo bingi ku kwemulugunya kwa Opposition. Ono agama nti abawagizi abo aboogerwako tebakolaganye bulungi nabanoonyereza oba obujulizi bwabwe […]

Lwaki temwawandiika ennamba zemotoka ezo – Minisita Muhoozi

Gen David Muhoozi; “Ensonga zokubuzibwawo kwabantu abasinga obungi tekwaloopebwa ku Poliisi. Ebigambibwa nti Ddamulira John, Kirya Peter, Wangolo Denis, Ssesazi Isima, Mubiru Hassan, Baguma Joseph alias Ssemujju Joseph, ne Zzimula Dennis alias Boyi tewali yavaayo kuggulawo musango. Kiri mu mateeka nti oli okukakasibwa nti yabuze, walina okuggulwawo omusango. Kino kirina kukolebwa ku Poliisi ekitakolebwa era […]

Tukyanoonyereza ku motoka ya Poliisi 17 eyatomera abantu – Minisita Muhoozi

Minisita Gen. David Muhoozi avuddeyo nategeeza Palamenti nga Gavumenti bwekyanoonyereza ku kuwandiisibwa kw’emotoka ya Uganda Police Force 17 eyakwatibwa ku katambi ngetomera abantu nebatta mu kwekalakaasa okwaliwo mu November 2020 mu Kampala.

NUP ekyokuwamba abantu ekikozesa kutwala bantu baayo ebweru – Minista Muhoozi

Gavumenti evuddeyo netegeeza nga ekibiina kya National Unity Platform NUP bwekirina campaign yokwonoona erinnya lya Gavumenti ngeyita mu kiwambabantu, Minisita Muhoozi ategeezezza kino ab’oludda oluvuganya Gavumenti bakikozesa okufuna visa bagende ebweru. Muhoozi yewuunyizza nti lwaki tebakwata nnamba za motors ezawamba abantu. Muhoozi era ategeezezza nti byonna ebikolebwa byabulimba wabula ekyenaku ensi gyebalaga zikiriza obulimba buno […]

Sipiika alagidde Minisita Muhwezi okuvaayo ku nsonga zeddembe ly’obuntu

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among alagidde Minisita Gen Jim Katugugu Muhwezi okuvaayo mu bunnambiro n’ekiwandiiko ekikwata ku nsonga y’okulinyirira eddembe lyobuntu eyaleetebwa ab’oludda oluvuganya Gavuementi oluvannyuma lwobudde obwaweebwa Gavumenti okwanukula okuggwako.

Omubaka Onen awakanyizza ekiragiro kya Sipiika

Omubaka Charles Onen, Omumyuuka wa Ssentebe w’Akakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa n’amateeka aziimudde ekiragiro kya Sipiika Nnaalongo Anitah Among ekyokugoba Ababaka b’oludda oluvuganya mu ntuula z’Obukiiko nategeeza nti tebanafuna kiwandiiko kitongole okuva ewa Clerk ekibaragira okubagoba.

Muhoozi alambudde enguudo mu Kampala ezirimu ebinnya

Mutabani wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era nga akola nga omuwabuzi we ow’enjawulo ku bikwekweto ebyenjawulo Gen. Muhoozi Kainerugaba ngalabula enguudo mu Kampala ezijudde ebinnya ezirina okudaabirizibwa Special Forces Command Construction Regiment abaweebwa obuwumbi 2 okuva mu Kampala Capital City Authority – KCCA okudaabiriza enguudo mu Kampala wakati.

Eddy Kenzo asisinkanye Pulezidenti Museveni

Eddy Kenzo avuddeyo nategeeza; “Mukugezaako okutereeza ekisaawe kyaffe ekyokuyimba wamu nokukisakira, nsisinkanye Muzeeyi wange H.E Yoweri Kaguta Museveni netwogera ku bwetaavu bwenoongosereza mu tteeka lya Copyright & Neighboring Rights Act 2006. Yabadde nsisinkano yamaanyi mweyakiririzza okulondoola ensonga eno mu bwangu. Era yakirizza okusaba kwange okwokusisinkana Abakulembeze ba Uganda National Musicians Federation nokumutegezza wa wetutuuse mukutumbula […]