Poliisi esazeeko Kyagulanyi n’abawagizi be tebaganyizza kuyingira Kamuli

Poliisi ekutte Bigirwa bwabadde akunga abantu ku Radio

Mu Disitulikiti y’e Kamuli Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagukanyi Ssentamu aka Bobi Wine gyalina okukuba olukungaana lwe olusooka, Uganda Police Force eyiye basajja baayo abawanvu n’abampi okunyweza ebyokulinda. Abebyokwerinda balumbye Radio ya Kamuli Broadcasting Services nabasikayo ba Cordinator ba NUP mu Busoga okubadde Mosese Bigirwa nga bamulanga okukunga abantu.

Abakulembeze ba NUP bezoobye ne Poliisi e Jinja

Bannakibiina kya National Unity Platform nga bakulembeddwamu omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi wamu ne Ssaabawandiisi David Lewis Rubongoya bezoobye ne Uganda Police Force ku lutindo lw’e Jinja ngetabwe evudde ku ba piki piki ababadde babawerekera Poliisi begamba nti tebalina kukozesa lutindo lupya nga balina kuyita ku lukadde. Oluvannyuma bakiriziganyizza era bano ne beyongerayo.

Ssekikubo akulembeddemu Ababaka abalala okujja obwesige mu ba commissioner abeewa akasiimo

Waliwo Ababaka ba Palamenti nga bakulembeddwamu Omubaka wa Lwemiyaga Theodore Ssekikubo, Joseph Ssewungu (Kalungu West), Sarah Opendi (Tororo Woman MP), Patrick Nsamba Oshabe (Kassanda North) ne Yorke Alioni Odria (Aringa South) abatandise okukungaanya emikono okuva mu Babaka banaabwe nga baagala okujja obwesige mu ba Kkamisona ba Palamenti abenyigira mukugabana ensimbi y’omuwi w’omusolo akawumbi 1 mu […]

Kizza eyagezaako okutema omusuubuzi asindikiddwa ku alimanda

Ashraf Kizza eyalabikira mu katambi ngagezaako okutemula omusuubuzi Sam Turyamuhaki yatwaliddwa mu Kkooti ye Mmengo. Ono yaguddwako emisango 2 okuli okugezaako okutta omuntu wamu nokugezaako okubba ngakozesa eryanyi. Omuwaabi wa Gavumenti Carolyn Mpumwire yategeezezza Kkooti nti okunoonyereza ku musango guno kwawedde dda nti era balindiridde kusindikibwa mu Kkooti Enkulu Adams Byarugaba omulamuzi wa Kkooti esookerwako […]

Omubaka Malende y’omu ku basoose e Kamuli nga beteekerateekera olukungaana lwa NUP

Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende yatuuse dda mu Disitulikiti y’e Kamuli ngeno ekibiina kya NUP gyekitandikidde ekitundu ekyokubiri ekyokuffeffetta obuwagizi bwa Bannayuganda nga bewandiisa. Ono agamba nti bategeezezza ku Uganda Police Force ngetteeka bwerigamba era bagisuubira okugoberera amateeka. Yatambudde nowuwe Ssebunya Andrew ngono mmemba wa NUP era Munnamateeka.

Poliisi etandise okuyigga Lecturer eyasobya ku muzibe

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti Poliisi eri ku muyiggo gwa Dr. Alon Laurence 56, nga musomesa ku Kyambogo University kubigambibwa nti yasobya ku muyizi muzibe ow’emyaka 16.

Bobi Wine alidde matereke ne Wangadya

Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine: “Okwemulugunya kuno nakuteekayo emyaka 5 egiyise. Ssentebe ne bammemba Akakiiko kano Ssemateeka akawa obuyinza okukuuma n’okulera eddembe lyobuntu wabula ate kalinyirira lirinyirire. Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya; “Ssebo bwekiba nti ekyo kyoyogedde kuba kulumbagana Kakiiko. Oli waddembe okuggyayo okwemulugunya kwo. […]

Omulamuzi agaanye okusaba kwa Katanga okwokweyimirirwa

Omulamuzi Isaac Muwata azzeemu okugoba okusaba kwa Molly Katanga okwokweyimirirwa. Omulamuzi ategeezezza nti Bannamateeka be balemeddwa okulaga ensonga endala eyawukana kuyokuba omuyi kuba ekitongole ky’amakomera kyategeeza nti kisobola bulungi okumuwa obujanjabi. Ono agamba nti ekyokukomyaawo ensonga yobulwadde baba nga abaagala Kkooti eddemu etunule mu kusalawo kwayo. Ategeezezza nti omusango gwakutandika okuwulirwa nga 2 – July.

Omukuumi wa Ssaabasajja yagenze ku misomo – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo nategeeza nti akulira eggye erikuuma Kabaka, erya Kabaka Protection Unit, Capt. Edward Ssempijja teyabuzeewo nga bali bweru oluvannyuma lw’eggye lya UPDF okulangirira nti ono anoonyezebwa. Katikkiro agamba nti ono yagenze ku misomo emitala w’amayanja oluvannyuma lwokufuna sikaala nti era yamuwandiikira mu butongole namutegeezaako. Omwogezi w’eggya lya UPDF Spokesperson Brig. Gen. […]