Eyaweebwa kkontulakita okuzimba essomero e Tororo akwatiddwa

Omuvubuka eyalabikidde mu katambi nga agezaako okutema omusuubuzi akwatiddwa

Omuvubuka eyalabikidde mu katambi ka kkamera enkettabikolwa nga agezaako okutema wamu n’okukuba ennyondo omusuubuzi eyabadde asasulwa ensimbi ku kyuuma ekikuba kasooli e Nateete yakwatiddwa ngono kigambibwa nti yagiddwa mu Disitulikiti y’e Rakai nga kitegeerekese nti ye Ashraf Kizza. Kigambibwa nti ono abadde akolera Beshir Mill investment ngabadde yakamalawo emyezi 4.

Ttabamiruka w’Abakyala mu Buganda aguddwawo Maama Nnaabagereka

Ttabamiruka lw’Abakyala okuva mu Buganda lutandise mu Lubiri e Mengo wansi w’omulamwa “Abakyala bankizo mu nkulaakulana eyannamaddala”. Maama Nabagereka Sylvia Nagginda ye mugenyi omukulu era yatuuse dda nabakungu bangi okuva mu Gavumenti ya Buganda, nga n’Omubaka omukyala owa Kampala Hon. Shamim Malende waali. Abakyala bakutendekebwa mu byobulamu, amateeka, ebyenfuna n’enkulaakulana nebirala.

Eyeyita Yeesu eyagaanye okubalibwa n’abantu be asindikiddwa ku alimanda

Omusajja eyeyita ‘Yeesu’ Jesus Navas Vera asumba ekkanisa ya King of Star Glopper Eden Church e Wobulenzi aleeteddwa mu Kkooti. Avunaanibwa omusango gw’okugaana okumubala ng’agamba nti ye ssi wa ku nsi yava mu ggulu n’olwekyo tasaanye kubalibwa ku Nsi. Bano tebakiririza munteekateeka ya Gavumenti yonna kuba bbo, kuba bbo si ba Mmemba ba Nsi eno.

Eyakutte akatambi nga yewaana nga bwasumulula essimu enzibe yakwatiddwa

Umar savior 19, nga muyizi ku Uganda Institute of Information and Communication Technology-Nakawa, ne mukwano ggwe bwebakutte akatambi nga bagamba nti amasimu agabbibwa bagabatwalira bategeezezza Uganda Police Force nti akatambi bakakutte kufuna views ku tiktok. Bano bakutwalibwa mu Kkooti bavunaanibwe omusango gwa computer misuse. Bya Kamali James

Pulezidenti Museveni akoze enkyuukakyuuka mu maggye

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze Maj. Gen. Richard Otto ngomuduumizi omuggya owa Mountain Division era nga yemuduumizi wa Operation Shuuja. Maj. Gen. Dick Olum asindikiddwa okukulira South Sudan Stabilisation Mechanism, ngaddira Maj Gen Otto mu bigere.

Poliisi esazeeko amaka g’Omubaka Nyeko

Mukyala w’Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko Munnakibiina kya National Unity Platform, Ruth Twagira Kirabo, agamba nti Uganda Police Force n’maggye bisazeeko amaka gaabwe nebatandika okwaza ennyumba yaabwe nti banoonya mmundu. Ono ategeezezza nti balina ekiragiro kya Kkooti.

Kitalo! Omutendesi Kajoba afudde

Kitalo! Eyaliko omusambi wa ttiimu y’Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y’Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.

Omubaka Mwijukye akyuusiddwa naleetebwa e Kampala okufuna obujanjabi

Omubaka akiikiria Buhweju Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Francis Mwijukye akyuusiddwa naweerezebwa e Kampala okufuna obujanjabi obusingako okuva mu Ddwaliro lya Devine Mercy mu Kibuga Mbarara gyabadde afunira obujanjabi oluvannyuma lwokulumbibwa abantu ababadde babagalidde emiggo nebaleka ngalumiziddwa. Ono bamulumbidde ku Rwanyamabare Catholic Church mu Disitulikiti y’e Buhweju gyeyabadde agenze okuwuliriza ensonga zokubba ettaka ly’e […]

Bakifeesi bonoonye ebintu byabasuubuzi mu Katale ka Kabaka e Bwaise

Abantu abagambibwa okubeera ba kifeesi balumbye akatale ka Kabaka ak’e Bwaise mu kiro ekikeesezza olwaleero nebakoonakona emidaala saako nokwonoona emmaali y’abasuubuzi. Okusinziira ku basuubuzi abasula mu Katale Kano bategeezezza nti abazigu babalumbye ku ssaawa 7 ogw’ekiro nga babagalidde ebijambiya n’enyondo nebatandika okukoona ssaako nokumenya emidaala gyabasuubuzi. Okusinziira ku Vicent Ssenono Omuwandiisi ku kakiiko akakulembera abasuubuzi […]