Ab’e Kiryokya bekalaakasizza lwakuggyawo Poliisi mu kitundu

Basabidde omwoyo gw’omugenzi Mpanga e Lungujja

Abantu ab’enjawulo bakunganidde ku kkanisa ya St. Stephen’s Church e Lungujja okusabira omwoyo gw’omugenzi Owek. Joyce Mpanga. Owek. Mpanga yafudde ku Lwamukaaga lwa wiiki ewedde nga wakuziikibwa ku Lwokuna lwa wiiki eno nga 23.

John Ddamulira aliwa? – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “JOHN DAMULIRA ALIWA? Yawambibwa nga 19 December 2020 okuva ku dduuka lye ewa Kisekka mu Kampala. Yatwaalibwa nemutabani we Alvin wamu n’abasajja abalala 3 abaali bakedde okugula ebyuuma by’emotoka. Abalala bayimbulwa naye John Damulira taddangamu kulabika kati emyaka 3.”

Pulezidenti Museveni alambudde emirimu egikolebwa mu Kampala

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ettuntu lyeggulo yalimazeeko ngalabula emirimu egikolebwa mu Kampala n’e Entebe nga Uganda yeteekerateekera olukungaana olwomulundi ogwe 19 olwa Non-Aligned Movement Summit (NAM) mu January 2024. #namsummitug2024

Omuzana Amb. Venetia aziikiddwa e Rusororo

Obwakabaka bwa Buganda butenderezza nnyo emirimu amatendo n’omukwano omugenzi Ambassador Venetia Sebudandi gw’abadde alina eri Obwakabaka n’ebirungi entoko byabukoledde mu kiseera ky’amaze ku nsi. Obubaka buno bwetikkidwa omumyuka wa Katikkiro owookubiri era omuwanika w’Obwakabaka Owek. Bob Nsibirwa ku mukolo gw’okusabira omugenzi Ambassador Venetia Sebubandi ogubadde ku Kkanisa ya St. Petero mu bulabirizi bw’e Kigali e […]

Denis Zimmula aliwa? – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “DENIS ZIMULA ALIWA? Emboozi ya Mw. Denis Zimula ekwasa ennaku naddala bwolowooza ku bujje lyebaamulesa ewa muliranwa nga teririiko ayamba! Zimula yali muvuzi wa Boda-Boda e Nansana-Kyebando. Yawambibwa nga 25th November 2020 mu ssawa ez’okumakya. Ali luddawa? Yazza gwaaki?”

George Weah yakirizza ebyavudde mu kulonda e Liberia

Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde mu Ggwanga lya Liberia kalangiridde Joseph Boakai ng’omuwanguzi mu kalulu k’obwa Pulezidenti bw’eggwanga eryo oluvannyuma lwokumegga abadde Pulezidenti, George Weah. Boakai awangulidde ku bitundu 50.9 ku 100 ate Weah n’afuna ebitudu 49.1 ku 100.

Maama Nabagereka ye yabadde omujulizi mu kugattibwa kwa Kyabazinga

Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda nga ateeka omukono ku ssatifikeeti ng’omujulizi mu bufumbo obutukuvu obwa Kyabazinga William Gabula Nadiope IV ne Inebantu Joviah Mutesi ku Christ’s Cathedral Bugembe, Jinja. Ebikumi nebikumi by’abantu beyiye ku Lutikko e Bugembe okubaawo nga abajulizi nga Kyabazinga William Gabula Nadiope IV agattibwa ne Inebantu Jovia Mutesi olwaleero.

NUP esabidde emyoyo gy’abantu abattibwa mu November 2020

Ebigenda mu maaso ku Kitebe kya National Unity Platform e Makerere Kavule ngabakulembeze wamu n’abawagizi b’ekibiina basabira emyoyo gyabo 50 abattibwa mu kwekalakaasa kwa 18/19 November 2020.

Abavubuka ba NUP bayonjezza oluggya lw’olubiri lwa Kyabazinga

Abavubuka okuva mu Kibiina kya National Unity Platform nga bakulembeddwamu Moses Bigirwa balabiddwako nga bayonja oluggya lw’olubiri lw’e Budhumbula, nga kino kye kitebe ky’e Bugabula era amaka amatongole aga Kyabazinga William Wilberforce Kadhumbula Gabula Nadiope IV.