UNEB esabye abakulu b’amasomero obutagaana bayizi bebanja kukola bigezo

Kkooti etaddewo olwa 14 okuwulira okusaba kw’aba NUP

Kkooti y’Amagye etuula e Makindye ng’ekubirizibwa Ssentebe waayo Brig. Freeman Mugabe etadewo olwa nga 14 okuwulira okusaba kw’okweyimirirwa kwa bannakibiina ki National Unity Platform 32 abavunaanibwa emisango omuli okusangibwa n’ebiteeberezebwa okubeera ebintu by’Amagye n’ebirala. Olwaleero kkooti ewulirizza omusango guno era omujulizi omulala aleetedwa mu Kaguli n’awa obujulizi bwe.

Pulezidenti wa UPC awakanyizza ensala ya Kkooti

Pulezidenti w’ekibiina ki UPC, Jimmy Akena akubye ebituli mu nsala ya kkooti ensukkulumu eyasazaamu okulondebwa kwe ku kifo kino ng’egamba nti ono yalondebwa mu bukyamu. Akena ategeezezza nga bwakyali Pulezidenti wa UPC okutuuka 2025 ekibiina lwekiritegeka ttabamiruka okulonda abakulembeze abaggya. Ono akubirizza bannakibiina okubeera obumu okwettanira enteekateeka z’ekibiina.

Asembedde ne basitoola awali Kyagulanyi bamukubye mizibu e Mpigi

Wabaddewo akasattiro mu bitundu bye Mpigi mu kuziika Jjajja w’omu ku bakola ku by’okwerinda bya Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP, amanyiddwa nga Eddie Mutwe omusajja bwagezezaako okutuuka ewabadde watudde Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ng’akutte emmundu entono (basitoola) wabula abakola ku by’okwerinda bya Kyagulanyi bamuguddemu mangu nebamukwata oluvannyuma nebamukwasa Uganda Police Force.

COVID-19 bwaba waali akwata Pulezidenti yekka – Hon. Migadde

Omubaka Robert Migadde (Buvuma County) avuddeyo nateeka Ministry of Health- Uganda ku ninga eveeyo ennyonyole Bannayuganda oba nga obulwadde bwa COVID-19 kyafuuka kyabyabufuzi na Pulezidenti kuba abagenda okumusisinkana bokka bebakeberebwa. Ono agamba nti kati kyabuwaze okukeberwa ngogenda okusisinkana Pulezidenti nga kati kyafuuka kyabyabufuzi. Ono yebuuza oba nga COVID-19 aliwo akwata Pulezidenti yekka.

Ababaka b’e Kampala mutuwerekereko mu bantu bammwe – Kakiiko ka Palamenti

Ababaka abatuula ku Kakiiko ka Palamenti aka Physical Infrastructure Committee basabye Ababaka ba Palamenti abakiikirira amagombolola agakola Kampaal okubawerekerako nga balambula enguudo z’omu Kampala kuba ku mulundi ogwasembayo Bannakampala babulako katono okubakuba olw’ebinnya ebisusse mu nguudo. Bano bagamba nti kabula kata ne bbaasi ya Palamenti mwebaali batambulira bagikumeko omuliro.

Aba NUP 59 basimbiddwa mu Kkooti – Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti Bannakibiina kya National Unity Platform abakwatibwa 59 nga bagenda okwaniriza Pulezidenti w’Ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bwebasimbiddwa edda mu Kkooti nebavunaanibwa.

Ab’e Abim ne Nabilatuk bafunye ambulance 2 empya

Ekitebe kya Ireland mu Uganda kitonedde Disitulikiti y’e Abim ne Nabilatuk emotoka 2 empya agafemulago ziyambeko mu kutumbula eby’ebyobulamu mu bitundu by’e Karamoja.

Sipiika akakasizza Nsibambi ku bwa nampala bw’Ababaka ba FDC

Sipiika wa Palamenti Anita Among olunaku olwaleero akirizza okulondebwa kw’Omubaka Yusuf Nsibambi akiikirira Mawokota South nga Nampala w’Ababaka ba Forum for Democratic Change omuggya oluvannyuma lwokugobebwa kwa Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda akiikirira Kira Municipality ngono yagobwa Ssaabawandiisi w’ekibiina Nathan Nandala – Mafabi.

Nzize kugogola FDC mu Palamenti – Nsibambi

Nampala w’Ababaka ba Forum for Democratic Change Yusuf Nsibambi avuddeyo nategeeza nti okulondebwa ku kifo kino kwazze n’okusoomozebwa okwamaanyi okulabwako buli omu nti wabula mulimu ggwe okulaba nti atereeza embeera y’ekibiina basobole okuteesezza abantu ababalonda. Ono asuubizza okukolagana n’Ababaka bonna awatali kweyawulamu.