Ekitebe ky’Amerika kinenyezza Poliisi olwokukwata abekalakaasa mu mirembe
Ekitebe ky’Eggwanga lya Amerika mu Uganda kivuddeyo nekiraga obwennyamivu ku ngeri Bannayuganda abasoba mu 90 abavuddeyo okwekalakaasa mu mirembe nga balaga obutali bumativu bwabwe ku buli bw’enguzi n’obukenuzi gyebakwatiddwamu. Ekitebe kisabye wabeewo okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abantu abatulugunyiziddwa nti era nabo abakikoze basaanye bavunaanibwe. Ekitebe kisiimye nnyo emikutu gy’amawulire era kigisaba okugenda mu maaso […]
Poliisi etubuulire Wambi gyali – Rubongoya
Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo omuwagizi wa NUP Wambi Peter eyakwatibwa ku lunaku olwa bbalaza bweyali agenda mu lukiiko lwa Bannamawulire ku Kavvule. Rubongoya agamba nti nokutuusa olwaleero ono tamanyiddwako mayitire nga n’abafamire basobeddwa eka ne mu kibira. Photo credit: Reuters
Ekitebe kya Norway kigaddewo mu Uganda
Ekitebe ky’Eggwanga lya Norway mu Uganda olunaku olwaleero kigaddwawo mu butongole. Ku mukutu gwa X ogw’ekitebe bategeezezza nti bbendera y’Eggwanga lino asiddwa omulundi ogusembayo mu Uganda nti wabula enkolagana wakati w’amawanga gombiriri yakusigalawo. . #Farewell #NorwayLovesUganda
Newuumya Ssewungu byayogera – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Waliwo omusajja ayagala ennyo okusaagirira gwebayita Ssewungu. Ntera nnyo okugoberera abantu abo abatali nnyo bamugaso. Nawulidde agamba nti olwokuba enguudo zaffe ziyisa emotoka 2 obubenje kyebuva bubeera obungi nti era tulina kukyuusa tuzimbe eziyisa emotoka 4. Nolaba abantu abakulu nga boogera nga abaana abato.”
Ow’ennyondo Bobi Wine amugulidde piki piki empya
Bwana Nsi Kihura Rozio eyasaba ennyondo okuva ewa Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine obulamu bugenda bukyuuka ekirooto kye ekyokubeerako ne piki piki empya nga yiye bwekituukiridde.
Abazukkulu musigale nga muli bumu – Abataka
Abataka Abakulu Ab’obusolya batudde mu lukiiko lwabwe Ttabamiruka olw’omulundi ogw’okutaano omwaka guno. Ab’Ekika ky’Emmamba Namakaka banjudde Katikkiro waabwe omuggya ate ab’Ekika kye Nkerebwe nabo banjudde Abamyuka ba Katikkiro waabwe. Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Augustine Kizito Mutumba asabye abaweereddwa obuvunaanyizibwa okubukola obulungi, naddala okukumaakuma abazukkulu basigale nga bali bumu.
Ssekikubo ne banne bawezezza emikono gyebabadde bakungaanya
Ababaka ba Palamenti nga bakulemberwamu Theodro Ssekikubo abetiba eddimu lwokukungaanya emikono ku kiteeso kyokuggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti abegemulira akasiimo nga bagamba nti kino kyali kikolwa kyakulya enguzi basambira nnyuma nga jjanzi oluvannyuma lw’okuweza emikono 177 gyebabadde betaaga.
Omubaka Zzaake ne banne bayimbuddwa
Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform abakwatibwa ku lunaku lwa bbalaza okuva ku kitebe ky’ekibiina ku Kavule okuli MP Zaake Francis Butebi, Charles Ttebandeke ne Hassan Kirumira Lukalidde bakiriziddwa okweyimirirwa mu Kkooti y’omulamuzi ye LDC.
Lubega Obed aka Reign ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti
Omubaka omukyala owa Kampala era Munnamateeka Hon. Shamim Malende avuddeyo nategeeza ng’Omulamuzi wa Kkooti ya Mwanga II e Mengo akirizza Lubega Obed aka Reign okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti ka Kakadde kamu akobuliwo ate abamweyimiridde obukadde 10 buli omu ezitali zabuliwo. Ono avunaaniddwa omusango gwokugezaako okuzza omusango kwokusaasaanya obubaka obwobulabe.