Mustafa Luwemba aliwa? – LOP Mpuuga

Martin Lukwago aliwa? – LOP Mathias Mpuuga

Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Mw. Martin Lukwago aliwa? Nga 3 November 2020, mu katale e Bugoloobi mu Divizoni ye Nakawa. Mw Martin Lukwago yava ku mudaala gwe kweyali atundira eby’enyanja nagenda awummuze ku birowoozo ne banne nga bazannya Ludo. Wano abampembe abaali mu ‘Drone’ webabawambira nebabetooloza ekibuga okutuusa ekiro lwebasuula abamu […]

Darius Mugoye aziikiddwa e Sheema

Abantu ab’enajawulo beyiye ku kyalo Rubanga ekisangibwa mu Disitulikiti ye Sheema okuziika abadde omumyuka owookubiri owa Pulezidenti w’ekibiina ekitwala Omupiira gw’ebigere mu ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA), Darius Mugoye eyafa ku Lwokubiri lwa wiiki eno mu Ddwaliro e Mengo.

Pulizidenti Museveni akakasizza okukwatibwa kweyatta abalambuzi

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nategeeza Eggwanga nga abebyokwerinda bwebakutte omuyeekera wa ADF agambibwa okukuliramu okutta abalambuzi mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park gyebuvuddeko, abayizi ku ssomero lya Lhubiriha school, okwokya loole y’obutungulu e Kasese. Ono ategeerekeseeko elya Njovu yakwatibwa ne banne abalala basatu. Mungeri yeemu Pulezidenti Museveni akakasizza Bannayuganda nti obukuumi ku […]

Abadde yeyita owa NDA akwatiddwa e Iganga

Abasirikale ba Uganda Police Force wamu n’Abakungu okuva mu kitongole kya Uganda National Drug Authority e Iganda bakutte Nuwahereza Hamas nga kigambibwa nti ono abadde yeyita Drug Inspector wa UNDA nga akaka abatunda eddagala okumuwa ssente aleme kubaggalawo. and conning unsuspecting people in drug business. We thank the vigilance of our officers and police.

Alien Skin Poliisi emuyigga – Luke Owoyesigyire

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’e Katwe bwetandise okunoonyereza ku byabaddewo omwabadde n’okutomera emotoka nnamba UBK123C mu bugenderevu ngeno ya Andrew Mukasa aka Bajjo. Bino byabaddewo olunaku lw’eggulo ku ssaawa nga kumi na bbiri ezoolweggulo mu Kirudu zone, Luwafu Parish, Makindye Division, mu Kampala, […]

Bassentebe ba FDC abawangulwa balemedde mu offiisi

Wabaluseewo olutalo mu bakulembeze b’ekibiina ki Forum for Democratic Change oluvannyuma lw’abamu kuba Ssentebe b’ekibiina kino mu Disitulikiti ez’enjawulo okujeema okuzzaayo sitampu z’ekibiina n’okuwaayo woofiisi mwebabadde bakolera emirimu. Kino kiddiridde Ssaabawandiisi wa FDC ow’ekiwayi ky’e Najjanankumbi, Nandala Mafabi okufulumya ekiwandiiko ekiragira ba Ssentebe b’ekibiina mu Disitulikiti zonna abawangulwa okuwaayo sitampu z’ekibiina ssaako ne woofiisi bunnambiro. […]

Ababaka bawakanyizza ekya Gavumenti okulagira UNOC okutandika okusuubula amafuta

Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko akavunaanyizibwa ku by’obuggaga eby’ensibo bakubye ebituli mu nteekateeka ya Gavumenti okusalawo okuwa kkampuni yaayo eya Uganda National Oil Company Limited obuvunaanyizibwa obwenkomeredde okusuubula olwo kkampuni z’amafuta endala zigasuubule ku kkampuni eno, n’ekigendererwa eky’okukakkanya ku bbeeyi y’amafuta mu Ggwanga. Akakiiko kano kasisinkanye Ssaabawolereza wa Gavumenti Kiryoowa Kiwanuka ne Minisita w’ebyamafuta […]

NUP yazimba kizimbe, yo NRM ensimbi ezigiweebwa eyongera kwenyweza mu bantu – Haruna Kasolo

Minisita Haruna Kyeyune Kasolo; “Ebibiina byebyobufuzi biweebwa ensimbi okusinziira ku Babaka abava mu bibiina ebyo ababa bali mu Palamenti. National Unity Platform bweyafuna ensimbi zaayo, yasalawo kuzikozesa kuzimba kitebe, yo National Resistance Movement yasalawo kuzikozesa kwenyweza ng’esimba mirandira gya kibiina okwetoloola Ggwanga lyonna.”

Entambuza y’emirimu mu Kibuga Arua ejjudde emivuyo – Minisita Akello

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kulondoola emirimu mu offiisi ya Pulezidenti Akello Beatrice Akori awuniikiridde olw’emivuyo egiri mu ntambuza y’emirimu mu kibuga kya Arua okukakkana nga asazizzaamu okulondoola emirimu egikolebwa mu bitundu ebirala nga agamba tayinza kuva Arua nga tamaze kugigogola. Minisita alombozze byazudde mu baddukanya ekibuga Arua nga agamba boolesezza obwa nnantagambwako obutalabwangako, nga muno […]