Tugenda kunoonya owa Poliisi eyayambako Hajji Kiyimba – Enanga

Mukolere ku ttaka lyammwe okwewala okulibba- Minisita Nabakooba

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba nokuteekerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba avuddeyo navumirira enkayana zettaka ezisusse mu benganda mu Greater Mubende nga kiva ku balumbagana bebaba bagabira edda ettaka nebatandika okubatiisatiisa. Ono yategeezezza nti tekikomye mu bantu naye kituuse ne mu Kkanisa wabula nategeeza nti Gavumenti ekola ekisoboka okukikomya. Minisita yasabye abantu okukozesa ettaka lyabwe […]

Ogwa Ssegiriinya ne Ssewanyana gwongezeddwayo

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu ewozesa egya Nnaggomola Alice Komuhangi eyongezzaayo okuwulira omusango oguvunaanibwa ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegirinya Muhammad FANS PAGE ne Hon. Allan Ssewanyana okutuuka nga 19 February 2024. Kino kiddiridde Munnamateeka wa Ssegirinya, Sam Muyizzi Mulindwa okutegeeza Kkooti nti omuntu we tasobodde kulabikako olw’ensonga yaweebwa ekitanda ate ng’akyetaaga obujjanjabi obusingawo […]

Mpuuga wesonyiwe ensonga za FDC – Kikonyogo

Omwogezi w’ekibiina ki Forum for Democratic Change – FDC ow’ekiwayi ky’e Najjanankumbi John Kikonyogo avuddeyo nayambalira akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba gwagamba nti yesuuliddeyo ogwa nnagamba ku nsonga y’okutyoboola eddembe ly’obuntu kyokka nadda mu kubuukira ensonga z’ekibiina kya FDC zagamba nti tezimukwatako. Bano bamulabudde okukomya okwogera byebayise ebyanjanjwa ku Kibiina […]

Rev. Fr. Mudduse wakuziikibwa nkya

Enteekateeka z’okuziika Rev Fr. Lawrence Yawe Mudduse ayafiiridde mu kabenje zifulumye. Okusinziira ku Bwanamukulu wa lutikko ya Kiyinda – Mityana, Rev Fr. Steven Lusiba, olunaku lwaleero wategekeddwawo Mmisa y’okumusabira ku Lutikko ya Kiyinda – Mityana era omulambo gwe wegugenda okusuzibwa oluvannyuma aziikibwe olunaku lw’enkya mu kifo ky’ekimu.

Tujja kufa tulwanirira ebintu by’Obusiraamu Dr. Kisambula

Ssentebe wa Uganda Muslim Supreme Dr. Lubega Kisambula yavuddeyo nategeeza mu Lukiiko lwa Bannamawulire nti olukwe lwokutunda ebintu by’Obusiraamu lwakolebwa Bammemba ba Supreme abakadde, nti era Bamafiya bano olukwe balukola nga Mufti Shaban Mubajje takimanyi. Ono yategeezezza nti bewaddeyo okukwatibwa, okuttibwa n’okubakuba tear gas naye nga tebalekeredde bintu bya Busiraamu kutwalibwa. Ono agamba nti ne […]

Omukuumi wa maka ga Bobi Wine atikiddwa

Omukuumi era alabirira ennimiro mu maka g’omukulembeze wa National Unity Platform Higenyi Sherif y’omu ku bayizi 1862 abatikiddwa olunaku lw’eggulo ku ttendekero lya Kampala International University. Higenyi eyafunye Diploma in Public Administration yategeezezza nti amaanyi okuddayo okusoma yagafuna kuva mukama we Kyagulanyi gwakoledde kati emyaka 5 ate nga yabadde amuweerera. Higenyi agamba nti wakweyongerayo okusoma […]

Ssaabasajja asiimye nadduukirira essomero lya Salaama School for the Blind

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi asiimye nadduukirira essomero ly’abamuzibe erya Salaama School for the Blind n’ebintu ebikozesebwa ng’omu ku kaweefube w’okukwasizaako abayizi mu ssomero lino n’okulaba nga batambuza bulungi obulamu bwabwe. Kabaka obuyambi buno abuyisizza mu kitongole ki Nkuluze era ebintu omuli omuceere, sabbuuni, engano, buto, sukaali, byebiweereddwayo.

Omubaka Ssekitoleko agobeddwa mu Kakiiko ka Palamenti

Omubaka wa West Budama North East Fox Odoi alagidde Omubaka wa Bamunanika County Munnakibiina kya National Unity Platform Robert Ssekitoleko okwamuka olukiiko lwa Akakiiko ka Palamenti aka Legal & Parliamentary Affairs nga agamba nti bano Sipiika Nnaalongo Anita Annet Among yabayimiriza okuddamu okutuula mu Bukiiko buno okutuusa nga bazzeemu okutuula mu ntuula za Palamenti.

Sipiika agobye ekiteeso kya Gavumenti okusasulira abawala abafuna embuto nebava mu masomero

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among agaanye ekirowoozo ekibadde kireeteddwa Omubaka Omukyala owa Disitulikiti y’e Bugiri Agnes Taaka ngayagala Gavumenti eteekewo ensawo eyenjawulo evaamu ensimbi eziweerera abaana abawala ababa bavudde mu masomero oluvannyuma lwokufuna embuto basobole okuddamu okusoma. Sipiika agamba nti Gavumenti terina ssente ezo, nti wabula yabateerawo enkola y’okusoma ebyemikono gyebasobola okugenda nebabaako byebayiga.