Ab’e Katonga mulekerawo okukozesa obubonero bwa FDC – Amuriat

Abayizi ba Kasana Junior baleeteddwa e Kiruddu

Abayizi b’essomero lya Kasana Junior School mu Kibuga Masaka eryakutte omuliro mu kiro ekikeesezza olwaleero ku ssaawa kumi ezookumakya baleeteddwa mu Ddwaliro lya Kiruddu National Referral Hospital, Kampala nga bagiddwa mu Ddwaliro lya Masaka Regional Referral Hospital.

Pulezidenti wa DRC ategeezezza nga bwagenda okuzimba ekikomera ku nsalo ya DRC ne Rwanda

Pulezidenti wa Democratic Republic of the Congo, Felix Tshisekedi alangiridde nti agenda kuzimba ekikomera ku nsalo yaabwe ne Rwanda amawanga gano geyawule bulungi okusobola okutaasa abantu be ku bayeekera ba M23. Ono agamba ekimuwalirizza okusalawo bwatyo kwekuba nti Rwanda evujjirira abayeekera ba M23 n’ekigendererwa eky’okutabangula DR Congo n’okugibba wabula bino Rwanda ebyegaana. Tshisekedi agamba abasinga […]

UHRC etuulidde okwemulugunya kwaffe ku kutyoboola eddembe lyobuntu

Pulezidenti wa Forum for Democratic Change ow’ekiwayi ky’e Katonga Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti bakoze kyonna ekisoboka okulwanirira eddembe ly’obuntu wabula ngebitongole nga Uganda Human Rights Commission – UHRC bituulidde amaanyi gaabwe.

Minisita avunaanyizibwa ku byobuwangwa atandise okulambula ebifo eby’ennono

Minisita w’Obwakabaka bwa Buganda avunaanyizibwa ku by’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, n’Ebyokwerinda Dr.Anthony Wamala atandise kaweefube w’okulambula ebifo by’ennono. Ono asookedde Masanafu mu Masiro ga Ssekabaka Kiweewa. Owek. Wamala awerekeddwako Ssaabalangira Godfrey Musanje ne Katikkiro w’Amasiro g’e Kasubi David Nkalubo.

Kitalo! Abayizi 2 bafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo ky’essomero e Masaka

Ab’obuyinza bakakasizza nti abayizi okuli; Malik Katende ne Aloysius Katende bebafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo ky’abalenzi eky’essomero lya Kasana Junior School mu Kibuga Masaka mu kiro ekikeesezza olweero ku ssaawa nga kumi ezookumakya ogulese metulooni n’abayizi 11 nga bataawa. Amyuka omuduumizi wa Uganda Police Force mu bitundu by’e Masaka, Jamada Wandera ategeezezza nti omuliro guno […]

Abaasomerako ku ssomero lya Kisubi Girls balidduukiridde

Abaasomerako ku ssomero lya Kisubi Girls Primary School eryakwata omuliro gyebuvuddeko batandise okudduukirira essomero lino okusobola okuzzaawo ebyayonoonebwa n’ebizimbe ebyakwata omuliro. Bano nga bakulembeddwamu Gorret Lumala Nassejje badduukiridde essomero lino n’obusawo bwa sseminti 100 ssaako ebintu ebirala ebikozesebwa abayizi ab’ekisulo ku ssomero lino.

Abasoga muve ku kulima ebikajjo byokka – Kkamisona Damuzungu

Kkamisona mu Minisitule y’Ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi Peter Damuzungu asabye abalimi mu bitundu bye Busoga okukyuusa endowooza bave mu kulima ebikajjo byokka wabula benyigire ne mu kulima ebintu ebirala eby’enjawulo basobole okweggya mu bwavu obubasibyeko akanyaaga. Damuzungu okwogera bino abadde mu musomo ogw’okubangula abakyala abalimi abavudde mu Disitulikiti ez’enjawulo ezikola Busoga oguyindidde mu kibuga kye Jinja.

Abaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte essomero lya Kasana Junior e Masaka

Kigambibwa nti abaana 2 bandiba nga bafiiridde mu nnabbambula w’omuliro akutte ekisulo ky’abalenzi ku ssomero lya Kasana Junior School mu Kibuga Masaka mu kiro ekikeesezza olwaleero. Abayizi 12 bbo babuseewo nebisago ebyamaanyi.

Alien Skin bamutwala mu Kkooti lwakugaana kuyimba e Mbarara – Balaam

#WOLOKOSO Balaam Barugahara Ateenyi avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nategeeza nga nnanyini kifo kya Deluxe Grill and Lounge e Mbarara bwalina enteekateeka ezitwala omuyimbi Alien skin ug mu mbuga zamateeka gabalamule oluvannyuma lwa Alien Skin okumenya endagaano yokuyimba mu kifo kino nga 28-October. Kigambibwa nti bano baagala Alien Skin aliwe obukadde 25 mu naku […]