Abakungu okuva mu Bwakabaka betabye mu kusabira omugenzi Mpanga

Temujja kuntiisatiisa sinze nawamba abantu bammwe – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nategeeza Ababaka abamulumba ku mikutu gya social media ku kusalawo kweyakola okugoba Ababaka abasalawo obutalabikako mu ntuula za Palamenti nategeeza nti yali talina kiyinza kumuyigula ttama n’ekirala nti ebizibu byokulinyirira eddembe ly’obuntu byaleetebwa Executive so ssi Palamenti.

Eyatta muganzi we akaligiddwa emyaka 30

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Henry Kaweesa Isabirye e Mukono awadde Mathew Kirabo ekibonerezo kyakusibwa myaka 30 mu kkomera e Luzira oluvannyuma lwokuzuulibwa nti yatta muganzi we Desire Mirembe 19 mu 2015 nga yamusala mumiro, omulambo ggwe nagusuula mu nsiko. Bwabadde amuwa ekibonerezo eky’emyaka 30 ategeezezza asinzidde ku nsonga nti Kirabo gwe mulundi gwe ogusoose okuzza […]

Lwaki temubebuuzaako nga tebanafa? – Hon. Ogwal

Omubaka omukyala akiikirira Disitukiliki ye Dokolo, Cecilia Ogwal agugumbudde Ababaka abagambye nti bejjusa obuteebuuza ku Owek. Joyce Mpanga ku butya bwebasaana okuddukanya Eggwanga n’ababuuza ekyabagana okumunoonya mu kiseera wabeeredde omulamu. Ono asabye ababaka okuzuukuka bakoseze abantu n’ebintu ebibetoolodde ng’obudde bukyaliwo. Bino aby’ogeredde mu lutuula olw’enjawulo Palamenti lweyataddewo okusiibula n’okusiima Owek. Joyce Mpanga olw’emirimu gyakoledde Eggwanga.

Abasenguddwa ku ttaka baddukidde mu UHRC

Abantu abasoba mu 200 abasemguddwa ku ttaka okuva mu miruka 3 okuli; Mbuya, Banda me Kireka bakedde mu Kakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC okwekubira enduulu oluvannyuma lwa Uganda Police Force okumenya amayumba gaabwe ngegamba nti besenza ku ttaka lyayo. Bano bakulembeddwamu Lord Mayor Erias Lukwago.

KCCA egobye abatuuze abasoba mu 200 ku ttaka e Kyanja

Abatuuze abasoba mu 200 be basobeddwa eka ne mu kibira oluvannyuma lw’ennyumba zaabwe okumenyebwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA. Ezimu ku nnyumba ezimenyeddwa mwemubadde neya Taata w’omwana akubye omulanga nga yeebuuza gyagenda okudda n’omwana we omuwere mukyala we gwamusuulidde oluvanyuma lwa KCCA okubasengula ku ttaka kwebabadde bawangaalira e […]

Omulabirizi w’e Namirembe omuggya alondeddwa

Ssaabadinkoni w’e Luzira, Ven. Canon Moses Bbanja alondeddwa ng’Omulabirizi we Namirembe omuggya okudda mu bigere by’Omulabirizi Wilberforce Kityo Luwalira agenda okuwummula. Ono ye mulabirizi ow’omukaaga nga agenda kutuuzibwa nga 10 omwezi ogujja ogwa December 2023.

Abalaalo abali mu Acholi Baminisita naba General ba Museveni – Ssaabalamuzi

Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo; “Namugamba (Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni) nti twasooka kulowooza nti Abalaalo abasumbuwa abantu baffe mu kitundu kyaffe bebali Abalaalo ddala, naye twakizudde nti bano Balaalo balongoseemu. Abalaalo mu bbaluwa muganda wo (Gen. Salim Saleh) gyeyawakuwandiikira Baminisita bo 15 ne ba General mu maggye. Namubuuza lwaki akiriza ba General be abali mu maggye okugenda […]

Obwakabaka bukubagizza ab’ennyumba ya Mpanga

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka Owek. Bob Nsibirwa agenzeeko mu maka g’omugenzi Owek. Joyce Mpanga e Lungujja okukubagiza n’okutuusa obubaka okuva Embuga. Ono ayogedde ku mugenzi ng’omukyala aweerezza Obuganda nga teyeebalira. Owek. Joyce Mpanga wafiiridde abadde mukiise mu Lukiiko lwa Buganda era omuwi wa magezi eri Ssaabasajja ng’okusinziira ku Owek. Nsibirwa, Beene amutwalira […]

Balondemu aziddwayo ku alimanda

Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu n’ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza ku misango ekya CID bizzeemu okutwala Ssentebe wa Kakiiko k’ebyettaka owa Disitulikiti y’e Kampala David Balondemu mu Kkooti y’Omulamuzi wa Buganda Road wamu ne Ibona Joseph ku […]