Ab’e Ssembabule Ssaabaminisita abasuubizza bayimbi mu kifo kyeddagala mu malwaliro – LOP Mpuuga

North Korea egaddewo ekitebe kyaayo mu Uganda

Eggwanga lya North Korea nalyo ligaddewo ekitebe kyalyo mu Uganda nga wakayita wiiki emu yokka nga ne Ggwana lya Norway ligaddewo. Amawulire g’okuggalawo ekitebe kya Korea gategezeddwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu nsisinkano gyeyabaddemu n’omubaka wa North Korea mu Uganda H.E Jong Tong Hak eyamukyaliddeko mu State House Entebe.

Sinze alabikira mu katambi – Ssaabaminisita Nabbanja

Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister avuddeyo nasambajja ebiyitingana ku mutimbagano nti ye mukyala alabikira mu katambi ng’azina amazina amayitirivu oluvannyuma naagwa eri nayawula. Okusinziira ku bubaka bwatadde ku kibanja kye ekya X yewuunyizza abantu okuba nga tebasobola na kumwawula kubalala. Ono agamba nti siyaali mu katambi kano. Ono agamba nti obukyaayi, enge n’ettimu lyandiviirako […]

Gavumenti etandise okuteeseganya ne Opposition – Sipiika Tayebwa

Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa avuddeyo nategeeza nti enteeseganya zitandise wakati w’oludda oluvuganya ne Gavumenti okukomya okwekalakaasa baddeyo mu Palamenti. Kinajjukirwa nti bano balayira obutadda mu Palamenti okutuusa ng’ensonga zaabwe ez’eddembe ly’obuntu zigonjoddwa wabula Tayebwa agamba nti Palamenti ebeera tejjudde nga bano tebaliimu.

Habib Buwembo aziddwayo ku alimanda

Omulamuzi ku Kkooti ya City Hall mu Kampala azizzaayo omuwagizi wa National Unity Platform, Buwembo HABIB ku alimanda okutuusa nga 9 omwezi oguggya lwanakomawo okusaba okweyimirirwa. Buwembo yakwatibwa omwezi oguwedde ku bigambibwa nti yayogera ku Sipiika wa Palamenti, Anitah Among ebigambo nti yabba amabaati agaali galina okuyamba abantu b’e Karamoja.

Minisita Kasaija jangu onyonyole ku bya Capital Chicken – Sipiika Tayebwa

Amyuuka Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa, alagidde Minisita w’Ebyensimbi Matia Kasaija alungamye Bannayuganda ku bafere ababba ssente zaabwe nga berimbika mu kukwatagana nabo mbu basigire wamu ensimbi basobole okugaggawala amangu. Tayebwa kino akyesigamizza ku Kampuni ya Capital Chicken eyakuliita ne ssente za Bannayuganda ezisukka mu buwumbi obubiri nagamba nti tebayinza kutuula butuuzi nga bino bigenda […]

Abazungu temujja kungigiriza kutegeka kalulu – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bano Abazungu bajja gyendi mbu bansomese engeri gyenina okutegekamu akalulu. Manyi engeri gyentegekamu akalulu, nze nina okubasomesa. Mwe mugenda mu maka g’omuntu nebatandika okumusomesa bwalina okutegeka ennyumba ye. Mbu eno entebe erina kubeera wano.”

Nsaasira abennyumba ya Baryomunsi – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Munnakibiina kya National Unity Platform, Mathias Mpuuga Nsamba eyakulemberamu eky’ababaka ku ludda oluvuganya okuziira entuula za Palamenti okutuusa nga Gavumenti evuddeyo nebalaga wa abantu baabwe abazze bawambibwa gyebali, olwaleero azzeemu n’alabikako mu Palamenti nakigumizza nti tebakyasobola kuddamu kutuula ne bawuliriza kintu kyonna nga tebamanyi mayitire g’abantu babwe 18 okuli […]

Omubaka Nyakato alumirizza aba Poliisi okunyiga amabeere

Omubaka Omukyala ow’e Kibuga Hoima Asinansi Nyakato ayozezza ku munye bwabadde annyonyola Palamenti engeri Abasirikale ba Uganda Police Force gyebamunyigamu amabeere bwebaali bakwata Ababaka abakyala ku Palamenti bwebaali bagezaako okutambula okwolekera Ministry y’Ensonga zomunda mu Ggwanga okulaga obutali bumativu bwabwe ku ngeri abebyokwerinda gyebakwatamu Ababaka ab’oludda Oluvuganya abaali bagenda okujaguza olunaku lw’abakyala mu Disitulikiti zaabwe.

Omuliro gusanyizaawo bya bukadde

Nabbambula w’omuliro atanaba kutegeerekeka kwavudde asaanyizaawo emmaali y’abasuubuzi eri mu bukadde n’obukadde ku Kaleerwe ku njegoyego z’ekibuga Kampala. Omuliro guno gutandise mu ttuntu lyaleero awo ng’enkuba egenda kutandika.