Ssente zezatulemesa okuzimba ekizimbe ekiri mu ppulaani – SG Rubongoya
Ssaabawandiisi wa National Unity Platform – NUP, David Lewis Rubongoya ayanukudde ababadde batandise okwogerera NUP ebisongovu nti yasuubiza ekizimbe bwaguuga kyokka nezimba akazimbe akatono okukamala. Ono agambye nti tebaasobodde kuzimba Kitebe kinene nga kyebaalowooza olw’ebbula ly’ensimbi. Okusinziira ku Rubongoya, abakugu baabategeeza nti ekizimbe kyebaali baagala kimalawo obuwumbi bwa ssente obusukka mu buna ate nga tebazirina. […]
Bemugamba abawambibwa baddukira bweru wa Ggwanga – Faruk Kirunda
Amyuuka Munnamawulire wa Pulezidenti, Kirunda Faruk yavuddeyo nategeeza nti ye takkikiriza nti abantu aboogerwako aba National Unity Platform nti baabuzibwawo Gavument. Kirunda agamba abantu abamu be balumiriza nti baabuzibwawo badduka mu Ggwanga nebagenda baasaba obubuddamu nebagenda mu Mawanga nga Canada, America, Bungereza ne Butuluuki nga n’abakulu ku ludda oluvuganya kino bakimanyi bulungi naye tebaagala kukyogerako […]
Kyonna kyekiri kijja kuggwa – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo neyewuunya abebyokwerinda okutegeeza nti tebalina basirikale bamala kubawa bukuumi ku mukolo gwabwe ogwokuggulawo ekitebe so nga baafunye abo bebayiwawo okulemesa omukolo gwabwe wadde nga babadde tebabasabye. Ono agambye nti babategeezezza nti Pulezideti Yoweri Kaguta Museveni yabadde wakubeera mu Kawempe ku lunaku lwe lumu. […]
NRM ewulira nsaalwa – Babaka ba NUP
Ababaka ba Palamenti abali ku ludda oluvuganya Gavumenti nga boogera ku ky’abebyokwerinda okulemesa omukolo gwabwe ogwokuggulawo ekitebe ky’ekibiina kya National Unity Platform e Makerere – Kavule olwaleero. Bano bagamba nti nsaalwa ya Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM emaze kumpi emyaka 40 mu buyinza naye nga tezimbanga kitebe kya kibiina.
Buganda ewaddeyo obukadde obusoba mu 100 eri abateesiteesi b’embaga ya Kyabazinga
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Tukyazizza Katuukiro wa Busoga n’abakulembeze b’Obwakyabazinga abalala mu kaweefube gwe baliko okutegeka embaga ya Kyabazinga. Twasanyuka nnyo nga tufunye amawulire ga Kyabazinga okufuna Inebantu kubanga obufumbo kikulu nnyo era bunyweza Obuwangwa, era okujja kwa Inebantu kujja kuyambako Kyabazinga okwanguyirwa emirimu gy’okulamula Busoga. Ng’Obwakabaka, twagaliza Kyabazinga omukolo omulungi era enteekateeka tugiwagidde n’obukadde […]
LOP atandise okugenda mu bitundu gyebawamba abantu be
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba atandise okutalaaga ebitundu ebyenjawulo okusisinkana Ab’enganda z’abawagizi baabwe ababuzibwawo. “YUDA SSEMPIJJA ALIWA? Ssempijja yawambibwa nga 19 December 2020 okuva e Kabembe mu Gombolola ye Kyampisi, District ye Mukono mu Kyaggwe. Yawambibwa n’abantu abalala 5 oluvanyuma abayimbulwa kyokka yye nabuli kati talabikanga.”
FUFA eyanjudde omutendesi wa Uganda Cranes omuggya
Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes Paul Joseph Put ayanjuddwa olunaku olwaleero ku kitebe ky’ekibiina ekitwala omupiira mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) ku FUFA House. Ono ayaniriziddwa avunaanyizibwa ku by’amawulire mu FUFA Ahmed Hussein.
Ekitebe tujja ku kiggulawo enkya – Bobi Wine
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ategeezezza nti okuggulawo ekitebe ky’ekibiina ki NUP e Makerere – Kavule okubadde kutegekeddwa olwaleero kwongezeddwayo okutuuka olunaku olw’enkya ku ssaawa 5 ezookumakya. Kino kiddiridde ab’ebyokwerinda okusalako ekitebe kino amakya galeero nga tebakkiriza muntu yenna wadde okukisemberera.
Ekifaananyi kya Ssenteza kisiigiddwa ku kitebe kya NUP ekipya
Ekifaananyi kya Frank Ssenteza, omu ku bakuumi ba Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine eyattibwa mu kalulu ka 2021 kisiigiddwa ku bisenge ebiri mu Kitebe ky’ekibiina kino ekiggya ku Makerere – Kavule mu Kawempe. Ssenteza yafa nga 27 December, 2020 oluvannyuma lwebigambibwa nti yatomerwa emotoka y’amaggye nnamba H4DF […]