PS Geraldine Ssali asindikiddwa mu Kkooti Enkulu

Gavumenti yakwetaaga abakozi abasoba mu 3000 UMEME bwenagenda

Paul Mwesigwa, Managing Director wa Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCLTD) avuddeyo nategeeza nti Gavumenti erina okufuna abakozi 3000 nga bano bakukola mu kitongole ekisaasaanya amasanyalaze, Kkontulakiti ya Umeme Limited bwenaaba eweddeko nga 31 March 2025, era ng’omukisa gwokusooka kuweebwa bakozi ba UMEME abalina emirimu kati. Okwogera bino abadde alabiseeko mu Kakiiko ka Committee of […]

Poliisi evuddeyo ku katambi ka Eso corner

Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo ku katamba akatambuzibwa ku Social Media nga kalaga obubbi mu kibuga Kampala. Agamba nti kyaguddewo nga 15-July-2024 ku ssaawa mukaaga ezomuttuntu ku Eso Corner mu Kampala era nga alabibwa mu katambi ngakubwa ye Joshi Keshav, 32 Munnansi wa Buyindi ngakolera Kkampuni erambuza abantu esangibwa ku Crown […]

Poliisi ekutte Omubaka Ssemujju

Abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Uganda Police Force bawaliriziddwa okukozesa omukka ogubalagala okugumbulula abatuuze be Kasokoso ababadde bazze okuwuliriza abakulembeze baabwe okubadde Loodi Mmeeya Erias Lukwago, Ababaka Ibrahim Ssemujju Nganda ne Nsubuga Balimwezo ku nsonga yansalesale eyabaweereddwa ekitongolw ekirera obutonde bwensi ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda nga kibalagira okwamuka ekitundu kino. Bano babadde balina okubasisinkana […]

Ababaka temugeza nemuyisa ssente z’oluguudo lw’e Lusalira

Parliamentary Budgeting Office evuddeyo nerabula Ababaka kukuyisa ssente obuwumbi 508.44 ezigenda okwewolebwa Gavumenti okuzimba oluguudo oluwezaako kiromita 97 olwa Lusalira-Nkonge-Lumegere-Ssembabule olwensonga nti obukwakulizo obwateereddwa ku ssente zino aba Citi Bank gyezigenda okwewolebwa okuli okusasula amagoba gabuwumbi 300. Ssente zino ezokwewolebwa, singa Uganda ezifuna mu mbeera mweri yandifundikira nga esasudde obuwumbi 808.3.

Aba NUP olwaleero batalaaze Bushenyi

Olunaku olwaleero Abakulembeze ba National Unity Platform – NUP nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’Ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine olukungaana balukubye ku Kisaawe ky’e Kizinda mu DIsitulikiti y’e Bushenyi. Ono awerekeddwako Ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya, Akulira oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi, Ababaka; MP Zaake Francis Butebi, Joseph Gonzaga Ssewungu n’abalala. Ekibiina kirina enteekateeka y’okukuba […]

Uganda yakusasula obuwumbi 199 ku 247 ngomutango ku bikolobero ebyakolebwa e DRC

Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’Ebyensimbi Ramadhan Ggoobi olunaku olwaleero asomye ekitundu ky’embalirira ekisooka ekyomwaka gwebyensimbi 2024/25 nga mu nsimbi eziteereddwa mulimu obuwumbi 199 mu obukadde 830 ku buwumbi 247 nga zino zakuliyirira Eggwanga lya Democratic Republic of Congo nga zatusalirwa Kkooti y’Ensi yonna olwebikolobera ebyakolebwa Abasirikale b’Eggye lya UPDF mu Buvanjuba bwa DRC. Bino mwalimu […]

Aba National Council for Sports baweereddwa buwumbi ku nteekateeka za AFCON

Omuwandiisi omukulu mu Mnisitule y’Ebyenfuna Ramthan Ggoobi avuddeyo olunaku olwaleero nafulumya ensaasaanya y’ensimbi ezayiyisibwa mu mbalirira y’omwaka gwebeynfuna 2024/25 bwengenda okubeera mu kitundu ekisooka ekyomwaka. Ono agumizza Bannayunga nga nti balina kutya kwona nti era ensimbi zino zakusaasanyizibwa mu bwenkanya. Bya Kayanja Ernest

Poliisi eyise bannanyini piki piki ezakwatibwa okuzikima

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka SP kananura Michael yavuddeyo nategeeza nga bwewaliwo booda booda nnyingi ezipakingiddwa ku Poliisi ezenjawulo wabula nga zino tezirina misango ginoonyerezebwako nga zimazzeewo ebbanga eriwera. Kananura asabye bannanyini piki piki zino nga balina ebiwandiiko byazo ebiraga obwannanyini okugenda ku Poliisi zino babawe piki piki zaabwe.

Pulezidenti Museveni atadde omukono ku mateeka amaggya 19

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atadde omukono ku mabago 19 okugafuula amateeka okuli ne Income Tax. Asudde ekirowoozo ekyali kireeteddwa ekyokutwala ebitundu 5 ku 100 ku kutunda kw’ettaka mu bibuga wamu ne Munisipaali okuggyako ekifo wobeera nennyumba ezipangisibwa kuba zisula omusolo gwamayumba agapangisibwa. Bya Turyatemba David