Enyumba y’Engule eyolekedde Mombasa
Bannakoodikoodi nga banyumirwa obulamu mu kkuumiro ly’entugga lye bayita “Giraffe Centre” eriri mu kibuga Nairobi. Enkya ya leero boolekera Mombosa nga bagenda kutambulira mu “Standard Gauge Railway.”
Ennyumba y’Engule eri mu Ggwanga lya Kenya
Abakontanyi abatuuse ku mpaka ezakamalirizo okuli; Musisi Bbosa Nseregganyi (Ndiga), Nampyangule Kisirisaafumba (Lugave) ne Ssempijja Nyasio Njakabwasi (Nte) bali mu lugendo lwa Kkoodi Kkoodi mu Ggwanga lya Kenya. Balindirire e Lugogo nga 4-December-2022.
Omuwanguzi wa Neyimbira Byange 2022-23 akwasiddwa ekisawo kye ekya ssente
Pulezidenti w’ensi ya Neyimbira Byange 2022/23 H.E Nambajjwe Suzan aka Chocolate olunaku olwaleero akwasiddwa ekisawo kye ekyensimbi ng’omuwanguzi wa Neyimbira Byange. Nabalala abatuuka ku mpaka ezakamalirizo nabo baweereddwa amabaasa.