Sipiika alagidde Ssaabaminisita okuvaayo ku kyaba RDC okugaana emikolo gy’ababaka ba Opposition
Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa avuddeyo nasaba Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister okuvaayo mu bwangu n’ekiwandiiko ku byokuyimiriza emikolo egitegekebwa Ababaka nga kino kikolebwa ba RDC. Kino kidiridde enkwata etali yabuntu wamu n’okutulugunyizibwa kw’omubaka Omukyala Munnakibiina kya National Unity Platform–NUP owa Disitulikiti y’e Buvuma Hon. Susan Mugabi nga kino kyakolebwa abebyokwerinda bweyali […]
Minisita Oboth Oboth naye agenze ku kitebe kya CID
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byokwerinda n’abazirwanako Jacob Oboth Oboth naye atuuse ku kitebe kya Uganda Police Force ekya Criminal Investigations Directorate e Kibuli, mu Kampala okukola sitaatimenti endala ku bikwatagana n’amabaati agalina okubeera agabayinike e Karamoja agamuweebwa wabula nga yagazizzaayo nebagaana okugakwata olunaku lw’eggulo. Abasirikale ba Military abamukuuma bagaaniddwa Abasirikale ba Counter Terrorism okuyingira […]
Abawagizi ba Minisita Lugoloobi beyiye ku Kkooti e Kololo
Ab’oluganda, abemikwano wamu n’Abawagizi b’Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byokuteekerateekera Eggwanga Amos Lugoloobi bakedde kweyiwa ku Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo mu bungi nga balindirira omuntu waabwe okuleetebwa mu Kkooti okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa. Ono avunaanibwa omusango gwokwezza agamu ku mabaati agaali ag’abantu abayinike ab’e Karamoja nga gasangibwa yagaseresa ebiyumba by’ebisolo bye ku ffaamu […]
Abakuuma sitoowa za OPM bagaanye okukwata amabaati ga Minisita Nabakooba ne Hamson Obua
Abakuuma sitoowa ya Offiisi ya Ssaabaminisita esangibwa e Namanve bagaanye okukwata amabaati agaddiziddwayo abakiikiridde Nampala w’Ababaka ba Gavumenti Hamson Obua ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba nga entabwe eva ku bambega ba Uganda Police Force abalina okwekeneenya omutindo gwago wamu n’obungi obutabaawo ku sitoowa olwaleero. Bano bombi babadde bakomezzaawo buli […]
Minisita Oboth ekkanisa gyeyali awadde amabaati agigaggyeeko
Abakirizza ba St. Andrews e Kiyeyi mu Nabuyoga Town Council mu Disitulikiti y’e Tororo basobeddwa eka ne mu kibira oluvannyuma lw’omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byokwerinda Jacob Oboth Oboth okukima amabaati geyali abawadde okuva mu Offiisi ya Ssaabaminisita. Oboth ye Mubaka akiikirira West Budama Central yali yatona amabaati 137 bagaserese ennyumba y’omubuulizi wa St. Andrews […]
Minisita Nandutu asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e karamoja Hon. Agnes Nandutu asindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira okutuusa Kkooti Enkulu gyasindikiddwa okuwulira emisango gye bwenamuyita ku misango gyokukubeera n’ambaati agabulankanyizibwa negakyuusibwa gyegali galaga e Karachunas mu Karamoja Subregion. Nandutu Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Bududa yalondebwa okubeera Omubeezi wa Minisita mu June 2021 yayitibwa […]
Minisita Nandutu atuusiddwa ku Kkooti e Kololo
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agnes Nandutu aleeteddwa ku Kkooti evunaana abakenuzi n’abali b’enguzi enkya yaleero okusomerwa emisango egyamuguddwako egyekuusa ku mabaati g’e Karamoja. Wabula ono okwawukanako ku banne azze musanyufu era teyekwese Bannamawulire alabiddwako ngabawubira nako.
Amabaati Kasaija geyazizzaayo gabadde gabulako
Amabaati Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija geyazizzaayo ku sitoowa za Offiisi ya Ssaabaminisita e Namanve kigambibwa nti kwabadde kubulako 2. David Kayonga nga ono Senior Assistant Secretary for Finance and Administration mu offiisi ya Ssaabaminisita yateekebwa ku Sitoowa e Namanve okulondoola okulaba amabaati agakomezebwawo agamba nti Kasaija yakomezzaawo amabaati 298 mu kufo kya 300 wabula yasuubizza […]
NUP ekoze enongosereza mu Ssemateeka waayo
Ekibiina kya National Unity Platform – NUP kikoze enongosereza mu Ssemateeka waakyo okuteekawo ekkomo ku bisanja omuntu byalina okukomako ku kifo ky’Omubaka wa Palamenti wamu n’Abakulembeze abalala mu kibiina ku bisanja 2 eby’emyaka 5 buli kimu nga kitandika kisanja ekijja. Enongosereza eno yakukola ne ku Pulezidenti w’ekibiina, Secretary General n’abalala. Wabula kino tekikola ku muntu […]