Mutembuli bamwanirizza mu mizira e Butaleja

Cheptegei ne Kiplimo tebagenda kwetaba mu misinde enkya

Ekibiina ekitwala emisinde mu Ggwanaga ekya @Uganda Athletes Federation kivuddeyo nekitegeeza nemunyeenye za Uganda mu misinde Joshua Cheptegei ne Jacob Kiplimo bwebatagenda kudduka mu misinde egya mita 5000 egiddirira egyakamalirizo olwobukoowo bwebafuna okuva mu misinde egya mita 10000 ngemibiri gyabwe gyetaaga okuwummula ekimala. Oscar Chelimo wakuzetabamu yekka. #ffemmwemmweffe

Tetugenda kwenyigira mu ntuula za Palamenti ezomubitundu – LOP Ssenyonyi

Ababaka mu Palamenti okuva ku ludda oluwabula Gavumenti bakombye kwebaza eriibwa nti kikafuuwe tebagenda kwetaba ntuula za Palamenti ezigenda okutambuzibwa mu bitundu by’Eggwanga ebyenajawulo. Okuva nga 28 August okutuusa nga 30 entuula za Palamenti zakutandikira mu Kibuga Gulu olwo entuula endala zitwalibwe mu bitundu ebirala. Mu lukiiko lwa Bannamawulire olwayitiddwa akulira Oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina […]

Poliisi ekutte Fr. Dominic Alinga ku byokuttibwa kw’omukozi wa URA

Omwogezi wa Uganda Police Force Kituuma Rusoke avuddeyo nategeeza nti nga 3-August-2024 ku ssaawa musanvu n’eddakiika 50 ezookumakya bafuna lipooti nti waliwo omuntu eyali atiddwa ku luguudo lwa Kitooro to Entebe International Airport. Omugenzi yategeerekeka nti ye Ngorok John Bosco, 30 nga mukozi ne Uganda Revenue Authority (URA) Domestic Tax Department. Ono yali afumitiddwa mu […]

Aba FDC Katonga bayooleddwa Poliisi

Omubaka wa Kira Municipality Ssemujju Nganda okuva mu kiwayi kya Forum for Democratic Change ekiwayi ky’e Katonga akwatiddwa enkya yaleero bwebabadde bagezaako okutambula okugenda ku kitebe kya Kenya mu Uganda. Bano banenya Eggwanga lya Kenya olwokukwata banaabwe nebabazza e Uganda olwo Gavumenti nebavunaana nebasindika e Luzira. #ffemmwemmweffe

Ssemujju ne banne bakwatiddwa enkya yaleero

Omubaka wa Kira Municipality Ssemujju Nganda okuva mu kiwayi kya Forum for Democratic Change ekiwayi ky’e Katonga akwatiddwa enkya yaleero bwebabadde bagezaako okutambula okugenda ku kitebe kya Kenya mu Uganda. Bano banenya Eggwanga lya Kenya olwokukwata banaabwe nebabazza e Uganda olwo Gavumenti nebavunaana nebasindika e Luzira. #ffemmwemmweffe

Aba Poliisi bakubye Bannamawulire bwebabadde bakwata aba FDC

Abasirikale ba Uganda Police Force obusungu babukyuusirizza Bannamawulire ababadde bakwata amawulire gokwekalakaasa kwa Bannakibiina kya Forum for Democratic Change ekiwayi eky’e Katonga nga babadde batambula okugenda ku kitebe kya Kenya mu Uganda. Kkamera za Bannamawulire 2 zonooneddwa yadde nga Bannamawulire bano babadde bambadde jacket eziraga ekitongole kyebakolera. Poliisi egamba nti bano babadde tebasabye lukusa. #ffemmwemmweffe

Mujje muggulewo emisango ku musirikale gwemugamba okubatulugunya – Owoyesigyire

Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nasaba abo bonna abalumizira OC CID ku CPS Joel Ntabu nti yabatulugunyiza mu buduukulu bwebaali bakwatiddwa olwokwekalakaasa okuvaayo bagende bateekeyo okwemulugunya kwabwe gyebali Poliisi ekole okunoonyereza. #ffemmwemmweffe Bya Kamali James

Obuli bw’enguzi bulina okulwanyisibwa ennyo – Minisita Otafiire

Minisita Kahinda Otafiire; “Obuli bw’enguzi nsonga nkulu nnyo eyeteega okutunuulira. Buli omu ku ffe ali mu bukulembeze alina okunoonyerezebwako singa baba boogerwako. Nawuliddeko abagamba nti natwala ettaka lya Gavumenti e Njeru. Bwoba oyagala okuvunaana Otafiire genda okole okunoonyereza okomewo n’obukakafu. Bwoba tolina kyomanyi, sirika.” #ffemmwemmweffe

Aba FDC 14 abakwatiddwa basimbiddwa mu Kkooti

Bannakibiina ba Forum for Democratic Change ekiwayi eky’e Katonga 14 abakwatiddwa enkya yaleero okuli n’Omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda wamu ne Nyanjura Doreen basimbiddwa mu Kkooti y’Omulamuzi Buganda Road nebavunaanibwa omusango gwokufuuka ebingiringiri nebategeka olukungaana olutali mi mateeka nga batambula okugenda ku Kitebe kya Kenya nga balaga obutali bumativu bwabwe olwokukwatibwa kwa banaabwe e Kisumu. #ffemmwemmweffe […]