DPP alagidde Ababaka 3 aba NRM okusindikibwa mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe
DPP alagidde Ababaka 3 Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM basindikibwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe omusango gwa ‘Budget corruption’. Omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya ategeezezza Kkooti evunaana abali b’enguzi nabalyake ebadde ekubirizibwa Omulamuzi Joan Aciro nti DPP alagidde bano batwalibwe mu Kkooti Enkulu oluvannyuma lwa Uganda Police Force okufundikira okunoonyereza kwayo. Wabula olunaku olwaleero […]
Poliisi yeyambisizza omukka ogubalagala okugumbulula abantu mu Lubigi
Uganda Police Force ettuntu lyaleero yeyambisizza omukka ogubalagala okugumbulula abatuuze mu Lubigi ababadde batandise okukuŋŋaana oluvannyuma lwakulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi okutuuka mu kifo National Environment Management Authority (NEMA) Uganda weyakoonye amayumba g’abatuuze ng’egamba nti besenza mu lutobazi.
Omubaka Akamba bazzeemu okumukwata nga yakayimbulwa Kkooti
Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM akiikirira Busiki County Hon. Paul Akamba, omu ku Babaka 3 abakwatiddwa nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira olunaku olwaleero bwebakomezeddwawo okusaba okweyimirirwa nayimbulwa Kkooti kukalu kaayo kabukadde 13 obwobuliwo azzeemu nakwatibwa abebyokwerinda nebamuteeka mu motoka ebadde erinze. Abawagizi be naboluganda basigadde basobeddwa nga tebamanyi wa gyebamututte.
Newuunya abavubuka abagamba nti mu Uganda tewali mirimu – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Emirimu wegiri mu Ggwanga, naye mpulira abavubuka nga bakaaba, emirimu emirimu. Balina empapula zaabwe zebakiririzaamu nga Daily Monitor, balinga balabe ba Afirika. Enaku eziyise nabalaba (Monitor) amasanyalaze bwegaggibwako nga bagezesa Karuma, nebawandiika nga bajaguza nti abasaasaanya amasanyalaze tebalina busobozi. Nawulira endowooza eno ne mu bakozi ba Gavumenti, kinewuunyisa engeri abalabe gyebakwataganamu.”
Abawagizi b’Ababaka 3 abasindikiddwa e Luzira beyiye mu Kkooti
Abawagizi b’Ababaka Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM 3 okuli Cissy Namujju Dionizia, Paul Akamba ne Yusuf Mutembuli bakedde kweyiwa ku Kkooti ewozesa abalyake nga bano bakomezeddwawo olunaku olwaleero okusaba okweyimirirwa ku misango gy’obulyake. Bya Christina Nabatanzi
Omubaka Namujju ne Mutembuli bagaaniddwa okweyimirirwa
Omubaka Omukyala owa Disitulikiti y’e Lwengo Cissy Namujju wamu Muhammad Mutembuli bagaaniddwa okweyimirirwa ate ye Akamba akiriziddwa okweyimirirwa nalagirwa okusasula obukadde 13 ezobuliwo. Mwanyinna wa Mutembuli, Namukose Minsa asangiddwa nga talina bisaanyizo byeyimiria muntu ate wabula ye Namujju yalemereddwa okutuukiriza kokufuna ebbaluwa ya Ssentebe wa LC1 okukasa gyabeera. Bya Christina Nabatanzi
Pulezidenti Museveni adduukiridde kaweefube w’emmwanyi terimba
Omukulembeze w’Eggwanga H.E Yoweri Kaguta Museveni adduukiridde kaweefube wa mmwanyi terimba n’ensimbi obukadde 413 wamu n’endokwa z’emmwanyi eziwerako. Akulira eby’ensimbi mu maka g’Obwapulezidenti Muky. Jane Barekye yatuusizza obubaka buno ku mukolo gw’okuggulawo omwoleso gw’obulimi n’Obwegassi e Kasana LuweEro mu Bulemeezi.
Poliisi ekutte akulira abakama amafuta mu motoka e Mulago
Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’e Wandegeya bweyakoze ekikwekweto ku bigobero e Mulago ku Mulago Mortuary washing bay, Busia zone, Wandegeya Parish Kawempe Division. Kino kyadiridde akatambi akabadde katambuzibwa ku mutimbagano nga abantu 3 bakama amafuta okuva mu motoka ekika kya Double Cabin. Poliisi yakutte Mutebi Peter 30 ngono […]
Ababaka 3 basindikiddwa mu Kkooti evunaana abali b’enguzi
Ababaka 3 Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM okuli; Yusuf Mutembule, Paul Akamba ne Cissy Namujju olunaku olwaleero batwaliddwa mu Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi e Nakasero bavunaanibwe emisango gyobulyake. Kigambibwa nti bano nga 11-May-2024 ku Hotel Africana mu Kampala basaba Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – […]