Omumyuuka wa Sipiika alambudde olutindo lwa Katongo

Twagala Kanatta gwemwawamba – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “KANATTA MUHAMMAD ALIWA? Ekiro mumatumbi budde g’olwa 23 December 2020, abampembe abaali babagalidde emigemera wala, bamenya nebayingira enyumba ya Kanatta Muhammad nebamuwamba! Okuva olwo, ab’engaanda n’emikwano tebaddamu ku muwuliza. Kanatta yali mukulembeze mu National Unity Platform NUP mu kitundu kya Mukono North. Uganda Police Force e Mbalala post […]

Bobi Wine akiriziddwa okuddamu okuyingira Bungereza

Omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; “Njagala okwebaza Bannamateeka baffe mu UK olwomulimu ogwamaanyi gwebakoze nga tebakoowa wamu n’abantu baffe aba NUP/People Power Diaspora abakoze obutakoowa nga basitula amaloboozi gaabwe nga bekalakaasa mu mirembe. Ensonga enkulu ebadde nti tekibadde kyabwenkanya okukiriza Gen. Museveni amanyiddwa ensi yonna nti nnakyemalira okuyingira UK […]

ISO ne CID mwebale kukola mulimu

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Abagambibwa okutta Senior state attorney Joan Kagezi kyaddaaki bakwatiddwa. Bano kuliko; Kibuuka John, Masajjage John, Kissekka Dan ne Nasur Abdalla. Bano baali batambulira ku piki piki 2. Njozayoza ISO ne CID olw’omulimu omulungi gwebakoze. Bagenda kutwalibwa mu Kkooti.”

Basatu bavunaaniddwa ogwokutta Joan Kagezi

Abawaabi ba Gavumenti beyiye mu Kkooti y’Omulamuzi ow’e Nakawa etwaliddwa abagambibwa okutta Senior State Attorney Joan Kagezi okusomerwa emisango okuli ogwobutemu wamu n’obutujju. Bano tebakiriziddwa kwewozaako kuba ekkooti gyebatwaliddwa terina buyinza kuwulira musango bwegutyo.

Zaake atwaliddwa mu Kakiiko akakwasisa empisa aka Palamenti

Akakiiko ka Palamenti aka Parliament Rules, Discipline, and Privileges Committee katandise okuwulira okwemulugunya okwateekebwayo ku Mubaka Munnakibiina kya National Unity Platform MP Zaake Francis Butebi. Zaake awerekeddwako Munnamateeka we Erias Lukwago.

Omugga Kafu gubooze

Omugga Kafu gubooze negwanjaala ku kyalo Karongo, Kikonda Parish, Kiromta 19.8 okuva mu Kibuga Hoima nga kino kisanyalazza ebyentambula ku luguudo oluva e Hoima okudda e Kampala ngoyise e Kiboga.

Kitalo! Darius Mugoya afudde

Kitalo! Omumyuuka w’omukulembeze w’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Darius Mugoya afudde enkya yaleero. Ono afiiridde mu Ddwaliro e Mengo.

Museveni FDC akyagikozesa nnyo – Hon. Ssemujju

Omubaka wa Munisipaali y’e Kira, Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda avuddeyo nategeeza nti ebibiina by’obufuzi mu Uganda tebisobola kubaako kyebikola era nti bijja kusigala ku kimu kyakukozesebwa kulwanirira ddembe lya buntu okutuusa nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akkirizza nti omuntu omulala yenna asobola okwesimbawo n’awangula oba n’awangulwa ate awanguddwa nawaayo obuyinza mu mirembe. Ono agamba nti […]

Omukulu w’essomero anagaana omuyizi okutuula ebigezo wakuvunaanibwa – UNEB

Ekitongole ky’ebigezo mu Ggwanga ki Uganda National Examinations Board-UNEB kivuddeyo nekirabula abakulira amasomero ne bannanyini masomero abalina enteekateeka okulemesa abayizi okutuula ebigezo byaabwe eby’akamalirizo olw’okuba tebanamalayo bisaale bya ssomero nti kaakubajjutuka. Bino byogeddwa omukungu w’ekitongole kino, Rose Nabukenya bw’abadde ayogerako eri Bannamawulire ku Media Center mu Kampala.