Okudda kwa Kyagulanyi kwalina makulu ki? – Gen. Muhoozi
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi, avuddeyo neyebuuza lwaki Omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bwaba nga teyalina kigendererwa ky’amaanyi yavaayo nalangirira nnyo okudda kwe mu Ggwanga era natuuka n’okukunga abantu so nga tewaali kyamaanyi mu lugendo lwe! Ono akakasizza Eggwanga nti Gavumenti yakugenda […]
Gavumenti yakuliwa obuwumbi 200 ku bya SGS
Deputy Attorney General, Jackson Kafuuzi avuddeyo nategeeza Palamenti nga Gavumenti bweyolekedde okusasula engasi ya buwumbi 200 eri Kkampuni ya Societe Generale De Surveillance – SGS eyali yaweebwa kkontulakita yokukebejja emotoka mu Ggwanga. Olukiiko lwa Baminisita mu mwezi ogwokusatu omwaka guno lwavaayo neluyisa ekiteeso kya Minisitule y’ebyentambula oba Uganda Police Force okukola omulimu guno. Naye lwaki […]
Ssegiriinya batabaganye ne Mufumbiro
Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Muhammad Ssegiriinya aka Mr Updates olunaku olwaleero batabaganye ne Alex Waiswa Mufumbiro. Ssegiriinya yeebazizza nnyo Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine wamu ne Ssaabawandiisi David Lewis Rubongoya olwokubataganya.
Poliisi yategulula bbomu 2 mu masinzizo e Kibibi wiiki ewedde – Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga akakasizza nti batandise omuyiggo gw’omusajja eyategerekeseeko erya Ssemwanga ng’ono agambibwa okugaba ebitereke mu kkanisa mu Disitulikiti y’e Butambala wabula ng’ebitereke bino byazuuliddwa nti byabadde bbomu. Enanga ategezeezza nti waliwo n’omuvubuka gwebakutte ku nsonga zino nga ono atemera mu gy’obukulu 21, era ayongeddeko nti basobodde okutegulula bbomu 2 ku […]
Minisita atabukidde bank ze Mubende ezisala ssente za PDM
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba; “Nga tukyalondoola ensimbi za ‘Parish Development Model funds’, Abantu b’e Mubende bantegeezezza nti bbanka mu Greater Mubende zibasasuza ssente nga bagenze okuggyayo ensimbi z’emyooga. Nsuubira nti ssente zino ezibatemwako teri ziri mu mateeka. Abantu balina okufuna ssente zaabwe zonna eziri ku mpapula. Kino ngenda kukirondoola […]
Katikkiro asisinkanye abavubuka ba Buganda mu mambuka
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nsisinkanye abavubuka ba Buganda abali mu matendekero ag’enjawulo mu bitundu by’e Acholi, Lango, Teso ne Bugishu leero ku Gulu University ne mbakubiriza okunywerera ku bwangwa bwabwe. Mbasabye bakolagane bulungi n’abantu be babeeramu, ate bayige olulimi. Mbasabye bakole ebyabatwala e Gulu naddala okusoma ebitabo bamaleko ate obuyigirize bubayambe okwongera okutegeera obuwangwa n’ennono […]
Zaake alina ekizibu ekimusumbuwa – RCC Hajji Kateregga
RCC wa Masaka City Hajji Ahmed Kateregga Musaazi; “Waliwo Omukyala ow’Oluganda lw’Omubaka MP Zaake Francis Butebi (National Unity Platform) gwesijja kwatuukiriza nga muwuliriza wa Gasimbagane eyantuukirira mu biseera nga alwanagana ne Uganda Police Force nagamba nti mwe mwogera ne Poliisi, mugigambe nti Zaake alina obuzibu obufaanana bwebuti …… tebwava ku kumukuba. Twalina Musa Body nga […]
Pulezidenti w’ekibiina ekitwala Baseball afukamiridde Minisita abagulire tiketi z’ennyonyi
Pulezidenti w’omuzannyo gwa baseball ne softball mu Uganda Felix Okuuye yawaliriziddwa okufukaamirira Omubeezi wa Minisita owebyenjigiriza avunaanyizibwa ku by’emizannyo Hon. Peter Ogwang ngamusaba okufunira ttiketi 2 ezennyonyi ziweebwe abazannyi okugenda okwetaba mu mpaka za baseball ez’Ensi yonna eziyindira e Japan. Ono agamba nti w’ekibiina kyatwala ekya Uganda Baseball and Softball Association kyakola dda ku bintu […]
Munnamateeka Rwakafuuzi yetaaga buyambi
Munnamateeka omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu Ladislaus Rwakafuzi yetaaga buyambi asobole okufuna obujjanjabi bweyetaaga okutaasa obulamu bwe. Rwakafuzi apooca n’obulumi obuva ku kusannyalala nga kati amaze emyaka egyiri eyo mu etaano ku ndiri era takyasobola kukola mulimu gwe nga Munnamateeka.