Ababaka Akamba, Wamukuyu ne Mawanda bavunaaniddwa kwabulankanya obuwumbi 7 mu obukadde 300

Poliisi ekutte Deno lwakusaasanya katambi kabuseegu

Uganda Police Force ku CPS mu Kampala ekutte Nsubuga Denis aka Deno Police naggulwako omusango gwa cyber stalking. Kigambibwa nti Nsubuga yasaasanya akatambi k’obuseegu ku mikutu gya internet. Kigambibwa nti Nsubuga yafuna akatambi akakadde akomuntu atanategeerekeka natandika okukatambuza nga agamba nti ka Doreen Nalunga aka Milk Bae. Bya James Kamali

Poliisi mulekerawo okukwata obubi abantu – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nategeeza Palamenti ng’Omubaka wa Busiki County Paul Akamba eyakwatibwa bweyali yakayimbulwa ku kakalu ka Kkooti bwakuumirwa ku kitebe kyabambega ekya Criminal Investigations Directorate (CID) olw’emisango emiggya egyamuguuddwako. Sipiika ategeezezza nti yakiriziganyizza ne Uganda Police Force okumuwa ebiwandiiko ebiyita Ababaka bonna bebetaaga okubaako kyebannyonyola okusinga okumala gakwata Babaka be.

NUP bagiremesezza okusuula Baagala ne Bwanika

Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi (National Unity Platform) avuddeyo nalaga obutali bumativu bwe oluvannyuma lwa Palamenti okulemesa ekiteeso kyabwe ekyokukyuusa Omubaka AbedBwanika ne Hon. Joyce Bagala Ntwatwa ku bifo byebabaddeko ku Kakiiko ka Palamenti aka Government Assurances and Implementation Committee. Jeol ategeezezza nti kino kyeyoleka lwatu nti kati bano bataatirwa kibiina ekiri mu buyinza […]

Executive Director wa Mulago atwaliddwa mu Kkooti y’abakenuzi

Eyali Executive Director wa Mulago National Referral Hospital Dr. Byarugaba Baterana n’abakulu abalala mu Ddwaliro olunaku olwaleero basimbiddwa mu Kkooti evunaana abalyake n’abakenuzi mu Kampala nabasomerwa emisango 19 okuli okukozesa obubi offiisi ekyaviirako Gavumenti okufiirwa obuwumbi 6 n’obukadde 300.

Kabaka si mulwadde muyi – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Leero nga 18 Ssebaaseka 2024, tufunye ensisinkano ey’enjawulo mu Bulange ku nsonga enkulu ekwata ku Ssaabasajja Kabaka. Ensisinkano eno ebaddemu Katikkiro, Olulyo Olulangira Abataka Abakulu Ab’obusolya ne Baminisita. Tusaanye tujjukire nti Ssaabasajja ye Kitaffe era okukira ku bantu abalala bonna, Ssaabasajja talingirizibwa, amawulire agakwata ku bulamu bwe tegafulumizibwa mu ngeri eweebula […]

Ababaka abalala 2 bayitiddwa okweyanjula ku Poliisi

Ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Criminal Investigations Directorate (CID) kiyise Omubaka wa Igara East Michael Mawanda n’owa Elgon County, Mudimi Wamakuyu okuyamba ku Uganda Police Force mukunoonyereza ku nsimbi obuwumbi 164 ezaali ezokuliyirira ebibiina byobwegassi ebyakosebwa olw’entalo ezaliwo wakati wa 1979 ne 2006.

Mu motoka ezikwatiddwa Poliisi mubaddemu neya Minisita

Mu bikwekweto ebikoleddwa olunaku olwaleero okukwata emotoka eziriko obugombe mu bukyaamu ssaako n’amataala agatakirizibwa, Poliisi ekutte emotoka eziwerako nezitwalibwa ku Inspectorate of Motor Vehicles e Naguru, mu Kampala. Muzikwatiddwa olwaleero mwemuli n’emotoka ya Minisita Omubeezi mu Offiisi ya Ssaabaminisita ne ya Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM mu Disitulikiti y’e Sironko.

Ntadde omukono ku kiwandiiko kino olwokuba abantu bange kyebaagala – Hon. Ttebandeke

Omubaka akiikirira Bbaale County Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Ttebandeke Charles; “Abalonzi bange bampadde ddereeva, emotoka era nebagiteekamu n’amafuta, nebalagira ddereeva abeerewo ng’omujulizi nga nteeka omukono ku kiwandiiko kyekiteeso ekiggya obwesige mu ba kkamisona era nkitaddeko omukono. Nina okukola abalonzi bange kyebansaba, kyebategeera era ekizimba Uganda. Olwokuba ndi mu Mubaka akiikirira Abantu be Bbaale, […]

Abasirikale ba Military bateekeddwa ku nguudo okuyamba ku ba Traffic – Col. Deo Akiiki

Omumyuuka w’omwogezi w’eggye lya UPDF Col. Deo Akiiki avuddeyo nategeeza nti nga eggye lya UPDF bweriyungudde Abasirikale baalyo okuva mu Military Police Traffic Department okuyambako abasirikale ba Uganda Police Force abavunaanyizibwa ku bidduka mukukwasisa amateeka g’okunguudo oluvannyuma lw’abakulu mu UPDF okuvaayo nebemulugunya ku neeyisa yabagoba b’ebidduka. Akiiki agamba nti ekigendererwa mulimu nokukwata abo abakozesa ebyambalo […]