Gavumenti ya NRM yakunnama dda ku by’eddembe lyobuntu – Mao

Poliisi ezudde ebbokisi z’amasasi 2 e Masaka

Uganda Police Force mu kibuga Masaka mu Divizoni ya Kimaanya Kabonera egudde ku bibookisi bibiri ebiteeberezebwa okubaamu amasasi nga bino bisangiddwa mu muzigo ogumu mu tawuni ye Kyabakuza. Amyuka Omubaka wa Pulezidenti mu kibuga Masaka atwala divizoni ya Kimaanya-Kabonera, Haji Ahmed Kateregga Musaazi ategeezezza nti omuzigo mwebasaanze ebibookisi bino waliwo omupangisa eyagulimu n’alemererwa okusasula naabulawo […]

Ababaka ba Opposition abaagala okugolagana ne NRM temukukuta – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo ku Babaka abali ku ludda oluvuganya Gavumenti wabula nga bano bateetera ne Gavumenti nabasaba baveeyo mu lwatu begatte ku National Resistance Movement – NRM okusinga kwebuzaabuza. Mpuuga agamba tebalina bwebayinza kutuukiriza bigendererwa bya ludda luvuganya ng’ate mulimu abakukuta ne Gavumenti ng’ate bakimanyi bulungi nti […]

Ebya Among okutugoba yerimba talina tteeka mwatugobera – Hon. Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nti okulabulwa okwakoleddwa Sipiika Anitah Among ngabatiisatiisa okubagoba singa banamala entuula 15 ezomuddiringanwa nga tebalabiseeko mu Palamenti, kyakukwata Baminisita nga Kahinda Otafiire, si Babaka ba ludda luvuganya kuba obutabaawo bwabwe babukola mu buwandiike eri Palamenti.

Omukyala Alison Anna Nadiope mutaka mu Uganda

Omukyala Alison Anna Nadiope agamba nti ye Mukyala wa Kyabazinga William Wilberforce Gabula Nadiope IV kigambibwa nti atuuse mu Ggwanga Uganda okuva e London ngekimuleese kukungaanya bujulizi ku lunaku lw’embaga enkya. Ono ayagala bamuliyirire obukadde 750. Wabula zzo enteekateeka z’omukolo zikyagenda mu maaso.

Enguudo zigenda kuggalwa e Jinja olw’embaga ya Kyabazinga

Mu kwetegekera embaga ya Kyabazinga William Nadiope Gabuala IV egenda okubaayo olunaku lw’enkya, Uganda Police Force erambise enkozesa y’enguudo egenda okugobererwa. Aduumira Poliisi y’ebidduka mu kibuga Jinja, Joachim Baluku ategeezezza nti olw’ebyokwerinda bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni n’ebyabagole, oluguudo oluva e Jinja okudda e Busia lugenda kuggalwa. Pulezidenti n’abagole bajja kukozesa luguudo oluyitibwa Cathedral Road nga luno terugenda kukkirizibwako […]

Olubiri lwa Kyabazinga olw’e Budhumbula luyooyoteddwa

Olubiri lw’e Budhumbula, ekitebe ekikulu eky’e Bugabula nga ge maka ga Kyabazinga William Wilberforce Kadhumbula Gabula Nadiope IV amatongole. Mu maka muno Kyabazinga mwasuubirwa okusula olwaleero wanaava olunaku lw’enkya okwolekera embaga.

Omukolo gwokugatta Kyabazinga ne Inebantu gutandika ssaawa ttaano ezookumakya – Katuukiro

Katuukiro wa Busoga Dr.Joseph Muvawala alangiridde nti omukolo gw’okugatta Kyabazinga William Gabula Nadiope IV ne Inebantu Mutesi Jovia ku lutikko e Bugembe gugenda kumala essaawa bbiri zokka olwo boolekere Olubiri Kyabazinga wagenda okusembereza abagenyi be. Okusinziira ku Katuukiro, omukolo guno gwakutandika ku ssaawa ttano zennyini era asabye abaagala okubaawo nga abajulizi mu kugatta abagole kuno […]

Enteekateeka z’embaga ya Kyabazinga zigenda mu maaso

Ebbugumu lyeyongedde mu nteekateeka z’embaga ya Kyabazinga William Wilberforce Gabula Nadiope IV ng’essaawa eno ebidaala abagenyi ba Kyabazinga mwebanaatuula byatandise dda okuzimbibwa. Omukolo guno gwa ku Lwamukaaga lwa wiiki eno nga gusuubirwa okumenya ebitooke olw’abanene abasuubirwa okugwetabako.

UNRA etandise okuteeka ebitaala ku luguudo lwa Entebe Expressway

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority kitandise okuteeka amataala ku luguudo lwa Entebbe Expressway mu kaweefube w’okulaba ng’obulamu bw’abantu abalukozesa tebuli mu katyabaga. Okusinziira ku kitongole ki UNRA omwaka guno wegunaggwerako amataala agawerera ddala 1000 gajja kuba gamaze okuteekebwa ku luguudo luno.