Pulezidenti Museveni asisinkanye His Highness Sheikh Mohamed Bin Zayed Al Nahyan

Aba ADF batiitiizi nnyo – DIPG Maj. Gen. Kastigazi

Amyuuka omuduumizi wa Uganda Police Force mu Ggwanga, Maj. Gen. Geoffrey Tumusiime Kastigazi agamba abayeekera ba ADF tebalina maanyi nga bwebalowooza wabula batiitiizi kubanga balumba abantu b’abulijjo abatalina kyakulwanyisa kyonna nebabatuusaako obulabe mu kifo ky’okulumba abalina emmundu. Maj. Gen. Kastigazi ayongerako nti essaawa yonna bagenda kumalawo aba ADF kubanga wetwogerera abasinga babasse.

Tewali muntu yenna yazzeemu kubuzibwawo okuva lwetwava mu kalulu – DIGP Maj. Gen. Tumusiime

Omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force Maj Gen. Geoffrey Tumusiime Kastigazi akubye bituli mu by’ekiwamba bantu ab’oludda oluvuganya byebagamba n’ategeeza nti abantu aboogerwako baakwatibwa mu biseera bya bululu era Poliisi yavaayo dda ne alipoota ennambulukufu ku nsonga eyo kyokka ab’oludda oluvuganya basigala bagikomyawo buli kadde nga bakikozesa okuzannya eby’obufuzi byabwe. Okusinziira ku Maj Gen. Kastigazi […]

Munnayuganda eyayiyizza ennyonyi Poliisi emugaanye okugibuusa

Uganda Police Force e Mityana eremesezza enteekateeka y’okugezesa ennyonyi eyakoleddwa musaayi muto, Lubega Maluwa omutuuze ku kyalo Ttamu mu disitulikiti ye Mityana. Ono yabadde wakugigezesa olunaku lw’eggulo okulaba amaanyi gaayo era okusinziira ku amyuuka omubaka wa Pulezidenti e Mityana, Prossy Mwanjuzi, Lubega yabadde asabye olukusa wabula Poliisi nemugaana ng’egamba abakugu mu by’enyonnyi balina kusooka kugyekebejja. […]

Abafumbo bebakaka akaboozi muwaabe ku Poliisi – Hon. Opendi

Omubaka Omukyala akiikirira Abakyala mu Disitulikiti y’e Tororo Sarah Opendi avuddeyo nategeeza nti mu bbago ly’etteeka erya Marriage Bill lyakolako nga bweritagenda kubaamu kawaayiro kakwata ku kukaka mukwano wakati w’Abafumbo. Opendi agamba nti ebituukawo mu bisenge by’abantu tebimukwatako nakubiriza abo abalina ensonga ngezo okugenda baloope ku Uganda Police Force ebali okumpi.

Agambibwa okukulembera okutta abalambuzi asimbiddwa mu Kkooti

Agambibwa okudduumira abayeekera ba ADF abaakola obulumbaganyi ku kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park nemufiiramu Munnayuganda n’abazungu babiri, Abdul Rashid Kyoto amanyiddwa nga Njovu asiimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti esookerwako e Nakawa mu Kampala n’asomerwa emisango. Ono emisango egimuguddwako kuliko ogw’obutujju, obutemu n’ogwobubbi obw’ekika ekyawagulu nga gino gyonna gyekuusa ku bulumbaganyi obwo.

Abasawo e Mulago mwebale kujanjaba bantu – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo natendereza obuweereza obuli ku mutindo n’okwewaayo kw’Abasawo ku Ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital bwabadde agenzeeyo okulaba ku mubaka wa Dakabale County Cosmos Elotu ettuntu lyaleero. Asiimye emirimu egikolebwa Director, Dr. Rosemary Byanyima, ne ttiimu ye wamu ne Minisitule y’Ebyobulamu olwomulimu gwebakoze okutuusa obuweereza obulungi eri abantu.

Tewanabaawo bulumbaganyi bwonna ku Acacia – Luke Owoyesigyire

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire alabudde Bannayuganda ku katambi akasaasanidde omutimbagano nga kalaga nga bwewaabaddewo obulumbaganyi bw’abakwata mmundu ku kizimbe kya Acacia Mall mu kiro ekikeesezza olwaleero. Ono ategeezezza nti tebalina kyebamanyi ku bulumbaganyi buno era n’asaba Bannayuganda obutakamalirako budde kuba sikatuufu.

Omuwuliriza wa Simba yewangulidde piki piki

Ssemanda Charles 19 okuva ku Kyalo Kayeeya mu Disitulikiti y’e Mubende yewangulidde piki piki empya ekika kya UG Boss okuva mu Simba Automatives ne Radio Simba. Ono yalonda emirundi egisoba mu 280 era mu kalulu akakwatiddwa halondeddwa.

Omukyala agobeddwa mu maka oluvannyuma lw’omulamuzi okusala omusango

Omulamuzi wa kkooti y’amaka e Makindye Opio Charles asaze omusango gw’abagalana abaludde nga bagugulana olw’omwami okugoba omukyala we mu maka. Okusinziira ku nsala ye, omukyala alagiddwa okuva mu maka. Agobeddwa mu nnyumba ye Rebecca Nakaggwa kyokka aweze okweyongerayo afune obwenkanya.