Kkooti eragidde Munnansi wa Turkey abadde ayiwa malamu mu lutobazi okuliwa obukadde 200
Kkooti ewesezza Munnansi wa Turkey engasi ya bukadde 200 bwalemererwa asibwe emyaka 5 lwakuyiwa malamu mu lutobazi ku kyalo Gongobe mu Muluka ggwe Sseeta Goma sub-County mu Disitulikiti y’e Mukono. Kerim Ray 56 alagiddwa Kkooti ya Standards and Utilities okuzzaawo olutobazi luno mu naku 30. Bya Christina Nabatanzi
UPDF ekutte abadde yeyita ow’amaggye ku ddaala lya Lt. Col.
Maj. Charles Kabona omwogezi w’ekibinja ekisooka eky’Eggye lya UPDF avuddeyo nategeeza nga bwebakutte abasajja 2 okuli; John Adams Ssentongo, omutuuze w’e Kabanyoro mu Kasangati Town Council, mu Disitulikiti y’e Wakiso ngono yasangiddwa n’ebintu by’amaggye okuli ebyambalo, enyota, engatto n’ebirala. Ono yategeezezza nti ebyambalo yabifuna okuva eri omusirikale wa UPDF mu nkambi ya Military e Mbuya. […]
Poliisi n’amaggye biremesezza Bobi Wine okukuba olukungaana e Bundibugyo
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Olwaleero tuzzeemu okutalaaga Eggwanga nga tusookedde Bundibugyo. Gavumenti etulemesezza okwogerako eri abantu baffe ab’e Bundibugyo ku Leediyo gyetwasasulidde wamu n’okugenda ku kisaawe kya Booma, ekifo kyetwasaulidde. Batugambye nti ekifo kyaweereddwa abantu abalala. Leediyo bazigaanye okuyisa ebirango byaffe, enguudo ezigenda ku magombolola bazigadde era n’abantu […]
Munnamateeka wa Katanga aleeteddwa ngomujulizi owomukaaga
Munnamateeka w’omugenzi Katanga Ronald Mugabe Ruranga aleeteddwa okuwa obujulizi ku muntu we mu Kkooti Enkulu nategeeza nti enaku 2 nga tanafa Katanga yamunoonya ngayagala okukola ekiraamo. Ono ategeezezza nti ekyenaku teyasobola kumusisinkana kuba olunaku lwebaali bategereganye olwa 2-November 2023, Mugambe yalinda Katanga mu offiisi ye ku kizimbe kya Cooperative Allaince okutuusa ssaawa mukaaga ezomuttuntu webamutegereza […]
Temwetantala kweyunga ku bagenda kutambula kugenda ku Palamenti – Rusoke
Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nga Uganda Police Force bwekitegeddeko nti waliwo abantu abatandise okukunga Bannayuganda nga bayita ku Social Media nga babayita batambule okugenda ku Palamenti ku lwokubiri nga 23-July-2024. Poliisi egamba nti bano basudde nebipande nga bakubiriza abantu okubegattako mu kutambula kuno. Kituuma agamba nti wabula obudde nenteekateeka yonna temanyiddwa nga kino kireetedde Poliisi […]
Poliisi temuba nga muli munteekateeka eggalawo essomero lya NUP – SG Rubongoya
Ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo ku nsisinkano gyebabaddemu ne Uganda Police Force ku nsonga y’ettendekero lya National Unity Platform School of Leadership; “Mu lukiiko lwetwabaddemu ne Poliisi ku nsonga za National Unity Platform School of Leadership, batubuuzizza lwaki twatandikawo essomoro? Tulina abayizi bameka? Bafuna batya ebifo? Tuluubirira bantu ki? Baani […]
Mpuuga abantu balamu baaliyo naye bwewanoonya bewegattako wajja mu banywi banjaga – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nayanukulu Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “….. Simanyi oba mu Uganda, East Africa, Africa oba n’Ensi yonna teri muntu atamanyi byafaayo byaffe…. naye nammwe nsaba mwebuzeemu nti guluupu y’abantu abakulemberwa Kyagulanyi bomanyi obulungi nojja nobegattako, nga banywi banjaga bamwenge naye newegatta ku banywi banjaga. […]
Gavumenti yava dda ku Bannayuganda – Hon. Ssemujju
Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda; “Mujjukira nti Palamenti eno yawa kkampuni ya Roko ensimbi obuwumbi 270. Kati Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yaggyeewo ssente ezibadde zirina okugula emotoka agafemulago 80, ssente za Regional Referral Hospitals okusobola okufuna obuwumbi 300 bwanaawa kkampuni ya Roko eyobwannanyini.”
Munnayuganda alemedde mu bwavu wakusibwa – PM Nabbanja
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja avuddeyo nategeeza nti agenda kukozesa ekifo kye mu Gavumenti okulaba nti bakuba Bannayuganda bonna abakyali mu bwavu mbuga za Poliisi bannyonyole lwaki bakyali baavu wadde nga Gavumenti ebateereddewo obuwumbi nobuwumbi bwensimbi ngeyita mu nkola ez’enjawulo wabula bbo nebalemera mu bwavu.