Kitalo! Fr. Mudduse afiiridde mu kabenje

Harry Maguire akirizza okwetonda kwa MP w’e Ghana

Omubaka wa Palamenti ow’Eggwanga lya Ghanan Isaac Adongo eyavaayo nageraageranya Minisita ku muzibizi wa Manchester United Harry Maguire eyali asamba obubi omwaka oguwedde yavuddeyo namwetondera era namuwaana olw’ensamba ennungi gyayolesa kati. Maguire akirizza okwetonda kwe nategeeza nti amwesunga okumulabako ku Old Trafford.

Okutuggyako ensako tekijja kutujja ku mulamwa – Hon. Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba asekeredde abalowooza nti Ababaka bakulembera basobola okupondooka nebakomawo mu Palamenti nga byebaasaba tebikoleddwa olw’okutya okuggyibwako ensako nagamba nti akirowooza ali ku bibye kubanga Ababaka tebasobola kuwewuka kutuuka awo kubanga omuwi w’omusolo abasasula bulungi ekimala. Owek. Mpuuga agamba nti wadde ng’ensako ya Babaka ya makulu gyebali […]

Abavubuka e Kassanda bapangisizza Generator okukwata enseenene

Ekibinja ky’Abavubuka mu ttawuni y’e Kassanda balabiddwako nga batikkula Generator gyebagenda okukozesa okufuna amasanyalaze agokukozesa mu mitego gyabwe egye Nseenene. Bano bagamba nti Generator bazipangisizza Kampala oluvannyuma lwokuwulira nti enseenene zagudde mu Disitulikiti y’e Mubende. Bano bazipangisizza obukadde 15 okumala emyezi 2.

Ebyapa by’ettaka okuli ekitebe nennyumba ya Ambassador wa Uganda e S.Africa tebirabikako

Ababaka bawuunikiridde olunaku lw’eggulo omukungu okuva mu Uganda Land Commission bweyabategeezezza nga ebyapa by’ettaka okuli ekitebe kya Uganda mu Pretoria wamu n’ekyamaka ga Ambassador bwebitakubwako kyamulubaale nga neyaliko Omubaka wa Uganda e South Africa naliko kati bategeezezza nti tebabirabangako mu offiisi. Andrew Nyumba yategeezezza nti Minisitule y’ensonga z’ebweru yabasabye bigiwe ebyapa bino wabula bwebakebedde nga […]

Poliisi ezudde emotoka 10 ezibadde zabbibwa

SCP Namutebi Hadijaha avuddeyo nategeeza nga ttiimu yabasirikale ba Uganda Police Force okuva mu Flying Squad bwebakola ekikwekweto nga 26 October, 2023, mu Kampala n’emiriraano nekigendererwa ekyokukwata ababbi b’emotoka mwebakwatira Kisuule Juma okubayambako mu kunoonyereza. Bweyabuuzibwa ono yalonkoma banne bwebabba wamu n’okutunda emotoka era banne bano nebakwatibwa nga basangibwa Wobulenzi mu Disitulikiti y’e Luwero nga […]

Sipiika mumuleke ayogere byayagala – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nayanukula Sipiika wa Palamenti, Nnaanlongo Anita Annet Among ku by’okubagaana okuddamu okukola omulimu gwa Palamenti gwonna n’agamba anti obuyinza bwe yandibadde abukozesa okubanja abantu abaawambibwa okusinga okubumalira ku Babaka. Ono agumizza Babaka banne bwebaazira entuula za Palamenti nti tebaba na kutya kwonna ku nsonga […]

Omulamuzi n’omuwaabi wa Gavumenti basindikiddwa ku alimanda lwa nguzi

Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okuva mu maka g’omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force olunaku lw’eggulo kaakutte Omulamuzi omukulu owa Kkooti esookerwako owa Disitulikiti ye Ssembabule Sylivia Nvanungi n’omuwaabi w’emisango gya Gavumenti Jackline Bako nekabatwala Kkooti mu misango gy’okulya enguzi. Bano baasindikiddwa ku alimanda ng’okunoonyereza […]

Tuli ku nsonga yabawambibwa – LOP Mpuuga

Akulira Oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba ategeezezza nti Ababaka ku ludda Oluvuganya abakagenda mu maaso n’okukiika mu Palamenti balina ensonga zaabwe ez’obuntu naye ssi za ludda luvuganya era ye ne banne bakyali bumu wadde nga waliwo abaagala okubaggya ku mulamwa. Ono yewuunyizza omu ku Babaka abo eyavaayo nagamba nti eby’okuzira entuula […]

Mulekerawo okuweebula ekitiibwa kya ssente ya Uganda – BOU

Bbanka enkulu eya Uganda erabudde abantu abagufudde omusono okukola ebimuli mu ssente netegeeza nti kino kiwewula ekitiibwa kye ssente z’eggwanga era esabye bannayuganda okukikomya mbagirawo. Okusinziira ku bakulu mu Bbanka eno ssente zino bweziba zisibwamu ebimuli z’onooneka olw’ebyo byebakozesa okuzigattagatta ekizimalamu omuwendo nga kikaluubiriza n’ebyuma ebizibala ng’ebya ATM okuzibala.