NUP ssente zeyafuna mu Gavumenti yazimbamu kitebe
Eyaliko Minisita Hon. Kiwanda Godfrey Ssuubi omumyuuka wa Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM owamassekkati; “Ssente ezaazimbye ekitebe kya National Unity Platform – NUP zavudde mu Gavumenti era ffe nga Gavumenti tuli basanyufu nti baazikozesezza bulungi.”
Waliwo abafere abawandiisa UNOC eyaabwe e Kenya
Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa kukulondoola obugagga obw’ensimbo kakitegeddeko nti waliwo abantu abamu mu Uganda abalina enteekateeka y’okuwandiisa Uganda National Oil Company Limited (UNOC) nga kkampuni eyaabwe kubwabwe eyobwannanyini mu Ggwanga lya Kenya ebeere nga yeyokka erina okuyingiza amafuta mu Uganda. Omubaka akiikirira West Budama South Emmanuel Otaala agamba; “Simanyi oba mukimanyiiko naye nategeezeddwa nti UNOC […]
Sipiika akyalidde ku mubaka Ssegiriinya mu Ddwaliro
Sipiika wa Palamenti Anitah Among; “Ettuntu lyaleero nkyaliddeko Omubaka Wa Kawempe North Hon. Ssegiriinya Muhammad ali mu ddwaliro akaseera kano. Ssegirinya agenda akuba ku matu mukaseera kano. Nebaza nnyo abasawo bonna abamukolako na bonna abalina kyebakoze.”
Amasomero 2 gagaddewo lwa Nyege nyege e Jinja
Essomero lya Victoria Nile Primary School n’erya Summit Nursery and Primary School e Jinja nga gano galiraanye ekifo awali entujjo ya Nyege Nyege gaggaddwa okutuusa nga ekivvulu kino kiwedde. Okusinziira ku akulira eby’enjigiriza mu kibuga Jinja, Haruna Mulopa kino kikoleddwa okutangira abaana abato okulaba emize egibeera mu ntujjjo eyo. Ab’obuyinza bagamba abayizi bwebabeera bagenda oba […]
Naffe mu Ankole tukaaba mirimu – Hon. Mwijukye
Omubaka wa Buhweju County Francis Mwijukye; “Abantu bagamba nti emirimu emirungi gyonna mu Gavumenti girimu bantu bava mu Ankole. Bwotuuka ewaffe mu Ankole, naffe twemulugunya kya Famire ezimu ezirina abantu mu State House bebaweebwa emirimu egyo. Tusobola okwogera ku Ankole naye naffe tubonaabona.”
UNRA yakulinda amazzi okuggwawo okusobola okudaabiriza oluguudo oluliraanye omugga Kafu
Ekitongole ekivunanyizibwa ku by’enguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority kitegeezeza nti kirinze amazzi agaayanjala ku luguudo oluliraanye omugga Kafu gakalire kiryoke kikole okunoonyereza okuzuula oba luddamu okuggulwawo okuyisa ebidduka byonna oba ebimu byakulindako. Omugga guno gwabooga ku ntandikwa ya wiiki eno oluvannyuma lw’enkuba ey’amaanyi eyamala kumpi essaawa 7 nga etonnya.
SACCO ya Palamenti egenda kwesonyiwa amabanja g’Ababaka abaafa
SACCO ya Palamenti erina enteekateeka essuula amabanja agawereza ddala obukadde 421,373,441 nga zino zaali zewolebwa Ababaka 3 kati abagenzi nga bano kuliko eyali Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah nga ono yali abangibwa obukadde 294,918,413 weyafiira. Abalala kuliko; Rehema Wetongola obukadde 3,093,535 ne Patrick Okabe obukadde 123,361,493.
Pulezidenti Museveni akirizza abasinga nsimbi okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi e Kidepo
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’akozesa obuyinza obumuweeebwa Ssemateeka wa Uganda akkirizza bamusigansimbi okuva mu Ggwanga lya United Arab Emirates (UAE) okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi mu kkuumiro ly’ebisolo lya Kidepo Valley National Park. Bino bivudde mu nsisinkano n’abakungu b’ekibiina ki Sharjah Chamber of Commerce & Industry nga bano babadde bakulembeddwamu Ssentebe w’olukiiko olufuzi, Abdullah Sultan Al Owais. […]
Uganda egenda kwesuubulira amafuta gaayo
Kikakasiddwa nti okutandika n’ennaku z’omwezi 1 January omwaka ogujja ogwa 2024, Uganda tegenda kuddamu kugula mafuta kuva Kenya nga kiddiridde okuyingira mu ndagaano ne Vitol Bahrain E.C okumala ebbanga lya myaka 5. Bino okubaawo kiddiridde Kenya okugaana okusaba kwa Uganda kweyali etaddeyo ng’esaba bakole endagaano ebakkiriza okukozesa omudumu gw’amafuta ogwa Kenya Pipeline Company, Kenya kyeyagaana […]