Nakyobe atabukidde aba Poliisi y’e Kabalagala
Abakungu okuva mu Kampala Capital City Authority – KCCA ssaako n’Abakungu abalala okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga batabukidde abantu ab’enjawulo omubadde n’abakulira Uganda Police Force ye Kabalagala olw’obuccaafu mu bitundu byabwe obuviiriddeko n’okwonoona enguudo. Omuwandiisi w’olukiiko lwa Baminisita ate nga y’akulira Minisitule y’abakozi Rucy Nakyobe ayagadde n’okuggala Poliisi y’e Kabalagala olw’okusanga kazambi akulukuta nga agenda […]
Katuntu atabukidde Ababaka abalemesa Zaake okutwalibwa mu Kakiiko ke
Akulira akakiiko akakwasisa empisa n’amateeka mu Palamenti, Hon. Abdul Katuntu avuddeyo natabukira Babaka banne abawakanya eky’Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform MP Zaake Francis Butebi okutwalibwa mu kakiiko akakwasisa empisa ku nsonga z’okuvoola mubaka munne Juliet Ssuubi Kinyamatama. Abawakanya kino bagamba nti ensonga zaabano zaali bweru wa Palamenti nga tezisaanye kuyingizibwamu Palamenti nga waliwo ensonga […]
Ssentebe wa FDC akyaddeko e mbuga
Ssentebe w’ekibiina ki Forum for Democratic Change – FDC ow’ekiwayi ky’e Katonga Amb. Wasswa Biriggwa agenyiwaddeko ku mbuga enkulu ey’Obwakabaka e Bulange Mengo n’asisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga ne boogera ku nsonga ez’enjawulo.
State Prosecutor eyalya enguzi ya bukadde 6 alagiddwa kusasula engasi ya bukadde 7
Kkooti ewozesa abakenuzi n’abali benguzi olunaku olwaleero esingisizza Kigwana Simon, nga yaliko State Prosecutor mu Office of the Director of Public Prosecutions emisango 2 egyobuli bw’enguzi. Kigwana mu 2019 Akakiiko okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga akalwanyisa obuli bw’enguzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force ku bigambibwa […]
Ababaka ba NUP 5 bayimiriziddwa okukiika mu ntuula za Palamenti
Deputy Speaker, Thomas Tayebwa agobye Ababaka 5 ku ludda oluvuganya Gavumenti Bannakibiina kya National Unity Platform okumala enaku 3 nga tebakiika mu ntuula za Palamenti. Bano kuliko; Betty Nambooze (Mukono Municipality), Hon. Joyce Bagala Ntwatwa (Mityana DWR), Hon Nyeko Derrick (Makindye East), Kabuye Frank Kibirige (Kassanda South) ne MP Zaake Francis Butebi.
Sipiika akalambidde ku kyokuzannya akatambi aba NUP kebaleese
Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM akiikirira Payere County Isaac Otimgiw avuddeyo nasimbira ekkuuli ekyokuzannya akatambi akalaga abebyokwerinda nga batulugunya aba Opposition nga agamba nti bano basooke baleete obujulizi obwoleka nti ebyakwatibwa byaliwo nga tekanazanyibwa. Wabula omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa amuwakanyizza namutegeeza nti nga bwebakiriza ak’Omubaka Kinnyamatama nekazanyibwa, tekiba kyabwenkanya kugaana aka […]
Sipiika ayimirizza olutuula lwa Palamenti banoonye omukozi abuzeewo
Omumyuuka wa Sipiika, Thomas Tayebwa awaliriziddwa okuyimiriza olutuula lwa Palamenti okumala eddakiika 10 bamale okunoonya abakozi ba Palamenti abalina okuzannya akatambi akabaweereddwa akooleka engeri abebyokwerinda gyebatulugunyamu abawagizi ba National Unity Platform.
Ggwe bawadde akatambi akalaga Poliisi ngetulugunya aba NUP abuzeewo ku Palamenti
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza Palamenti nti omukunga wa Technical owa Palamenti gwebakwasizza akatambi akooleka engeri Uganda Police Force wamu nabebyokwerinda abalala gyebakwatamu abawagizi ba National Unity Platform nga yabadde alina okukazanyira Palamenti bwabuzeewo. Mpuuga agamba nti lino lyandiba ekkobaane okubalemesa okwoleka ebikolwa ebyekko.
Sipiika alabudde okukangavvula Ababaka abataataganya entuula za Palamenti
Omubaka wa Mityana Municipality Munnakibiina kya National Unity Platform MP Zaake Francis Butebi awaliriziddwa okutuula bwabadde agezaako okubaako kyayogera mu Palamenti, Ababaka abakyala bwabatandise okumungoola. Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa bano abalabudde obutaddamu kutaataganya ntuula za Palamenti nategeeza nti ku luno obutafaananako ne wiiki ewedde bweyayamiriza olutuula lwa Palamenti ku luno tekijja kubaawo okuleka okukangavvula […]