Aba URC basindikiddwa ku alimanda
Akakiiko akavunaanyizibwa ku kulwanyisa obuli bw’enguzi wamu n’obukenuzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force bitutte abakungu 2 aba Uganda Railways Corporation mu Kkooti. Bano kuliko; Kimera Tom- Senior Procurement Officer ne Maliza Mukembo Tibewolwa – Senior HR & Admin Officer ku musango gwokukozesa obubi offiisi zaabwe. […]
Balondemu asindikiddwa ku alimanda
Ettuntu lyaleero Akakiiko akavunaanyizibwa ku kulwanyisa obuli bw’Enguzi wamu n’obukenuzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force katutte Ssentebe w’Akakiiko k’etteka mu Kampala, David Balondemu mu Kkooti y’omulamuzi wa Kkooti ya KCCA ku misango gyokufuna ssente mu lukujjukujju okuva ku basigansimbi Bannansi ba Korea. Balondemu avunaanibwa okufuna […]
Emotoka zange zaseereera e Buhweju nezimalayo wiiki – Nabbanja
Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister yavuddeyo nategeeza Palamenti nti mu bbanga eritali ddene yawalirizibwa okukimibwa mu nnyonyi namukanga okuva mu Disitulikiti y’e Buhweju okudda e Kampala emotoka ye mwatambulira bweyaseerera mu makubo amabi mu DIsitulikiti eno oluvannyuma lwa namutikwa w’enkuba. Ono yategeezezza nti kyatwalira ttiimu ye wiiki nnamba okuggyayo emotoka ye gyeyali yakwamira.
Pulezidenti Museveni alagidde Kyemba aziikibwe mu bitiibwa
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nalagira nti eyaliko Minisita w’ebyobulamu mu Ggwanga Hon. Henry Kisaja Magumba Kyemba aziikibwe mu bitiibwa by’Eggwanga ebijjuvu. Bino byanjuddwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’obwa Pulezidenti Hon Milly Babirye Babalanda n’agamba nti enteekateeka zakwanjulwa gyebujjako.
Uganda Airlines etongozza olugendo lw’e Nigeria
Uganda Airlines olunaku olwaleero etongozza olubuuka lwayo okwolekera ekibuga Lagos, mu Nigeria. Uganda Airlines esuubirwa okugenda e Lagos emirundi 3 buli wiiki okusobola okuyunga Uganda ku mawanga g’obugwanjuba bwa Afirika. Uganda yakizudde nti ensi zino zetaaga ebibala wamu n’amakungula amalala okuva mu byobulimi.
Zaake alina ekizibu ku bwongo – Hon. Nantaba
Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kayunga, Ida Erios Nantaba avuddeyo nategeeza nti Omubaka wa Munisipaali y’e Mityana, MP Zaake Francis Butebi aliko ekikyamu ku mutwe era yetaaga kuyambibwa atereere. Ono agamba obuzibu Zaake bwalina buyinza okuba nga buva ku mirundi emingi gyazze akubibwa nga ali mu by’obufuzi oba nga enkuza ye y’embi. Nantaba agamba ono […]
Minisita alagidde ebyapa ebyakolebwa e Buikwe bisazibweemu
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba alagidde ebyapa ebyakolebwa ku ttaka e Buikwe bisazibwemu era nalagira n’ensalo ziggulwe. Minisita Nabakooba alagidde akakiiko k’ebyettak aka Disitulikiti y’e Buikwe okusazaamu ebyapa ebyaweebwa abantu 3 ku ttaka erisangibwa mu Kikondo Cell mu Njeru municipality. Abaweebwa ebyapa kuliko; Nicholas Byonanebye, Moses Buyondo, ne Irene Birah […]
Mpuuga wegendereze byoyogera – Gen. Muhoozi
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga, Ge. David Muhoozi atabukidde akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Mathias Mpuuga Nsamba n’amusaba aleete obukakafu obulaga nti Gavumenti egenderera kusiba Bayisiraamu n’agamba nti Mpuuga alina okwegendereza ng’ayogera ebigambo kubanga ebimu abyogera alina ebigendererwa bye. Bino abyogedde ayanukula ekiwandiiko Mathias Mpuuga ky’ayanjulidde Palamenti olwaleero ekikwata ku […]
Kasolo ne banne basingisiddwa omusango gw’obutemu
Kkooti Enkulu mu Kampala esingisizza Abantu 5 omusango gwobutemu obwakolebwa mu 2019. Bano basingisiddwa omusango gwokutta Maria Nagiriinya ne Ddereeva we Ronald Kitayimbwa. Bano 5 nga bakabinja ka B-13 ekyatigomya nga Abantu mu jam e Nateete. Bano kuliko; Kasolo Compriyam aka Arsenal, Lubega Johnson aka Manomano nabavuzi ba Booda booda Hassan Kisekka, Mpanga Sharif ne […]