Poliisi erabudde Bannayuganda ku bafere

Amaggye tetugetaaga mu kulonda, Poliisi emala – Palamenti

Palamenti egobye okusaba kwa UPDF okwobuwumbi 138 nga zino zibadde zakweyambisibwa mu kulondoola kalulu ka 2026. Palamenti etegeezezza abakulu nti guno mulimu gwa Uganda Police Force era nebabagamba nti bwewanabaawo ensimbi zonna nga zakukola kino zakuweebwa Poliisi. UPDF etegeezezza nti ssente zino zakukozesebwa mu bikwekweto nti amaggye gakuwa n’Ababaka bennyini abagoba ssente zino obukuumi, wabula […]

Okuwummula n’okufa kwabalamuzi byebimu kubirwiisiza okuwa ensala yaffe – CJ Owiny-Dollo

Ssaabalamuzi Alphonse Owiny-Dollo ategeezezza nti omuliro ogwakwata Kkooti Ensukkulumu, okuwummula kwomulamuzi Paul Mugambwa, ne Ezekiel Muwanguzi wamu n’okufa kw’abalamuzi Apio Aweri ne Stella Arach zezimu ku nosnga ezirwiisizzaawo okuwa ensala yaabwe ku bantu babulijjo okusigala nga bavunaanibwa mu Kkooti yamanye oba nedda. CJ Owiny-Dollo cites the fire that gutted the Supreme court, the retirement of […]

Kabazuguluka addizibwe ssente ze zonna zayonoonye mu musango – Omulamuzi Tuhaise

Omulamuzi Persy Night Tuhaise avuddeyo nawa ensala ye nategeeza nti okuvunaana omuntu omusango gwonna kulina kukolebwa DPP. Ono ayongeddeko nti amazima n’obwenkanya bisobola okukolebwa era nokwolesebwa singa Bammemba ba General Court Martial babeera nobuyigirize mu nsonga zamateeka bwatyo nategeeza nti GCM terina busobozi buwozesa bantu. Ono agobye okujjulira era nalagira Hon. Micheal Kabaziguruka addizibwe ssente […]

Namwandu wa Ssegiriinya yesowoddeyo okumuddira mu bigere

Omu ku bakyala b’omugenzi Muhammad Ssegiriinya aka Mr Updates , Twahira Ssegiriinya avuddeyo olunaku olwaleero nalangirira nga bwagenda okwesimbawo ku kifo kyomubaka wa Kawempe North okuddira omwami we mu bigere eyava mu bulamu bwensi. Ono yesimbyeewo ku bwannamunigina. Bya Khalid Kintu #ffemmwemmweffe

NRM gweyawadde kkaadi si mutuuze w’e Kawempe – Karadi

Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM mu Kawempe North bavuddeyo nebalaga obutali bumativu bwabwe ku ngeri Faridah Nambi gyeyaweereddwamu Kkaadi okukwatira ekibiina bendera kukujuza ekifo ky’Omubaka wa Kawempe. Abamu bawuliddwa nga bagamba nti ono si namutuuze mu Kawempe nga bweyabuuziddwa gyabeera ngabategeeza nga offiisi ye bweyagitadde ewa Mbogo. Hajjat Hanifah Karadi agamba nti babagambye […]

GCM erina kuwozesa b’Amaggye so ssi bantu babulijjo – Justice Mugenyi

Omulamuzi Monica Mugenyi ategeezezza nti Kkooti y’Amaggye Kkooti etuukiridde erina obuyinza okuwozesa Bannmaggye ba UPDF ababa bazizza emisango nga bakyali mu buweereza. Ono ayongeddeko nti omuntu wabulijjo yenna ayambako omusirikale wa UPDF okuzza omusango naye butereevu abeera alina kuvunaanibwa mu Kkooti eno. Wabula awabudde nti Kkooti eno eyongerweko Abalamuzi ababulijjo nga balondebwa DCJ ate ne […]

Kkooti y’amaggye tesobola kuwa nsala y’amazima nabwenkanya – Omulamuzi Bamugemereire

Omulamuzi Catherine Bamugemereire mu nsala ye agamba nti yandiyimirizza emisango gyonna egigenda mu maaso mu Kkooti y’Amaggye okuleka egyo egyokubonereza abasirikale abakyali mu maggye oluvannyuma lwokugizuula nti ekontana ne Ssemateeka era tesobola kuwa nsala yamazima nabwenkanya nga obuwayiiro 28(1) ne 44 obwa Ssemateeka bwebukirambika. Ono awabudde nti wabeewo okukola enongosereza mu UPDF Act. Ono era […]

IGG atandise okunoonyereza ku Uganda Land Commission

Abakungu okuva mu offiisi ya kaliisoliiso wa Gavumenti olunaku olwaleero bagenze mu offiisi ya Uganda Land Commission mu Kampala okukola okunoonyereza ku kwemulugunya okuwerako okwatekebwayo abantu abenjawulo nga bagamba nti baguza Gavumenti ettaka wabula nga tebasasulwanga. Waliwo abantu mu ULC abavaayo nebatemya ku IGG nga bwewaliwo ssente ezasulwa ku ttaka eritaliiyo. Abanoonyerezebwako kuliko; Registry, Senior […]

Kitalo! Akulira ISO afudde

Kitalo! Director General wa Internal Security Organization (ISO), Brig. Gen. Charles Oluka, afudde. Ono afiiridde mu Ddwaliro e Sseguku gyaddusiddwa olweggulo lwaleero okufuna obujanjabi. #ffemmwemmweffe