NRM ewaddeyo obukadde 30 mu kuteekateeka embaga ya Kyabazinga
Ekibiina ki National Resistance Movement – NRM kiwaddeyo ensimbi obukadde 30 ziyambeko mu kuteekateeka embaga ya Kyabazinga William Wilberforce Gabula Nadiope nga agattibwa ne Inebantu Jovia Mutesi ku Lutikko e Bugembe. Ssaabawandiisi wa NRM, Richard Todwong yakulembeddemu abakungu okuva mu NRM okutwala ensimbi zino eri Katuukiro wa Busoga Dr.Joseph Muvawala n’olukiiko olutegeka omukolo guno.
Emirambo gyabalambuzi abattibwa mu Queen Elizabeth giweereddwa ab’enganda – Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti emibiri gy’abalambuzi okwali Munnansi wa Bungereza David Jim Barlow ne Munnansi wa South Africa Emmaretia Celia abattibwa abagambibwa okuba aba ADF mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park byebiweereddwa abakungu mu kunoonyereza okubitwala okwaboobwe. Enanga agumizza abalambuzi nti tebasaanye kutya kubanga eby’okwerinda kati binywevu […]
NUP erina beyasuubiza ssente bagambe nti bawambibwa nebatabasasula – UHRC
Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC kavuddeyo nekavumirira ekikolwa ky’akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba eky’okuddira ebifaananyi n’obutambi bw’abantu abagambibwa okubuzibwawo abebyokwerinda nabuteeka ku mikutu gye emigatta bantu nga kwatadde nebaayita ab’enganda z’abantu abo baalaga nga babanja abantu baabwe nebagamba nti buno bulimba bwennyini […]
Baguyita muyaga kati baguwulira – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Bwetwali tutandika People Power, Gavumenti yatuyita ekibinja ky’abayaaye abali ku muyaga ogujja okuyita. Olwaleero nga wakayita emyaka 2 n’ekitundu gyokka oluvannyuma lwakalulu akaalimu obubbi mu 2021, tutongozza ekitebe kyaffe ekyokulwanirira obwetwaze era amaka ga NUP ne People Power Movement amaggya. Ekitebe kino kijjukizo kyabanaffe […]
Pulezidenti Museveni ayingidde mu nsonga z’abalaalo
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nasisinkanye Abakulembeze mu ttundutundu ly’e Acholi mu Disitulikiti y’e Amuru netukubaganya ebirowoozo ku nsonga ya Balaalo. Oluvannyuma lwokuwuliriza ensonga ezaleeteddwa, nawabudde bwenti; Ku kyokwonoona ebirime – Nalagidde omuduumizi wa Divizoni ya UPDF, RPC ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zamambuka okulaba nti omuntu yenna alina ente nga teziri mu lukomera mu bitundu […]
Ssimbwa ye mumyuuka w’omutendesi wa Uganda Cranes omuggya
Omutendesi wa Uganda Cranes omuggya Put Paul Joseph alonze Sam Ssimbwa ngomumyuuka we. Ekitongole ekitwala omupiira ogwebigere mu Ggwanga ekya FUFA kikiriziganyizza naye era Ssimbwa atandikiddewo emirimu gye. Abanamuyambako abalala bakulangirirwa oluvannyuma.
Abawagizi ba NUP bajaganyizza oluvannyuma lwabebyokwerinda okwamuka ekitebe kyabwe
Abawagizi ba National Unity Platform balabiddwako nga bajaganya oluvannyuma lwabebyokwerinda okwamuka ekitebe kyabwe ekiggya ekisangibwa ku Kavule Makerere. Omukolo gwokuggulawo ekitebe gwakutandika ssaawa ttaano.
Bobi Wine, Besigye ne Lukwago mu luseregende nga boolekera Kavule
Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, eyaliko Pulezidenti wa Forum for Democratic Change – FDC, Rtd. Col. Dr Kizza Besigye, akola nga Pulezidenti wa FDC ow’ekiwayi ky’e Katonga Erias Lukwago mu luseregende lwa motoka nga boolekera ekitebe kya NUP ekiggya e Makerere Kavule okwetaba ku mukolo gwokukiggulawo.
Bannabyabufuzi ab’enjawulo betabye mu kuggulawo ekitebe kya NUP
Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, eyaliko Pulezidenti wa Forum for Democratic Change Rtd Col. Dr. Kizza Besigye n’abakulembeze abalala nga batuuka e Makerere Kavule, mu Kawempe Division ku mukolo gwokuggulawo ekitebe ekiggya ekya NUP.