NEMA ekyamenya ennyumba z’abantu mu Lubigi

Poliisi ekutte abagambibwa okukuba ebiccupuli ku Nasser

Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekya Directorate of Crime Intelligence nga kikolera wamu n’ebitongole byebyokwerinda ebirala bwekyakoze ekikwekweto ku Elite Arcade ku Nasser Road, shop A-08, nekikwata abantu 8 abagambibwa okwenyigira mukujingirira ssente, okuzitunda wamu n’okuzisaasaanya. Abakwatiddwa kuliko abakulira Mukasa Ronald, ne banne okuli; Mugumya Geey, […]

Mpuuga ne banne kiki kyebakola ekyenjawulo ekibasiimisa – Nandala Mafabi

Omubaka akiikirira Budadiri West Nathan Nandala – Mafabi avuddeyo nasaba Uganda Police okukwata Ababaka bonna abatuula ku kakiiko ka Palamenti aka Legal & Parliamentary Affairs Committee, nga agamba nti bano bekobaana mu kuyisa akasiimo akakawumbi 1 mu obukadde 700 ezaweebwa ba Kkamisona 4 ngogyeeko ekyokujjuza abeŋŋanda zaabwe mu bifo bya Palamenti ebisava. Okwogera bino abadde […]

Ssekikubo asobodde okukungaanya emikono 145 mu wiiki 3

Omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) avuddeyo nategeeza nti oluvannyuma lwa wiiki 3 nga batongozza ekiteeso kyokuggya obwesige mu ba Kkamisona ba Palamenti abegemulira akasiimo akakawumbi 1 mu obukadde 700 basobodde okukungaanya emikono okuva mu babaka 145 nga bakyalemereddwa okuweza emikono 177. Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire Ssekikubo yewuunyizza lwaki Ababaka bangi batidde okuteeka omukono ku kiwandiiko […]

Eyanyaga ensawo y’omulamuzi asibiddwa emyaka 15

Mulinzi Bilal 30, (eyambadde enkofiira) asaliddwa omusango gwokulumbagana Omulamuzi Gladys Kamasanyi namunyagako ensawo ye omwali akakadde 1 mu emitwalo 85, identity card y’obulamuzi, ebizigo wamu n’essimu ekika kya Iphone. Mulinzi akirizza okwenyigira mu bubbi buno ne munne era nga batuuse obuvune ku mulamuzi Kamasanyu eyali agenze okukima ebivudde mu bigezo by’omwana we ebya PLE ku […]

Omubaka Basalirwa akata beggwe mu malaka ne Ssekikubo

Wabaddewo okusika omuguwa wakati wa Babaka abaakulemberamu enteekateeka eyokuggya obwesige mu ba Kkaminsona ba Palamenti 4 ngomubaka wa Munisipaali ye Bugiri Asuman Basalirwa ayagala kumanya amateeka bano kwebeesigama okutwala enteekateeka eno mu maaso. Ono asekeredde kawefube ono nga bwatalina gyalaga olwokubuuka emitendera kwebesigamye ngate ne nsimbi zebavunaana ziri mu mateeka.

Ekitongole kya Keddi Foundation kitutte Bannayuganda 100 okukola Hijja

Ekitongole ekimanyiddwa nga Keddi Foundation kitutte Bannayuganda abawalera ddala 100 okugenda okukola Hijja e Mecca. Bano basimbuddwa Chief Executive Officer wa Keddi Foundation Keddi Steven Eric Zuluba bwatyo nabakuutira okwongera okweyisa obulungi nebwaba bakomyeewo. Ono era yabasabye okusabira ennyo Eggwanga mu kaseera kano nga tugenda mu kalulu wabukalewo emirembe n’obumu. Ye Sheikh Miradu Kaluuma yebaazizza […]

Agambibwa okukukusa Bannayuganda okubatwala e Thailand akwatiddwa

Sabuka Mukisa aka Hilda Powerz nga musuubuzi mu Kampala asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road olwaleero nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira kubigambibwa nti abadde akukusa Bannayuganda okubatwala e Thailand okwenyigira mu kuwola ensimbi ku mutimbagano okutali mu mateeka. Bya Christina Nabatanzi

Akatambi kemutambuza kakadde abo twabakwata – Luke Owoyesigyire

Omumyuuka wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza Bannayuganda nti akatambi akatambula ku mutimbagano akakwatibwa kkamera enketta bikolwa kakadde. Ono agamba nti akatambi kano ka 2022 nga obubbi buno bwakolebwa ku masaŋŋanzira ga Buganda Road okuliraana City Oil ku Bombo Road. Luke agamba nti ekibinja ky’abavubuka kyalumba Engineer eyalina obukadde 30 mu nsawo nebagezaako […]

Ababaka ba NRM temugeza nemuteeka emikono ku kiwandiiko kya Ssekikubo – Hon. Kinobere

Omumyuuka w’omwogezi wa kabondo k’Ababaka ba National Resistance Movement – NRM nga ye Mubaka akiikirira Kibuku County Herbert Kinobere avuddeyo nalagira Ababaka Bannakibiina kya NRM obutateeka mikono ku kiwandiiko kiggya bwesige mu Bakamisono ba Palamenti okutuusa nga bafunye okuwabulwa okuva ewa Ssentebe w’ekibiina. Ono ayongeddeko nti singa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abagaana okuteeka omukono ku […]