Ababaka ba Opposition betemyeemu ku kyentuula

Mulowooze ku kyokugaziya amakomera – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nasaba Ababaka nti bwebabeera bakola embalirira y’Eggwanga, ensonga y’okuzimba amakomera bagiteeke ku mwanjo kubanga abasibe basusse obungi. Sipiika agamba nti yayogeddeko n’akulira ekitongole ky’amakomera, Johnson Byabashaija namutegeeza nti omuwendo gw’abasibe gweyongera buli lunaku era kati amakomera tegabamala. Ono agamba ekkomero lye Luzira lyokka ssi ly’eririna okufiibwako wabula n’amakomera amalala.

Enseenene bwezinalabika mungamba – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Guno omwezi gwa Museenene, ziriwa? Nkyuuka yabudde? Sirya nseenene, wabula abali b’enseenene, ebyenyanja n’ebirala naye mbaagaliza birungi ababirya. Muntegeezaako nga zirabise. Ate zzo enswa. Ogwekkumi guba mwezi gwa nswa, zzo zalabika?”

Ababaka mulekerawo okwonoona erinnya lya Gavumenti – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nalabula Ababaka abava mu Lango Sub-Region okukomya okuttatana ekifaananyi kya Gavumenti nga bategeeza nti ekisaawe kya Aki-Bua kyagibwa ku lukalala lw’ebisaawe ebigenda okukyaaza empaka za AFCON 2027, nategeeza nti ebikolwa nga bino byandireetera Uganda obuzibu wamu n’okwonoona ekifaaananyi kyayo mu kibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere ku lukalu lwa Afirika ekya […]

Munnayuganda alemereddwa okugaggawala wakukubwa miggo – Minisita Kasolo

Minisita avunaanyizibwa ku bya Microfinance Haruna Kasolo; “Mu maaso eyo Gavumenti yandiyise etteeka mu Palamenti nga buli Munnayuganda omunafu nga mwavu awewenyulwa emiggo asobole okuyiga okukola asobole okugaggawala kuba tukizudde nti Bannayuganda balina kusindikirizibwa okusobola okugaggawala.”

Enguudo mu Disitulikiti y’e Kassanda zasalwako amazzi

Embeera enguudo zomu Disituliki ey’e Kassanda gyezirimu eyungula ezziga. Oluguudo oluva e Kyakatebe – Lwamasanga – Kyabayima lwasalwako amazzi agatwala ebigoma. Disitulikiti teweebwa nga byuuma bikola nguudo ebyagisuubizibwa. Omubaka Kabuye Frank Kibirige akiikirira Kassanda South agamba nti ssente Disitulikiti zerina zakugula bigoma byokka nga terina nsimbi zakuyisaamu grader.

Kkooti ewadde Hon. Ssegiriinya ppaasipooti atwalibwe ebweru ajanjabwe

Kkooti Enkulu e Masaka kyaddaaki ekirizza okusaba okwateekebwayo Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegirinya Muhammad FANS PAGE ngayagala aweebwe ppaasippooti ye asobole okugenda okufuna obujanjabi ebweru w’Eggwanga. Munnamateeka we Lawrence Kabuye yabaddewo ku lulwe okugifuna era nga ekiragiro kyaweereddwa Omulamuzi Lawrence Tweyanze. Ono ategeezezza nti ppaasipooti balina okugikomyaawo nga 15 […]

Okukwata Bobi Wine twali tumutaasa – DIPG Katsigazi

Omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force Maj. Gen. Katsigazi avuddeyo nategeeza nti Omukulembeze wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine Poliisi okumukwatira ku kisaawe Entebe baali bataasa bulamu bwe n’abawagizi be kuba singa tebakola ekyo abantu bangi bandifudde. Ono agamba nti bamusaba bwaba ayagala okukola ‘One Million Match’ agitwale e Magere […]

Bobi Wine okumukwatira ku kisaawe twali tutaasa bulamu bwe – DIGP Maj. Gen. Katsigazi

Omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force Maj. Gen. Katsigazi avuddeyo nategeeza nti Omukulembeze wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine Poliisi okumukwatira ku kisaawe Entebe baali bataasa bulamu bwe n’abawagizi be kuba singa tebakola ekyo abantu bangi bandifudde. Ono agamba nti bamusaba bwaba ayagala okukola ‘One Million Match’ agitwale e Magere […]

Aba opposition njakubagoba bwemutadda mu Palamenti – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo natiisatiisa okugoba Ababaka b’oludda oluvuganya singa banagenda mu maaso nokwebalama entuula za Palamenti olwokuba Gavumenti tenabanukula ku nsonga z’abantu abawambibwa wamu n’okulinyirira eddembe ly’obuntu. Ono agambye nti kabatande babulewo mu ntuula 15 ezomuddiringanwa nga tebasoose kufuna lukusa kuva mu offiisi ajja kubagoba. Sipiika era abanenyezza olwokusalawo nebagaana okujja mu […]