Omubaka Akamba bazzeemu okumukwata nga yakayimbulwa Kkooti

Nazze kuteesa ku bintu byamakulu mu Ggwanga – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among olunaku olwaleero alemesezza Omubaka wa Lwemiyaga County Theodore Ssekikubo okuleeta ekiteeso ku buli bw’enguzi obwateekebwa ku mutimbagano mu mwoleso ogwakolebwa ku Social Media ogwatuumibwa #UgandaParliamentExhibition, nategeeza nti abadde ayagala kuwa Babaka budde bumala kukwata ku nsonga ezamakulu ennyo. Ono ategeezezza nti ekimukeeza okuva ewuwe okujja mu Palamenti kuba kukubaganya […]

NEMA ekutte emotoka zesanze zisomba omusenyu mu Lwera

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu Ggwanga ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda kiboye emotoka, loole wamu tulakita ezikozesebwa okusima n’okusomba omusenyu okuva mu nnyanja Nalubaale mu Lwera. Ebirombe byonna bigaddwa. Maj. Joshua Karamagi akulembeddemu ekikwekweto akakasizza nti ekikwekweto kino kigenda kukolebwa mu birombe byonna 4 ebisangibwamu Lwera.

Kitalo! Abantu 10 bafiiridde mu kabenje e Bugiri

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka M. Kananura avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo akabenje akagudde akawungeezi k’engulo nga baddemu emotoka 6 e Kibimba nga wakava ku lutindo lwa Iganga-Tororo mu Disitulikiti y’e Bugiri okukakkana ngabantu 10 bafiiriddewo mbulaga. Kigambibwa nti emotoka 10 zabadde zoolekera oludda lwerumu okuleka tuleela nnamba KAE254X/ZA 5971 ne KBJ155C/ZD2621, […]

Poliisi ekutte ddereeva wa bbaasi eyakwatiddwa ku katambi ngali ku ssimu

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka avuddeyo nategeeza nga bwebakutte ddereeva wa Bbaasi ya kkampuni ya Link nnamba UBG188P Andrew Jjemba 43 ono nga yakwatiddwa ku katambi mwalabikira ngakozesa essimu ye eno nga bwavuga ku luguudo lwa Kampala – Fortportal ono nga bamukwatidde Kyegegwa naggalirwa ku Poliisi ya olunaku lw’eggulo.

Gavumenti etongozza digital number plates

Gavumenti etongozza nnamba z’emmotaka eza “digital”. Mu zimu ku mmotoka ezisoose okussibwako ennamba zino, kuliko eza Uganda Police Force n’eza Woofiisi ya Pulezidenti. Kinajjukirwa nti enteekateeka y’ebidduka byonna okufuna nnamba zino empya ekomekkerezebwa mu gwokubiri omwaka ogujja ogwa 2024. Bino biabadde ku kitebe kya Minisitule evunaanyizibwa ku byentambula wamu ne nenguudo nga batandise na motoka […]

Alien Skin bamutwala mu Kkooti lwakugaana kuyimba e Mbarara – Balaam

#WOLOKOSO Balaam Barugahara Ateenyi avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nategeeza nga nnanyini kifo kya Deluxe Grill and Lounge e Mbarara bwalina enteekateeka ezitwala omuyimbi Alien skin ug mu mbuga zamateeka gabalamule oluvannyuma lwa Alien Skin okumenya endagaano yokuyimba mu kifo kino nga 28-October. Kigambibwa nti bano baagala Alien Skin aliwe obukadde 25 mu naku […]