Ezibadde ezokugula Ambulance 80 baziwadde Rock – Hon. Ayume
Eyali Ssentebe w’Akakiiko aka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobulamu Omubaka Charles Ayume akiikirira Koboko Municipality avuddeyo neyewuunya engeri Gavumenti gyeyakoze okusalawo neggya ensimbi obuwumbi 300 mu mbalirira y’ebyensimbi eyomwkaa 2024/25 ezaali ezokugula emotoka agafemulago ziyambeko mu kutambuza abalwadde nesalawo ziweebwa kkampuni eyobwannanyini enzimbi eya Roko Construction Company eri mu kattu k’ebyensimbi. Ayume avuddeyo ku mukutu gwe […]
Burora atwaliddwa mu Kkooti lwakulebula Sipiika Among
Eyali RCC wa Rubaga Burora Herbert Anderson asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road olwaleero era ngavunaanibwa emisango okuli okusaasanya amawulire agobulimba wamu n’ettima bweyawandiika ku Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among wakati w’omwezi gwa March ne June 2024 mweyali ayogerera ku buli bw’enguzi wamu n’obubbi bwe ssente bweyagamba nti bufumbekedde mu Palamenti […]
Oluguudo lwa Kira-Kasangati-Matugga nga bwerunafaanana
Omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA Allan Ssempebwa avuddeyo nagumya Bannayuganda nti pulojekiti y’okukola oluguudo lwa Kyaliwajjala okuyita e Kira, Kasangati okutuuka e Matugga nga luweza kiromita 18 bwegenda mu maaso nti era kuno kuliko n’okukola oluguudo lwa Najjeera Buwaate Spur oluweza kiromita 5. Ono era ategeezezza […]
Abataka boolekedde Namibia okulaba ku Kabaka
Abataka ba Buganda nga bakulembeddwamu Kyaddondo Kasirye Mbugeeramula (Nvuma), Mawesano Deus Kyeyune (ŋŋaali), Sheba Kakande (Ngeye), Erias Lwasi Buuzaabo (Ndiga), Godfrey Natiigo (Katikkiro w’Ekika ky’Olugave) ne Walusimbi Mbirozankya (Ffumbe) bagenze e Namibia gyebagenda okumala enaku 5 gyebagenze okukebera ku Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II. Bano bagamba nti ekyabatutte kwekumalawo eŋŋambo ezibadde zitambuzibwa ku […]
Siteegi egudde ku mukolo gwa PLU e Hoima
Abantu abawerako basimattuse okukubwa siteegi kwebabadde bwegudde ku mukolo gwa Patriotic League of Uganda ogwategekeddwa okuyozayoza mutabani w’omukulembeze w’Eggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba olwokulondebwa ku buduumizi bw’eggye lya Uganda. Omusirikale wa Poliisi omu (VIP Protection) yalumiziddwa. Omukolo gubadde mu Kibuga Hoima, wabula omukulembeze wa PLU Gen. Muhoozi tabaddeewo. Wabula kino tekirobedde mukolo kugenda mu maaso.
Pulezidenti Museveni yeyambisa bukambwe bwa Bannayuganda – Hon. Ssemujju
Omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda akiikirira Kira Municipality nga ye Minisita ow’ekisiikirize avunaanyizibwa ku byenfuna; “Bwetwali tusoma alipoota yaffe eyabatono ku mbalirira y’eggwanga, nakinogaanya nti enkola eyayitibwamu okukola embalirira eno tebangawo mu byafaayo bya Uganda. Nga Palamenti tetwagoberera byalambikibwa mu tteeka lya Public Finance Management Act. Mw. Yoweri Kaguta Museveni kati akozesa obukambwe Bannayuganda bwebalina ku […]
Ssente z’akasiimo naziwa bibiina byabakyala – Omubaka Mbabazi
Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Rubanda Prossy Mbabazi avuddeyo nakiriza okufuna ensimbi z’akasiimo wabula nategeeza nti ensimbi zino yaziwa ebibiina by’abakyala mu kitundu kyakiikirira. Mbabazi ategeezezza nti ensimbi obukadde 400 yazifuna wabula naziwa abantu be bakiikirira, bino yabyogeredde ku mukolo gwolunaku lw’abakyala olwabadde e Rubanda. Mbabazi; “Nali waddembe okukozesa ssente zino mu bintu ebyange nga […]
LOP Ssenyonyi ayagala Munnamawulire Dean Lubowa amwetondere olwokumulebula
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi ngayita mu Bannamateeka be aba Pace Advocates awandiikidde Munnamawulire Dean Lubowa Ssaava ngamutegeeza nga bwalina enteekateeka yokumukuba mu mbuga z’amateeka singa tavaayo kumenyawo byeyayogera mu ssaawa 48 wamu n’okumwetondera byeyamwogerako nti yalya enguzi yakawumbi kamu okuva mu Civil Aviation Authority bweyalina akyali ssentebe wa […]
Waliwo abalokole abavuddeyo okusiiba okulaba nti Omubaka Mawanda ayimbulwa
Waliwo ekibinja ky’Abalakole okuva mu Igara East mu Disitulikiti y’e Bushyenyi nga bakulembeddwamu Bishop Adam Nkwatsa abatandise okusiiba kwanaku 5 olwaleero nga begayirira Katonda aveeyo ayambe Omubaka waabwe ali ku alimanda mu Kkomera e Luzira Micheal Mawanda ayimbulwe. Mawanda yakwatibwa ne Babaka banne abalala 2 Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM ouli; Ignatius Mudimi […]