Waliwo Ababaka bebaddusiza obutateeka mukono ku kiwandiiko – Ssekikubo
Omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) agamba; “Tukitegeddeko nti olweggulo lwaleero waliwo Ababaka ba Palamenti 30 abatwalibwa nga bakulemberwa Cissy Dionizia Namujju (Omubaka omukyala owa Lwengo Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM) ngabatwala Dar es Salaam mu Tanzania baleme kubaawo kuteeka mikono ku kiwandiiko. Wetwogerera waliwo ekibinja ky’Ababaka abali e Nairobo nga babaggyewo kireme kumanyibwa. […]
Gavumenti etadde envumbo ku Sipiika Among nabalala 4
Gavumenti ya Amerika evuddeyo neteeka ekkoligo lyobutayigira Ggwanga eryo ku bakulu abalala 5 mu Gavumenti lwa buli bwa nguzi n’obukenuzi wamu n’okulinyirira eddembe ly’obuntu. Bano kuliko Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among ngono bamuvunaanye buli bwanguzi obususse obwetololera ku Palamenti gyakulembera, eyali Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Mary Goretti Kitutu, eyali Minisita omubeezi avunaanyizibwa […]
Abdu Katuntu yebalamye ebyokuteeka omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu ba Kkamisona
Abdu Katuntu (Bugweri County) avuddeyo nategeeza nga bwatasobola kuteeka mukono ku kiwandiiko kiggya obwesige mu ba Kkamisona ba Palamenti nga agamba nti Akakiiko kakulembera aka Parliament’s Rules Committee, kekaweebwa obuyinza okutunula mu nsonga ezikwatagana neneyisa y’Ababaka nga nabwekityo ekigenda mu maaso essaawa eno Ababaka bano bandifundikira nga basindikiddwa mu Kakiiko kakulembera.
Sinakwata ku ssente wabula eyaleeta ekiteeso simwesiga – Hon. Luttamaguzi
Omubaka Luttamaguzi Paulson Ssemakula avuddeyo nasambajja ebibadde bitambuzibwa nti yomu ku bafunye obukadde 25 obutateeka mukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu bakkamisona ba Palamenti 4 abeggemulira ensimbi ezisoba mu kawumbi nga agabamba nti ye ekikyamugaanye okuteekako omukono kwekuba nti omuntu eyaleeta ekiteeso kino Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) tamwesiga okuba nti kyakulemberamu kiyamba Bannayuganda kuba mu […]
Minisita eyabba omuceere ne nnyama e Masaka ku mukolo gwa Gen. Muhoozi tomuyitanga? – Gashumba
Omumyuuka wa Ssentebe owa massekkati owa Patriotic League of Uganda, Frank M. Gashumba alumbye Director for mobilization, era Omubaka akiikirira Igara East mu Disitulikiti ye Bushenyi Michael Mawanda. Kino kyaddiridde Gashumba okuvaayo nawandiika ku mukutu gwa X ngayagala abavunaanyizibwa ku byokwerinda mu Ggwanga okuvaayo bunnambiro bataase Bannayuganda ku bakifeesi ababatiggomya wabula Omubaka Mawanda namuyita Bunnambiro […]
Omubaka Nsibambi naye atadde omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu kkamisona
Nampala w’Ababaka ba Forum for Democratic Change mu Palamenti akiikirira Mawokota South Yusuf Nsibambi avuddeyo nagenda okuteeka omukono ku kiwandiiko ekiggyamu ba Kkamisono ba Palamenti 4 abegemulira akasiimo akaweza ensimbi akawumbi 1 mu obukadde 700 so nga ate baali bafuna obukadde 23 nga ngomusaala buli mwezi. Ono yegaanye okuba nakakuku konna ku bantu bano 4 […]
Bigira Moses atandiseewo ekisinde ekikye
Bigirwa Moses avuddeyo nategeeza nga bwatandiseewo ekisinde ekikye ngayawukana ku Kibiina kya National Unity Platform. Bigirwa agamba nti ekisinde kyabwe kyakuyitibwa Eastern Revolutionary Platform (ERP). Ayongeddeko nti Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine talina kyagatta ku Busoga ye kwekutandikawo ekisinde ekigenda okugatta ku kitundu kino.
IGP wewale entalo naba Opposition – Minisita Otafiire
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Maj. Gen. Kahinda Otafiire avuddeyo nakalataira Ssaabadduumizi wa Uganda Police Force omuggya IGP Abas Byakagaba obutasaawo ntalo na bannabyafuuzi abali ku ludda oluvuganya Gavumenti wabula abakwate mu ngeri amateeka gyegamulambikamu bwewaba nga waliwo ebitatambula bulungi.
Persis Namuganza naye awagidde ekyokuggya obwesige mu ba KKamisona
Minisita omubeezi owettaka avunaanyizibwa ku nsonga zamayumba Persis Namuganza asekeredde ba Kkaminsona ba Palamenti olw’okukemererwa okuyimirira ku bigambo byabwe eby’okulwanirira abantu, ne batuuka okwegabanya ensimbi y’omuwi w’omusolo bwebeewa akasiimo ngate be bamu ku baakulemberamu enteekateeka y’okumuggyamu obwesiga ku kifo ky’obwa minisita omwaka oguwedde. Bino Minisita Namuganza abyogedde bwabadde assa omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu […]