IGG yabulwa obujulizi obuluma abagambibwa okutta Abiriga
Ababaka abatuuka ku kakiiko ka Palamenti akalondoola eddembe ly’obuntu kategeezezza Palamenti nga DPP bweyakiriza nti yalemererwa okuvunaana abaali bagambibwa okutta Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Hon Ibrahim Abiriga kuba tewaaliwo bujulizi butegeerekeka bwazuulibwa mu kunoonyereza obwali busobola okuluma bano.
Poliisi egobye musajja waayo lwakusobya ku mukazi
Akulira CID ku Namusita Police Post mu Disitulikiti y’e Buyende, D/IP Godfrey Balikoowa agobeddwa mu Uganda Police Force ku bigambibwa nti yekakatika ku mukyala ow’emyaka 30 eyali agenze okuggula ku mwami we omusango gwobutabanguko mu maka. Kigambibwa nti abasirikale 3 bagenda awaka okukwata bbaawe wabula nebatamusangayo, bwatyo omukyala ono yategeeza nga bwatasobola kuddayo waka ng’omusajja […]
Poliisi erwanaganye n’abantu e Kasangati
Abasirikale ba Uganda Police Force n’eggye lya UPDF olunaku olwaleero basanze akaseera akazibu okulemesa abantu okunyaga ssooda okuva ku motoka ya Riham eggudde e Kasangati olwaleero ku makya. Ababaddewo bagamba nti omuntu omu afiiridde mu kabenje kano wabula nga tanategeerekeka.
Bobi Wine asisinkanye Katuukiro wa Busoga
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine asisinkanye Katuukiro wa Busoga Joseph Muvawala namukwasa ettu ly’ensimbi NUP lyewaddeyo likozesebwe mu nteekateeka y’embaga ya Kyabazinga William Wilberforce Gabula Nadiope IV egenda okubaayo mu mwezi gwa Novemberer nga 18. Ono awerekeddwako abakungu ba NUP abava mu Busoga era asinzidde mu nsisinkano […]
Ssaabaminisita Nabbanja amalirizza okulambula kwe
Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister amalirizza okulambula kwabaddeko okw’ennaku essatu kwabaddeko mu bitundu bya Greater Masaka n’ekigendererwa eky’okusitula embeera z’abantu b’omu kitundu kino. Ono asuubizza okutumbula eby’obulamu n’okubakolera amakubo abantu basobole okutambuza obulungi ebyamaguzi byaabwe.
Uganda eri mu nteeseganya ne World Bank – Minisita Musasizi
Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by’enfuna Henry Musasizi, avuddeyo nategeeza nga Gavumenti bweri mu nteeseganya ne Bbanka y’Ensi yonna ku kuyimiriza okuwa Uganda obuyambi olw’etteeka ly’ebisiyaga. Ono agumizza Bannayuganda nti tebasaanye kweralikirira kuba enteeseganya zakuvaamu ebibala.
Abayizi abafudde olwomuliro ogwakutte ekisulo baweze 7
Omuwendo gw’abayizi abafudde oluvannyuma lw’o.muliro okukwata ekisulo ky’abayizi abalenzi eky’essomero lya Kasana Junior School gulinnye okutuuka ku bayizi 7. Kino kiddiridde abayizi 5 okuli; Arnold Tumwesigye, Muganga Martin, Hillary Walugembe, Jordan Ssendagire ne Austine Kisomosi okufiira mu Ddwaliro lya Gavumenti erye Kiruddu gyebaatwaliddwa okufuna obujjanjabi obusingako nga bagiddwa mu Ddwaliro lya Masaka Regional Referral Hospital.
IGG talina kunnyonyola Bannayuganda ku kyaba asazzeewo – Deputy IGG
Omumyuuka wa IGG Patricia Ochan bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ayanukudde Ssentebe wa COSASE Joel Ssenyonyi namutegeeza nti okusinziira ku tteeka lya Inspectorate of Government Act, IGG tewali werimwetaagisizza kunnyonyola Bannayuganda lwaki aba asazeewo okuggya emisango ku muntu omu. Ochan era awolerezza ekya IGG okuggya emisango ku Ebiru nategeeza nti COSASE yawaayo ebyo byokka ebyali mu […]
Ssenyonyi yewuunyizza IGG okuggya emisango ku Ebiru
Ssentebe w’Akakiiko ka Palamenti aka COSASE Joel Ssenyonyi, avuddeyo nategeeza nti yewuunyizza nnyo era kyamukubye wala okuwulira nti IGG yaggye emisango gyobukenuzi n’okulya enguzi ku eyali ED wa Uganda National Bureau of Standards – UNBS David Ebiru wadde nga yawa Gavumenti obujulizi obumala okumuluma ku misango gino omwali n’obwo ye yennyini okweyogerera nti yawaayo obukadde […]