Ssaabaminisita Nabbanja atikiddwa ddiguli eyookubiri

Poliisi ezudde tuleela yamafuta eyabbibwa e Bukoyo

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti tuleela eyali etisse amafuta ekika kya Mercedes Benz, nga ya blue nnamba UAU 402E, eyabbibwa ku mudumu gw’emmundu abasajja 5 abaali babagalidde emigemerawala nga 21.10.2023, ku ssaawa 3 ez’ekiro ku kyalo Bukoyo ku luguudo lwa Iganga-Jinja bweyazuuliddwa ngesuuliddwa mu Kibuga Jinja n’amafuta gettaala geyali etisse […]

Minisita Katumba alagidde IGP okukwata abasirikale abateekebwa ku Katonga

Minisita avunaanyizibwa ku by’ebyentambula n’enguudo mu ggwanga, Gen Edward Katumba Wamala alagidde Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force IGP Martin Okoth Ochola okukwata Abasirikale bonna abateekebwa ku mulimu ogw’okukuuma olutindo lw’omugga Katonga okulutangira okuyitako emmotoka ennene nga agamba nti bano babadde baweebwa enguzi nebakkiriza emmotoka ezagaanibwa okuyitako. Abatuuze mu kitundu kino balumiriza nti abasirikale ba Poliisi […]

CMI, ISO ne Flying Squad bali ku muyiggo gwababbye gold

Ab’ebyokwerinda okuli aba CMI, ISO ne Flying Squad bali ku muyiggo gw’ababbi ababadde batambulira mu ‘Drone’ abagambibwa okuteega aba kampuni ya Bullion Refinery (U) Ltd esangibwa mu Arua nebabbako zzaabu abalirirwamu obuwumbi bubiri n’ekitundu. Kigambibwa nti ababbi bano basazeeko emmotoka kika kya Wish nnamba UBE 139G omwabadde zzaabu ono mu katawuni ke Nseke, ku kyalo […]

Bebawambira abantu bammwe muwabire aba Opposition ababakunga – Lilian Aber

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kitgum Hon. Lillian Aber Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM avuddeyo nategeeza nti aba kuba nga ye muzadde w’abantu ababuzibwawo, yanditutte ab’Oludda oluvuganya Gavumenti mu Kkooti. Ono agamba nti bano yandibatutte kuba bebakunga abantu baabwe okugenda gyebagamba nti gyebabakwatira.

Temubikirira bibi bikolebwa Gavumenti kuba mugiwagira – Hon. Katuntu

Omubaka akiikirira Bugweri County, Abdul Katuntu avuddeyo natabukira Ababaka ababikkirira ebikolobero ebikolebwa Gavumenti eri mu buyinza olw’okuba bagiwagira n’agamba nti bano tebalina njawulo na Pulezidenti Idi Amin abasinga gwebavumirira. Katuntu yewuunyizza omuntu okuvaayo n’awakana nti ekiwamba bantu tekiriiwo mu Ggwanga ng’ate waliwo abalumiriza nti w’ekiri n’abasaba bakomye okwekkiriranya wabula basonge ku bibi ebikolebwa Gavumenti yaabwe […]

Mu kifo kyokukolera abantu Nabbanja abatwalira bayimbi! – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nayambalira Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister nti bweyategedde nti atandise okulambula ebitundu ebyenjawulo okulaba emirimu gya Gavumenti bwegikolebwa nadduka za mbwa okwolekera Ssembabule okusisinkana Abakulembeze ba Disitulikiti nabategeeza nga bwabategekedde ekivvulu era nababuuza muyimbi ki gwebaagala abatwalire! ‘Omuyimbi gwemwagala gwendeeta.’ […]

Palamenti eragidde Munnamateeka asasule obuwumbi 39 obwamuweebwa

Palamenti eragidde Munnamateeka, Patrick Katabaazi Kiconco okusasula ensimbi obuwumbi 39 zeyafuna okuva mu National Agricultural Advisory Services (NAADS) ezaali ezokusasula abalimi b’amajaani mu buggwanjuba bwa Uganda. Ono aweereddwa ebbanga lya myezi 6 okusasula ssente zino oba okuvunaanibwa omusango gwokubulankanya ensimbi y’omuwi w’omusolo.

Poliisi ekutte abavubuka besanze besiyaga mu nkuba

Uganda Police Force ya Old Kampala ekutte abavubuka 2 okuli; Mugenyi Kuzaifah 23 ne Richard Kabale Imuran 23 abasangiddwa mu kikolwa ekyokwesiyaga mu Saloon ewa Bakuli enkuba bweyali ettonya.

Emirambo gy’abalambuzi abattibwa gikyakuumirwa mu Ggwanika e Mulago – Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti emirambo gy’abalambuzi abaafiira mu bulumbagannyi obugambibwa okukolebwa abayeekera ba ADF ssabbiiti ewedde n’ebookya n’emmotooka yabwe mwebaali batambulira gikyakuumibwa mu ggwanika ekkulu e Mulago nga bwebalindirira abasirikale abakola okunoonyereza ku misango okuva mu mawanga bano gyebasibuka. Enanga agamba nti amangu ddala nga alipoota eyaawamu ewedde okukolebwa […]