NEMA ekalambidde tewali muntu agenda kusasulwa lwakusengulwa mu Lubigi
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bwensi ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda kivuddeyo nekikomba kwebaza eriibwa nti kikafuuwe okuliyirira omuntu yenna eyafiiriddwa ebintu mu Lubigi. NEMA egamba nti ate bano bebalina okuliyirira olwokwonoona obutonde bwensi. Bya Ernest Kayanja
Waliwo abantu 4 ababadde bafuna omusaala gwa UBC nga sibakozi baayo – COSASE
Winston Agaba, Managing Director wa Uganda Broadcasting Corporation avuddeyo nategeeza Ababaka abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akalondoola ebitongole bya Gavumenti aka Committee of Commissions, Statutory Authorities & State Enterprises (COSASE), nti yali takimanyiiko nti waliiwo abantu abaali bafuna omusaala okuva mu Kitongoe naye nga sibakozi okutuusa Ministry of Public Service lweyakizuula. Bino abyogedde alabiseeko mu […]
Kitalo! Omuvubuka atemyeeko nnyina omutwe e Kanyanya
Kitalo! Omuvubuka Ssali Samuel 30, yakidde Nnyina Namutebi Florence 60, ngabadde mutuuze w’e Kanyanya namutta. Kigambibwa nti Ssali abadde alina obuzibu ku mutwe era nga yayingidde ekisenge neyesibiramu ne nnyina oluvannyuma namutemako omutwe olwo nalinnya neyekweka mu ceiling ngeno Uganda Police Force gyeyamuggye oluvannyuma lwokweyambisa tear gas wamu n’amasasi. Bya Kamali James
Mwali temulaba okuzimba mu ntobazi? – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Mpulidde abantu nga bagamba nti National Environment Management Authority (NEMA) Uganda yaliruddawa nga bazimba. Lwaki NEMA teyabagaana. Ggwe tolina maaso kulaba nti wozimba lutobazi? Ggwe kenyini! Tewetaaga NEMA! Ani atamanyi lutabazi?! Lwaki oyagala NEMA yeba ekuyimiriza gyoli oli musiru!? NEMA nebweba nga esooba mu mirimu gyayo, tosobola kugamba nti nga bwebatakola […]
Ababaka ba NRM 3 basindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira
Ettuntu lyaleero Akakiiko akalwanyisa enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne bambega ba Uganda Police Force wamu ne Offiisi ya DPP batutte Ababaka ba Palamenti 3 Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM mu Kkooti okuli; Hon. Mawanda Micheal Maranga owa Igara East […]
Bannamawulire 2 basindikiddwa e Luzira lwakuwandiika mawulire nga tebalina layisinsi ya UCC
Bannamawulire 2 basimbiddwa mu Kkooti olunaku olwaleero nebasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira lwakuddukanya mikutu gy’amawulire ku mutimbagano nga tebalina layisinsi ekola omulimu guno okuva mu Uganda Communications Commission. Dickson Mubiru Ashely; Managing Director wa Grace Publications ne Ssengooba Alirabaki; nga muwandiisi mu Grape Vine Media bebasindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira. Omulamuzi […]
Abawangula ebintu ebyenjawulo mu Neyimbira Byange 2024 bakwasiddwa ebirabo byabwe
Abawanguzi mu Nsi ya Neyimbira Byange 2024 olunaku olwaleero bakwasiddwa ebirabo byabwe mu butongole. Eyakwata ekyokubiri akwasiddwa Piki piki empya ttuku okuva mu Simba Automotives ate n’omuwuliriza omuwanguzi naye nakwasibwa piki piki ye. Eyawangula ettaka okuva mu Century Properties naye akwasiddwa ekyapa kye. Manager Kafeero Solar naye awadde eyakwata ekyokubiri solar panel ejjudde ngeriko ne […]
Poliisi yezoobye n’abavubuka ba PLU ku Kkooti e Nakasero
Uganda Police Force egaanye abawagizi b’Omubaka Micheal Mawanda ababadde bambadde Tshirt eza PLU okuyingira ku Kkooti evunaana abali b’enguzi e Nakasero wasuubirwa okusimbibwa mu Kkooti asomerwa emisango egyekuusa ku kubulankanya ensimbi obuwumbi 164 ezaali ezokuliyirira abebibiina byobwegassi.
Pulezidenti Museveni asisinkanye Sipiika ne Ssaabalamuzi
Olunaku lw’eggulo Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among wamu ne Ssaabalamuzi wa Uganda Alphonse Owiny Dollo basisinkanye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu State Lodge e Nakasero. Among ategeezezza nti bayogedde ku nsonga ezekuusa ku bukulembeze, okuteekerateekera Eggwanga wamu n’okutumbula obulamu bwa Bannansi.