Abagambibwa okutta Eng. Bbosa bakomezeddwawo mu Kkooti

Naluwenda DPP amuggyeeko emisango

Naluwenda Milly ngono muwandiisi mu Kkooti ya Kisekwa eyali yakwatibwa ngomu ku bantu abaali mu lukwe lwokutta Egn. Bbosa Kakeedo Luggya agiddwako emisango. State Attorney Lillian Omara yaleese ebbaluwa eyateereddwako DPP omukono nga 23/10/2024. Abalala 5 basimdikiddwa mu Kkooti Enkulu okutandika okuwerennemba nomusango gwobutemu. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe

Mugende ekiteeso mukikubeko akalulu – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Among ngayita mu Rule 101 eya Rules of Procedure alagidde bakube akalulu ku alipoota ya Akakiiko aka National Coffee Bill oluvannyuma lw’Ababaka abawerako okuvaayo okuwakanya ekisaliddwawo. Bya David Turyatemba #ffemmwemmweffe

Mukwenda omuggya n’abamyuuka be batuuziddwa

Mukwenda Deo Kagimu n’Abamyuka be, batuuziddwa mu butongole mu bifo byabwe. Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, kulwa Katikkiro yaakoze omukolo ogw’okubatuuza nga ayambibwako Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru Oweek. Joseph Kawuki. #ffemmwemmweffe

Omuwendo gwabafudde omuliro gwe Kigoogwa baweze 15 – Poliisi

Omwogezi wa Uganda Police Force Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti omuwendo gwabo abafudde oluvannyuma lwa loole yamafuta eyagudde okubwatuka omuliro negwokya abantu kati bwegulinnye nga kati baweze 15. The death toll in the Bombo road in Kigogwa-trading centre along Kampala-Bombo road in Kasangati, Wakiso district fuel tanker explosion incident has risen to 15. Abantu 24 […]

Ekyokukiriza emisango tekibasonyiyisa mugende mwebakeyo emyezi 3 – Brig. Gen. Robert Freeman Mugabe

Bannakibiina kya National Unity Platform 16 abavaayo nebakkiriza emisango gyokulya mu Nsi yaabwe olukwe mu Kkooti y’amaggye e Makindye okuli; Olivia Lutaaya, Kakooza Muhydin, Rashid Ssegujja, David Mafabi, Robert Christopher Rugumayo, Abdul Matovu, Mesearch Kiwanuka, Simon Kijjambu, Ibeahim Wandera, Stanely Lwanga, Steven Masaakaru, Ronald Kijjambu, Asubat Nagwere, Matovu Sharif ne Swaibu Katabi boozezza ku munye […]

Stanbic etonodde amalwaliro e Nakaseke ebikozesebwa mu bujanjabi

Bannabulemeezi balabuddwa okukomya okumala gagulaagula ddagala buli webasanze ate nebabasaba okugendanga mu malwaliro ga Gavumenti bakeberebwe olwo balyoke bafune eddagala ettuufu erisobola okukola ku bulwadde obubeera buzuuliddwa. Okulabula kuno kukoleddwa Minisita wa Kampala omubeezi Kabuye Kyofatogabye bwabadde akwasa abakulira Eddwaliro lya Butalangu Health Centre III ne Wakyato Health Centre III nga gano gasangibwa mu Disitulikiti […]

Poliisi ekutte abagambibwa okutta Maneja w’essundiro ly’amafuta e Bweyogerere

Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakutte abantu 6 okuli nagambibwa okuluka olukwe lwokutta Aggie eyali Maneja w’essundiro ly’amafuta e Bweyogerere. Onyango ategeezezza nga abasirikale baayo okuva mu Crime Intelligence wamu nebambega bwebakutte Edward Kaweesa nga kigambibwa nti ono yeyali emabega w’ettemu lino era nga bamukubye essasi mu kugulu bweyabadde […]

Omuyizi asoma obusawo akwatiddwa ngabba ettooke

Jeremiah Mukyemu nga Intern Doctor e Mulago era nga akola ne ku Total Care medical Clinic e Namugongo yakwatiddwa abatuuze mu Nsawo Zone ngabba enkota y’ettooke. Ono yatwaliddwa ku Namugongo Anglican Police Post naggulwako omusango gw’obubbi. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe

Gavumenti eyongere okusomesa abantu ku bulabe ku bubenje bw’emotoka z’amafuta – Joel Ssenyonyi

Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti LOP Joel Ssenyonyi asaasidde nnyo abafamire ezafiiriddwako abantu abafiiridde mu muliro ogwakutte loole yamafuta eyagudde e Kigoogwa. Ssenyonyi asabye Palamenti okufuba okulaba nti Gavumenti eyongera okusomesa abantu bamanye obulabe obuli mu motoka nga zino nga zigudde era wano wasabidde ne Gavumenti okuyamba ku famire ezo ezafiiriddwa abantu baazo mu […]