Bannayuganda batuwagira naye Bannabyabufuzi bbo bagulaba nga mukisa – ED NEMA
Executive Director wa National Environment Management Authority (NEMA) Uganda Dr. Barirega Akankwasah; “Bannayuganda bawagira emirimu gyaffe nebigenda mu maaso. Bannabyabufuzi abolubatu bokka abalina abaagala okuyisaawo ebyabwe nga bakozesa abantu abali mu buzibu kati bayiseewo ebyabwe bebawakanya.”
NEMA egamba nti beyasenda mu Lubigi mu tteeka bebalina okuliwa obukadde 600 buli omu mu tteeka
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bw’Ensi kya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda kivuddeyo nekiwakanya ekiteeso ky’Ababaka ba Palamenti ababadde bagamba nti NEMA eriyirire Abatuuze begamba nti besenze mu Lubigi mu bukyaamu. NEMA egamba nti etteeka lya Uganda ligamba nti omuntu yenna eyesenze mu ntobazi alina okuliwa ensimbi obukadde 600 okusobola okuzzaawo olutobazi olwo oba […]
Dr. Byarugaba ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti
Kkooti ewozesa abali benguzi nabalyaka ekirizza eyali Executive Director wa Mulago National Referral Hospital Dr. Byarugaba Baterana okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 10 ezobuliwo. Bya Christina Nabatanzi
Mbadde manyi kati Bannayuganda bali eyo mu bukadde nga 48 oba 49
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni: “Baali babuuza ebibuuzo bingi. Kyatutwalira essaawa 2 nze ne Maama n’abantu bange okwanukula ebibuuzo byabwe ate byali bikwatagana bulungi ku byetaagibwa mu nsonga zonna mu bulamu bwomuntu. Nze nail ndowooza nti Bannyuganda tuli nga kati obukadde 48 oba 49, era nakyewuunyizza nnyo nti tetuwela na bukadde 46.”
Bannayuganda baweze obukadde 45 mu emitwalo 90 – UBOS
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu Ggwanga ekya Uganda Bureau of Statistics – UBOS olwaleero kifulumizza ebyava mu kubala abantu nga Uganda kati eweza abantu obukadde 45 mu emitwalo 90 okuva ku bukadde 34 mu emitwalo 60 (2014). Okusinziira ku UBOS egamba nti kuba kweyongerako obukadde 11 mu emitwalo 30 mu myaka 10 egiyise. UBOS eyongerako […]
Omubaka waffe Namujju yali abbira ffe – Kitatta Ibrahim Almalik LC5 Lwengo
Kitatta Ibrahim Almalik Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM nga ye Ssentebe wa LC5 owa Disitulikiti y’e Lwengo; “Omubaka waffe yali anoonya wanaggya akassente kanatuwa nga tumusabye n’okulaba nti tubeera bulungi. Yalowooza ku kumwongeza omusaala nga tekimala nayiiya wayinza okuteeka ssente zino azituggireyo kwekuziteeka mu mbalirira wezinayita.”
Ambulance etomedde abantu ku Northern Bypass
Emotoka agafemulago eya Kkampuni ya City Ambulance etomedde booda booda okubadde kutambulira abakuumi ba kkampuni ya Dom Security Company nebamenyeka amagulu ku nkulungo y’e Naalya ku luguudo lwa Northern Bypass. Ku bano kubaddek abakyala 2 okuli; Agena Suzan 26, Ayiro Teopista 20 n’omusajja omu Tommy ngono yabadde avuga piki piki. Abasawo ababadde mu Ambulance bawadde […]
Abobuyinza bagaddewo essomero e Kayunga lwabutaba nabisaanyizo
Abobuyinza mu Disitulikiti y’e Kayunga wamu nabakungu okuva mu Minisitule y’Ebyenjigiriza bagaddewo essomero lya Buyobe CU Primary School erisangibwa ku kyalo Buyobe mu Gombolola y’e Kayunga lyabutaba nabisaanyizo, abaana okubasuza wansi kwossa nobataba na layisinsi. Bya Latifah Nalubowa
Ssekikubo ne banne kati bagenda kugenda mu Constituency okunoonya emikono
Ababaka ba Palamenti abakulemberamu okukuŋŋaanya emikono gy’ekiteeso ekiggya obwesige mu ba Kkamisona ba Palamenti 4 abegemulira akasiimo ka kawumbi kamu mu obukadde 700 bagamba nti bayiyizaayo enkola endala eyokufuna emikono gy’Ababaka nga kati bakugenda mu bitundu byebakiikirira nga tebasobola kujja mu Palamenti nga bali muluwummula. Kino Ssekikubo yakitegeezezza Bannamawulire nategeeza nti kati bakafuna emikono 167. […]