10 bakwatiddwa ku byokubba ettaka e Gomba

Ssaabasajja asaasidde nnyo Abakrito olwokufiirwa Paapa – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nkedde ku Ekelezia e Lubaga okutuusa obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II obw’okukubagiza Abakristo mu Uganda n’Ensi yonna olw’okufiirwa Paapa Francis. Paapa Francis ebbanga lyonna atuggyiddeyo amakulu agali mu kwagala muntu munno ne Katonda wo era tujja kumujjukira ebbanga lyonna.” #ffemmwemmweffe

Hajji Kamoga akwatiddwa kubyekuusa ku byapa 19

Omutunzi w’ettaka mu Kampala, Hajji Muhammad Kamoga akwatiddwa ku bigambibwa nti waliwo ebyapa 19 ebyabantu abenjawulo 19 era nga bamaze ebbanga nga bamuyigga. Hajji Kamoga okutandika okunoonyezebwa kyaddirira Bannannyini byapa bino okwekubira enduulu mu Kkooti naayitibwa okugendayo awe oludda lwe wabula natalabikako enfunda eziwera, Kkooti oluvannyuma yafulumya ekiwandiiko bakuntumye era nakwatibwa nasooka akuumirwa ku Uganda […]

Byampuna! Nambi eyanjozayoza okumuwangula ate yaddukidde mu Kkooti? – Nalukoola

Omubaka wa Kawempe North Mmunnakibiina kya National Unity Platform Elias Luyimbazi Nalukoola ataddeyo okwewozaako kwe mu butongole eri Kkooti oluvannyuma lwa Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Hajjat Faridah Nambi okuddukira mu Kkooti ngawakanya obuwanguzi bwa Nalukoola. Nambi ayagala Kkooti esazeemu obuwanguzi bwa Nalukoola gwagamba nti yenyigira mu kubba akalulu, okutiisatiisa abawagizi be n’ebirala. […]

Kivumbi sunsula buli kawukuumi ali mu kibiina – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nasaba Bannakibiina kya NUP okuvaayo besimbewo ku bifo ebyenjawulo mu Ggwanga okwetoloola Eggwanga lyonna. Bino Kyagulanyi abyogedde ayogerako eri Abakulembeze b’ekibiina wamu naabo abegwanyiza tiketi mu bifo ebyenjawulo mu Buganda nga bibadde ku kitebe kya NUP ku Kavule e Makerere. Kyagulanyi era asabye […]

FAO ewadde ab’e Karamoja tractor 55

Abalimi mu bitundu by’e Karamoja, bafunye akamwenyumwenyu oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’emmere n’obulimi ekya Food and Agriculture Organization (FA0) wamu ne Minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi okubawa okubawa Walking tractors 55, tuktuk 8 nga ziri wansi wa pulojekiti yaabwe eya Fsure, nga abalimi 12,000 bebagenda okuganyulwamu okuva mu Disitulikiti 6 okuli Moroto, Kaabong, Kotido, Karenga, Nakapiripit […]

Eyagezaako okudduka atuuke awali Pulezidenti atwaliddwa mu Kkooti

Yoram Baguma 28, nga mutuuze w’e Katabi mu Disitulikiti y’e Wakiso eyakuba abakuuma Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekimooni nagezaako okudduka amutuukeko nga 11 March bweyali mukunoonya akalulu mu Kawempe North ku kisaawe kyewa Mbogo yavunaaniddwa emisago 3 okuli; okujeemera ebiragiro ebiri mu mateeka, okusiikiriza okulumba Omukulembeze w’Eggwanga wamu n’okukuba abebeyokwerinda. Ono yalabikira mu katambi ngawenyuuka […]

Kyagulanyi ne Mpuuga basisinkanye mu e Lubaga

Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, n’Omubaka wa Nyendo Mukungwe, Mathias Mpuuga Nsamba batudde ku ntebe yeemu mu kusaba okwokwebaza e Lubaga okwamazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. #ffemmwemmweffe #kabakaat70 #KabakaMutebiAt70 #KabakaWange

SsaaSsaabasumba Ssemogerere yeyanzizza nnyo Beene olw’enteekateeka empitirivu z’ataddewo

Ssaabasumba Paul Ssemogerere yeyanzizza nnyo Beene olw’enteekateeka empitirivu z’ataddewo okukulaakulanya abantu be era agamba amazaalibwa ga Nnyinimu ga nkizo nnyo ddala. Ssaabasumba asiimye nnyo Beene olw’okugatta abantu bonna era agamba nti ddala Kabaka kisiikirize kya Katonda #KabakaMutebiAt70 #ffemmwemmweffe #kabakaat70 #KabakaWange

Mwebale kunjagala banange – Gen. Kayihura

Eyaliko Omuduumizi wa Uganda Police Force Gen. Edward Kale Kayihura avuddeyo nasanyukira ekyokumujjukira olwebyo byeyakola okulaba nti emirembe giddamu okubukala mu West Nile. Ono agamba nti omulimu tegwali mwangu mu 1998 Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyamulagira okwenyigira mukulaba nti bazze emirembe mu kitundu kino. Ono ayongeddeko nti musanyufu okulaba nti bamwanirizza oluvannyuma lw’emyaka ng’omwana. #ffemmwemmweffe